Jump to content

Olubugo

Bisangiddwa ku Wikipedia

OLUBUGO

olubugo (lumu) embugo (nnyingi) Luno lwe lumu ku ngoye z'omuganda owedda (nansangwa). lwavumbulwa ow'engonge Wakyama Wamala ku mulembe gwa Kabaka Kimera.

Olubugo lukolebwa (lukomagibwa) okuva mu kikuta eky'omuti oguyitibwa omutuba. Olubugo ensangi zino lweyambisibwa okuziikamu abafu, okukola ekifundikwa ekyambazibwa omusika, okusalako amafuvu agasibibwa ba mulekwa mu kiwato, okukola engoye ezooleka obuwangwa bwa Baganda, abamu embugo bazeebikka ng'ebikunta, mu masabo zikola ng'emikeeka n'emirimu emirala mingi

Omuntu akola olubugo ayitibwa omukomazi Ekikolwa eky'okukola olubugo kiyitibwa okukomaga Ekiti omukomazi ky'akozesa okukomaga olubugo kiyitibwa ensaamu kyokka ate omukomago gwe muti oguganzikibwa wangi okukubirako olubugo olukomagwa. Ekifo awakomagirwa embugo bakiyita ekkomagiro Ekifo awaanikibwa embugo kiyitibwa ekyano olugoye (olubugo) omukomazi mwakomagira luyitibwa tiiku