Jump to content

Olumbe

Bisangiddwa ku Wikipedia

Okwabya olumbe gw'emukolo ogukolebwa mu mpisa ya Baganda nga bateekako omusika (omuntu addira omugenzi mu bigere) Nga omukolo guno gunaakolebwa waliwo emitendera egigobererwa omuli;- a) Okutambuza olumbe. b) Okusula mu ngalabi (mu Lumbe). c) Okufulumya olumbe. d) Okuggya bamulekwa ku kifugi. e) Okumwa enviiri mu lumbe. f) Okusumika. g) Okusumikira. h) Okugabula mu lumbe. i) Okukooza mu lumbe. j) Okulima ebiggya. k) Okwabya ensiisira. l) Okubikka ebiggya. m) Okwambula amafuvu (obubugo bamulekwa bwe beesiba mu kiwato okwawukana ku balala)

Okwabya olumbe kulina emigaso gino wammanga.

-Okufuna adda mu bigere by'omugenzi.

- okuwa ennyumba omukisa.

- Okufuna anaddukanya ebintu by'omugenzi.

-Okusangula bamulekwa amaziga.

-Okuggya bamulekwa ku Kifugi.

-Kiyamba okumannyagana.

-Kikuuma empisa, ennono n'obuwangwa bw'abaganda.

-Kiyamba okufulumya olumbe mu nju.

-Okutongoza omusika.

-Kigatta abeekika.

-Okumaliriza ebintu by'omugenzi ebiba tebyaggwa.

N'ebirala.

Ebyeyambisibwa mu kwabya Olumbe.

Omubala

Olubugo

Effumu

Olunyago

Omuwunda

Omuggo

Enkumbi

Ensawo enfulube

Endeku entakeera

Omwenge

Ekibbo

Akambe

Okusumikira

Omusika okuyingizibwa mu nnyumba

Abasika okutwalibwa mu kiddaala

Okusabira abasika

Okugabula

Bassenga okwanjula abako

Abajjwa okwabya ensiisira (okukooza)


Bikoleddwa Fredrick Muyanja Musajjawakabaka Balunginsimbi.[1]

Tell:0759157152

  1. Fredrick Muyanja Musajjawakabaka Balunginsimbi. Tell: 0759157152