Olugero lwa Sayansi(The Story of Science)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Jump to navigation Jump to search
Gtk-find-and-replace.svg
IALI NGO has been authorised by terminologist Muwanga Charles
to post this article from his Luganda Scientific works on Luganda Wikipedia for free Public Consumption.
Gtk-find-and-replace.svg

Olugero lwa Sayansi. Luno lwe lugero lw’ensibuko y’obwengula.

Awo olwatuuka nga nkulabira. Emyaka giri eyo mu bukadde, Katonda ng’ali eyo mu ggulu ku ddamula ye eri ewala ennyo eyo mu bwengula n’agamba nti wabeewo nabire (nebular), olwo ne wabaawo nabire, obwaguuga bw’ekire ekikwaafu ennyo ekirimu emikka egy'ebirungo eby’ekintabuli ate nga nkwafu nnyo Katonda ze yakiteekamu.

Bwe waayitawo ekiseera, Katonda n’agamba nti kati nabire oyo eveemu okubwatuka okunene (big-bang). Amangu ago embeera n’ejjawo mu kire nabire kino, ne wabaawo okubwatuka okunene era ekyaddirira ye yali entandikwa y’obwengula mwe tuli omuli seng’endo (heavenly bodies) obutabalika. Mu seng’endo muno mulimu ebisinde (galaxies), semakulungo eziyitibwa enjuba oba emmunyenye, enkulungo (planets), emyezi (moons) n’ebibajjo omuli ebikometo ne kibunoomu.

Amasoboza (energy) Katonda ge yateekawo okusobozesa okubwatuka okunene mu nabire ge maanyi agasobozesa buli kiramu n’ekitali kiramu era mwe muli ekyama, tekinologiya ow’enjawulo avumbuddwa okuyita mu “nkola ya sayansi” (akalombolombo ka sayansi, kw’akolera.

Akalombolombo ka sayansi ddala kakasizza omuntu omutegeevu nti Katonda gwe tusinza Ssabagezi asukkulumye ku bakalimagezi ne bakagezimunyu bonna. Kino otandika okukiraba ng’owulira nti obutoffaali (building blocks) obwava mu kire kino obwaguuga, nabire, bwe bumu obuzimba buli kintu (kitonde), ekiramu n’ekitali kiramu.

Obutaffaali buno buyitibwa”obuziizi” (atoms) era obutoffali buno bwegatta okuyita mu kikyusazubuziizi (chemical reactions) ne bukola molekyo (molecule) ate molekyu ne zekyusaggana obuziizi ne zikola ebipooli by'endagakintu(elements) ez’enjawulo (compounds of the different elements).

Nga bwe guli mu buli kitonde ekiriwo kati, ne zi ggaasi ez’enjawulo ezaali zikola nabire ono eyasibukamu okubwatuka okunene zaalimu obuziba ne molekyu naye okubwatuka kwagenda okukkakkana nga watondekeddwawo endagakintu (elements) empya ezitabaddewo. Ekyo si kibalo kya Katonda?

Okwo kwonna kulinga kugereesa naye bannassayansi bakizudde nti ensibuko y’ensengekera ya buli njuba (mmunyenye) eri mu kubwatuka okunene okubaawo mu zi nabire (nebular) eziba zitaayaaya eyo mu buzziba bw’obwengula. N’enjuba Muwanga, mu kyebulungulo ky’essikirizo lyayo nga enkulungo yaffe eyitibwa ensi mw’esangibwa nayo yatandikira mu “kubwatuka kunene” (big-bang) okwaliwo emyaka obukadde 4.6 egiyise.

Nabire (nebular) kiba kire obwaguuga ekirimu gaasi ekiba kitayaaya mu buzziba bw’obwengula ewala eyo. Nabire eno eva mu kufa kw’obwaguuga bw’ensengekela y’enjuba (emunyenye) n’efuuka semufu (supernova). Semufu enop y’ebwatuka n’evaamu ensengekera y’enjuba empya.

Okubwatuka kwa nabire eno kuteeberezebwa okuba nga kwaleetebwawo kutomerebwa semufu (ensengekera y’enjuba endala eyali efudde = supernova) eyaleeta okujugumira mu kire nabire ne kyenyiga ekiddamunda. Mu kwenyiga ekiddamunda (contraction), empalirizo esikiramunda yeeyongera, kino ne kyongera okusikira sabusitansi munda. Nabire yeeyongera okwesikiramunda wakati mu nsika ey’amaanyi, n’ekyavaamu kweyongera kuweweenyuka mu kyetoloozo (spinning). Ekire nabire gye kyakoma okwesikira munda gye kyakoma okuweweenyuka mu kyetoloozo olw’empalirizo esikira makkati (centripetal force).

Okwesikira munda (contraction) kwali kwa maanyi, naddala okuliraana amakkati ga nabire, ekyaleetawo okukwata okwamaanyi mu makkati ga nabire eno n’oluvannyuma empalirizo eyewaggula ku makkati (centrifugal force) n’ereetera ekire nabire ekiri mu kuweweenyuka mu kyetoloozo okubyabyatala kyokka nga wakati waaliwo okuzimbulukula.

Amakkati ga nabire eri mu kuweenyuka gaakwata ekitole ne gaafuuka senkulungo (enjuba) eyafuuka amakkati g’ensengekera y’enjuba. Olutabu olwali lutebenta okwetoloola enjuba eno empya nalwo lwakwata obutole ebwenjawulo oba buyite obukulungo (planetoids). Obutole buno bwaatomelagana ne bwekwata okufuuka enkulungo z’obwengula.

Olw’okuba enjuba n’enkulungo zaayo, eziseyeeya nga zigyetoloola byava mu nabire emu, byonna biseyeeya mu bwengula nga byolekedde oludda lwe lumu, “kiddannyuma wa kalimi ka saawa” (counter clockwise) olw’empalirizo esikira mu makkati. Era eno y’ensonga lwaki enjuba Muwanga n’enkulungo zayo ziseyeeya kiddanyuma wa saawa ku kisiisi (axis) kyazo era eno y’ensonga lwaki enkulungo zonna ziri ku kitendero (plane) kye kimu mu layini ey’omumakati g’enjuba (sun equator) eno.