Olutiko
IALI NGO has been authorized by terminologist Charles Muwanga to post articles from his scientific translations on the Luganda wikipedia for free public consumption !!!
Olutiko (mushrooming fungus)
olutiko(can also mean goosebumps)
Olutiko bwe luba lumerukidde ddala luyitibwa katiko oba bitiko.
Obutiko(mushrooms) nalwo kika kya lufungi(a type of fungi). Obutiko biba birimba bya miraatira (strands) ebibeera mu ttaka nga biyitibwa kayifa (hyphae) .Kayifa zino lwe lufungi lwennyini olusookerwako, bino nga biba bikoola ebiba mu kuvunda oba ebikuta by’emiti ebiba bivunda ku ttaka.
Ekiseera bwe kituuka okuzaala, ne bufuna omutunsi n’ekikoffiira n’obulaba nga bufuluma nga bumeruka okuva mu ttaka. Wansi w’ekikoffiira wasangibwayo sipuwa z’olufungi (fungus spores).