Olivia Wawire
Olivia Wawire (yazaalibwa 8 Ogw'okubiri 1960) era amanyiddwa nga Olivia Rosemary Nagudi Wawire Munnayuganda omukozi wa gavumenti akolera mu poliisi ya Uganda.[1] Ye muserikale omukazi eyasooka mu kitongole ekizikiriza omuliro mu 1981 era n’afuuka ow'okusatu mu kuduumira ekitongole ekizikiriza omuliro ekya Uganda Police Fire Brigade ekyamuviirako okulondebwa nga Regional Fire Officer. [2]
Obulamu bwe n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa nga 8 Ogw'okubiri 1960 mu ggombolola ye Ruwalasi, Budadiri mu kyalo Bugusege Bukameme mu disitulikiti y’e Sironko.[2] [3] Pulayimale yagisomera ku Namburu oluvannyuma ne yegatta ku St Andrew College Tororo okufuna ebbaluwa esooka eya Uganda Certificate of Education (UCE)[2] . Yegatta ku Uganda Police Force olw'okubulwa ebisale by'essomero n'oluvanyuma naddayo okufuna satifikeeti ey'okubiri eya Uganda Advanced Certificate of Education (UACE) ku ssomero lya Njeru Secondary school mu 2007. [2] Mu 2017, yafuna diguli eyookubiri mu by'emirimu n'okuddukanya embeera z'abantu okuva mu yunivasite ye Kabale.[2] [4]
Ebyafaayo mu by’emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Olivia yaweerezaako nga omuduumizi wa poliisi e Jinja mu bendobendo lya Kitegezi mu Obukiikaddyo bw'obugwanjuba wakati wa 2009 ne 2015 era yakolerako mu kitongole ekiziyiza omuliro ng'omukyala yekka eri omukwanaganya wa poliisi n'omuntu ow'abullijjo mu kitongole eky'abaana n’amaka. [5] Mu 2006, mu kulonda okwa bonna, yaweerezako ng’omuduumizi wa poliisi mu disitulikiti e Jinja okumala emyezi ena. [2] Yali mukulu mu Poliisi ya Uganda era oluvannyuma yakuzibwa n’afuulibwa Kaminsona wa Poliisi. [2] [6] [7] [8] [9] [10] Yaweerezaako nga mmemba wa kakiiko ka poliisi akakwasisa empisa ekifo eky'okubiri ku bya waggulu mu kooti[2] [6] [11] Yakola ng’omumyuuka w’akulira eby'obufuzi. [3] [9]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Olivia Wawire
- 1 2 3 4 5 6 7 8 https://en.wikipedia.org/wiki/Kabale_University Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":1" defined multiple times with different content - 1 2 https://en.wikipedia.org/wiki/Uganda_Police_Force
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Kabale_University
- ↑
{{cite news}}: Empty citation (help) - 1 2 https://en.wikipedia.org/wiki/Kabale_University
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Kabale_University
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Kabale_University
- 1 2 https://en.wikipedia.org/wiki/Kabale_University
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Kabale_University
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Kabale_University