Olusozi Namirembe
Namirembe lusozi mu Kampala, ekibuga ekikulu era ekisinga obunene ekya Uganda. Era linnya lya bulijjo eriweebwa abawala mu bika by’Abaganda ebiwerako. [1] [2] Namirembe kiva mu kigambo ky'Oluganda "mirembe" ekitegeeza emirembe . [3] Namirembe avvuunulwa mu ngeri etali nnywevu nti Emirembe mu bujjuvu. [4] [5] Enfumo zigamba nti olusozi luno lwali kifo we bakuŋŋaaniranga okujaguza emirembe oba obuwanguzi mu lutalo. [6]
Ekifo
[kyusa | kolera mu edit source]Namirembe asalagana ne Makerere mu bukiikakkono-bwabuvanjuba, Old Kampala mu buvanjuba, Mengo mu bukiikaddyo-bwabuvanjuba, Lubaga mu bukiikaddyo-bwabugwanjuba, Lungujja mu bugwanjuba, Amasiro ge Kasubi mu bukiikakkono-bwabugwanjuba, ne Naakulabye mu bukiikakkono. Obuwanvu, ku luguudo, okuva mu kitundu ky’abasuubuzi ekiri wakati mu Kampala okutuuka e Namirembe luli nga 4 kilometres (2 mi) . Ensengeka z'olusozi Namirembe ziri 0°18'54"N, 32°33'34"E (Latitude:0.315000; Longitude:32.559444). Olusozi Namirembe lulina obuwanvu bwa fuuti 4,134 (1,260 m) waggulu w’obugulumivu bw’ennyanja . [7]
Lutikko ya Pawulo Omutukuvu Namirembe
[kyusa | kolera mu edit source]
Olusozi Namirembe lwe lubadde ekifo ekikulu Abakulisitaayo mwebasinziza mu Buganda okuva Omulabirizi Alfred Tucker lwe yatandikawo ofiisi z’Obulabirizi bwa Eastern Equatorial Africa mu 1890. [8]
Namirembe we wali Lutikko ya Pawulo Omutukuvu, Namirembe . Kino kye kyali ekifo ekikulu eky’okusinzizaamu Ekkanisa ya Uganda mu Uganda okuva lwe yamalirizibwa okuzimbibwa mu 1919 okutuusa mu myaka gya 1960 Lutikko lwe yafuuka ekitebe ky’Obulabirizi bw’e Namirembe. Mu kiseera ekyo, ekitebe ky’Ekkanisa ya Uganda kyasengukira mu kkanisa ya All Saints e Nakasero kyokka oluvannyuma ne kidda e Namirembe. Enzikiriza y’Abangereza y’eddiini esinga okukwatagana n’Obwakabaka bwa Buganda okuva entalo z’eddiini mu myaka gya 1890 lwe zaggwa. [9] [10]
Okulambika okutwaliza awamu
[kyusa | kolera mu edit source]Olusozi luno lulinnya 1,260 metres (4,130 ft) waggulu w’obugulumivu bw’ennyanja. Luliraanye olusozi Mengo, ewasangibwa gavumenti ya Buganda . Ebyafaayo by’obusozi buno byombi bikwatagana, mu byenkula y'ensi, mu by’obufuzi ne mu ddiini. [9]
Eddwaliro ly’e Mengo lirimu ebitanda 300, ddwaliro ly’abantu bonna nga lirina akakwate n’ekkanisa ya Uganda. Era limanyikiddwa nga eddwaliro lya Namirembe . Lye ddwaaliro eryasookera ddala mu Uganda era lyatandikibwawo Albert Ruskin Cook mu gwokutaano 1897. [9]
Ku musingi gw’obukiikakkono bwobugwanjuba g’olusozi Namirembe kwe kusangibwa awaziikibwa ba Kabaka ba Buganda awamanyikiddwa nga Amasiro g’e Kasubi. Wano bakabaka ba Buganda abana abasembyeyo we baziikiddwa. [9]
Ekizimbe kya Bulange Complex kirimu ekizimbe kya Palamenti ya Buganda emanyikiddwa nga "Lukiiko", Ekizimbe kino kiri ku lusozi Namirembe, emitala w'olusozi Mengo. Olubiri lw'e Mengo ku lusozi Mengo luyungibwa ku Bulange Complex n'oluguudo olugolokofu, oluweza mayiro nga emu, oluyitibwa "Kabaka Anjagala Road" ("Kabaka Anjagala" mu Lungereza). Okwenkana n'ekitundu kye kkubo, oluguudo olugolokofu lusalagana n’oluguudo lwa Lubaga. Waliwo enkulungo abatambuze aba bulijjo gye bakozesa. Kyokka waliwo ekkubo eriyita mu nkulungo okuli ekikomera. Eryo likozesebwa Kabaka yekka ng’atambula wakati w’olubiri n’ekizimbe kya Paalamenti. Ennono egaana kabaka okwetooloola enkulungo. Alina okutambula butereevu ng’atambula wakati w’ebifo bino byombi. [9]
Ebintu ebirala ebikwata ku nsonga eno
[kyusa | kolera mu edit source]Ebifo ebirala bino wammanga eby’enjawulo biri ku lusozi Namirembe oba okumpi nalwo:
- Ekitebe ky'Essaza ly'Ekkanisa ya Uganda.
- Amaka ga Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda.
- Amaka g'Omulabirizi w'essaza ly'ekkanisa e Namirembe.
- Mengo Senior School essomero lya gavumenti nga lya bawala n'abalenzi.
- Sanyu Babies Home – Ekifo ekirabirirwamu bamulekwa ekiddukanyizibwa kyobwannakyewa .
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Namirembe Hill – Things to See & Do | Buganda Tourism" (in American English). Retrieved 2021-05-19.
- ↑ Nsimbi, M. B. (April 1980). "Munger Africana Library Notes: Luganda names, clans and totems". California Institute of Technology. 0047–8350.
- ↑ Barlas, Robert (2000). Uganda. New York: Marshall Cavendish. p. 86. ISBN 0-7614-0981-5. OCLC 41299243.
- ↑ Merschat, Stephen R. "Who's Your Baby? Over 112,000 Baby Names and Meanings". babynames.merschat.com. Retrieved 2021-05-19.
- ↑ "Namirembe Hill | Uganda Travel Guide" (in American English). 8 August 2014. Retrieved 2021-05-19.
- ↑ Crabtree, W A (1914). "The languages of Uganda protectorate" (PDF). Journal of the Royal African Society. 13 (50): 152–166. JSTOR 716185.
- ↑ Uganda Travel Guide (August 2020). "About Namirembe Hill, Kampala City, Uganda". Uganda Travel Guide. Retrieved 13 August 2021.
- ↑ Kampala (Uganda). City Council. Kampala city handbook. Published by Gava Associated Services. LCCN 2008346872. OCLC 231694517.
- 1 2 3 4 5 "Profile And History of Namirembe Hill". Uganda Travel Guide (UTG). Retrieved 21 June 2014. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "UTG" defined multiple times with different content. - ↑ Uganda Safaris Tours (August 2021). "Uganda's Oldest Cathedral: Namirembe Cathedral". Uganda Safaris Tours. Retrieved 13 August 2021.