Jump to content

Olukalala lwa kampuni ezisinganibwa mu Uganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Uganda, mu butongole Republic of Uganda, nsi etalina lubalama lwa nyanja ,mu Buvanjuba bwa Afrika. Eby,enfuna bya Uganda bivaamu ssente eziva mu by’amaguzi ebitundibwa ebweru w'eggwanga buli mwaka omuli emwaanyi (obukadde bwa ddoola 466.6), amajaani (obukadde bwa ddoola 72.1), n’eby'ennyanja (obukadde bwa ddoola 136.2). [1] Eggwanga litandise okukola ennongoosereza mu by’enfuna era enkulaakulana ebadde ya maanyi. Mu 2008, Uganda yafuna enkula ya bitundu 7 ku buli 100 wadde ng’ensi yonna yali eserebye n’obutali butebenkevu mu bitundu. [2]

Uganda erina eby’obugagga eby’omu ttaka bingi, omuli ettaka eggimu, enkuba etonnya buli kiseera, n’eby’obugagga eby’omu ttaka ebinene eby’ekikomo ne cobalt. Eggwanga lisinze kuzuula amafuta agatali malongooseemu ne ggaasi ow’obutonde. [3] Wadde ng’eby'obulimi byakola ebitundu 56 ku buli 100 ku by’enfuna mu 1986, ng'emwaanyi gyebaali basinga okutunda ebweru w’eggwanga, kati eno yasukulumibwaako eby'obuweereza, ebikola ebitundu 52 ku buli 100 ku by'enfuna by'eggwanga mu 2007. [4]

Kampuni ezimannyikiddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Olukalala luno lulimu kampuni ez’amaanyi ezirina ekitebe ekikulu ekisangibwa mu ggwanga. Amakolero n’ekitundu ekyawukana ku birala bigoberera ensengeka y’enambika y'ekikula ky’amakolero . Ebibiina ebyakoma okukola byatekebwamu era ne biwandiikibwa ng’ebitakyaliwo.

  

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Ubos statistical abstract Template:Webarchive (spreadsheet).
  2. "Snapshot of Uganda's economic outlook". African Economic Outlook. 6 July 2009. Archived from the original on 26 April 2015. Retrieved 19 December 2013.
  3. Uganda's oil rush: Derricks in the darkness. Economist.com (6 August 2009). Retrieved 24 March 2013.
  4. "Uganda at a Glance" (PDF). World Bank. 13 November 2009. Archived from the original (PDF) on 23 December 2009.