Jump to content

Omugave Ndugwa

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Omugave Ndugwa
Yafa Ogwomukaaga 9, 2022
Obutuuze Uganda
Omulimu (emirimu) . omuwandiisi, omuwandiisi w'emizannyo, dayirekita era pulodyusa

Joseph Semakula Ndugwa, amanyiddwa ennyo nga Omugave Ndugwa, Munnayuganda era yali muwandiisi. Yalina obumanyirivu bw’emyaka egisukka mu 40 mu kisaawe ky'ebyabakaznyirizi n'obuwandiisi, omuwandiisi w’emizannyo, dayirekita ne pulodyusa. Yawandiika emizannyo egisukka mu 30, ebitontome 300, ne firimu. [1]

Ndugwa, mu 1969, yeegatta ku kibiina kya Jinja Dramatics Society (JDS) era mu 1971, yeegatta ku Kampala Negro Angels. [2]

Mu 1978, oluvannyuma lw’okuva mu Negro Angels, yatandikawo ekibiina kya Black Pearls nga yali n'Omulagira John Kayondo n’abalala. [2] Mukwano gwa Ndugwa ow’edda, Edrisa Wankalubo Simwogerere, yawagira okutandikawo ekibiina kino ng’amuwa eby’etaago. [2]

Oluvannyuma lw’okusoomoozebwa ku nkomerero y’emyaka gya 1990, Ndugwa yakomawo mu Uganda okuva mu Amerika mu 2000, okuddabulula n'okukyusa elinnya lya Riverside okutuumibwa The Pearl theatre. [2] [3] ebyetaago by'abawuliriza n'ensonga z'entambula byaviirako okukendeera kw'ettutumu, ekyaviirako Ndugwa okudda emabega n'ekifo ne kifuulibwa edduuka lya sipeeya w'emmotoka[2]

Emirimu egy'amaanyi gye yakola mu myaka gye kuliko, Obulamu Bwa Sambirige ne Office Njerere . [2]

Nga tannafa, yali atandise okukola firimu, essuula gye yatandika mu 2013 n’enkyusa ya firimu ey’omuzannyo gwe ogwa 1988 “Emikwano nsi” gwe yalagirira era gwe yakola ne Hemdee Kiwanuka . [1]

Ndugwa yafa nga 9,Ogwomukaaga 2022 oluvannyuma lw’okulwala kookolo w’enseke . [1] [2] [4] [5] [6]

Ebigambo by'eyawandiika

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Obulamu bwa Ssembirige (1972)[2]
  • Olugendo lwa Wasajja (1974)[2]
  • Ssegirinya ne Naggirinya (1975)[2]
  • Sseruganda Tontya (1976)[2]
  • Office Njereere (1975)[2]
  • Nsalala n’Omukwano (1978)[2]
  • Wasajja mu Bizinga by’e Sesse (1978)[2]
  • Ekitangaala mu Nzikiza (1981)[2]
  • Oluyimba lw’e Nderema (1983)[2]
  • Omusaayi gw’obutiko (1983)[2]
  • Zziribasanga ne Ssanyu (1983)[2]
  • Ggalimpitawa (1984)[2]
  • Amaka mu Buwanganguse (1985)[2]
  • Emikwano Nsi (1988)[2]
  • The Divided Family – Oluyo (1988)[2]
  • Ekimuli mu Maggwa I (1988)[2]
  • Ekimuli mu Maggwa II (1989)[2]
  • The Narrow Escape – Olugwanyu (1990)[2]
  • Traffic Jam – Akalippo (1991)[2]
  • Olutindo lw’Emomboze – The Orphan's Bridge (1991)[2]
  • Saa Mbaya (1992)[2]
  • Ku Saawa Esembayo (1992)[2]
  • Mayengo (1994)[2]
  • Ekkoligo (1995)[2]
  • Enseekeezi (1996)[2]
  • Eka (1996)[2]
  • Erindya (1998)[2]
  • Nnamukwakula (1998)[2]
  • Endalagge (1999)[2]
  • Kirimuttu (2000)[2]
  • Ssekkono (2003)[2]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]