Jump to content

Olusozi Kasubi

Bisangiddwa ku Wikipedia

Kasubi kasozi akali mu Kampala,ekibuga ekikulu era ekisinga obunene mu Uganda . [1]

Kasubi eri ku nsalo ya Kawaala ku bukiikakkono, Makerere ku buvanjuba, Naakulabye ku buvanjuba, Lusaze ku bugwanjuba-ddyo, Lubya ku bugwanjuba, ne Namungoona mu bugwanjuba-bukiikakkono. Olusozi luno 5.5 kilometres (3.4 mi), ku luguudo, mu bukiikakkono bw’amaserengeta g’ekitundu kya Kampala eky’ebyobusuubuzi wakati. Ensengeka za Kasubi ziri 0°19'52.0"N, 32°33'20.0"E obugazi bw’ekifo ku nsi(Latitude:0.331115) buwanvu bw’ekifo ku nsi(Longitude:32.55555632). [2]

Nga 1856 tannatuuka, akasozi Kasubi kali kamanyiddwa nga Nabulagala. Nga wayiseewo ekiseera oluvannyuma lw'olunaku olwo, Muteesa I owa Buganda, oluvannyuma lw'okufunamu obuzibu ku Kusozi Banda, gye yali azimbye olubiri lwe olwasooka, yasengukira e Nabulagala. Olusozi luno yalukyusa erinnya Kasubi, n’alutuuma ekyalo kya bajjajjaawe ekya nnyina, mu Ssaza lye Kyaggwe , leero ekimanyiddwa nga Mukono Disitulikiti . [3] Leero, abakulembeze b’ennono mu Buganda ekifo kino bakiyita Kasubi oba Nabulagala oba Kasubi-Nabulagala. [4] Oluvannyuma lw’okufa mu 1884, Kabaka Muteesa eyasoka yaziikibwa e Kasubi, era nga ye Kabaka eyasooka okuziikibwayo. Okuva olwo, Kasubi yafuuka ekifo ekitongole ekiziikibwamu Bakabaka ba Buganda . Amasilo g'Obwakabaka e Kasubi gamanyiddwa ng'ekifo eky'omugaso mu nsi yonna era galina amakulu ga waggulu nnyo mu buwangwa bw'Abaganda . [5]

Okwanjula mu bufunze

[kyusa | kolera mu edit source]

Olusozi Kasubi kifo kya buwangwa bwa bwakabaka mu’bwakabaka bwa Buganda, emu ku bwakabaka obw’ennono obuli mu mateeka mu Uganda mu kyasa kya 21. [6]

Ekifo ekisinga okumanyika ku lusozi Kasubi ye Kasubi Royal Tombs, ekifo ekitongole ekyaziikibwamu Bassekabaka ba Buganda. Mu Gwomukaaga 2014, bakabaka ba Buganda bana ab'omuddiriŋŋanwa baaziikibwa e Kasubi.i: [7]

Ebintu ebirala ebikulu

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebirala ebinyuma mu kitundu kino mulimu:

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Kasubi: Things to Do, Visit & Stay Guide | Kampala City Guide" (in American English). 2018-10-24. Retrieved 2024-06-04.
  2. "Location of Kasubi At Google Maps". Google Maps. Retrieved 16 June 2014.
  3. UTG. "Profile of Banda Hill". Uganda Travel Guide (UTG). Archived from the original on 21 March 2013. Retrieved 16 June 2014.
  4. "Kasubi: Things to Do, Visit & Stay Guide | Kampala City Guide" (in American English). 2018-10-24. Retrieved 2024-06-04.
  5. "Tombs of Buganda Kings at Kasubi". whc.unesco.org. Retrieved 2024-06-04.
  6. "Kasubi Royal Tombs". VisitUganda.com. Archived from the original on 30 June 2014. Retrieved 16 June 2014.
  7. "Tombs of Buganda Kings at Kasubi". Unesco.org. Archived from the original on 5 April 2012. Retrieved 16 June 2014.
  8. Okiror, Ben (20 November 2009). "US Charities Open Clinic In Kasubi". New Vision. Archived from the original on 14 July 2014. Retrieved 16 June 2014.