Omugereeso(Mathematical theory)

Bisangiddwa ku Wikipedia

From IALI NGO with authority from terminologist Charles Muwanga !!

Omugereeso (theory) kiva mu kigambo ky’oluganda “okugereesa”, ekitegeeza “omubalanguzi ky'agereesa”. Omugereeso gwa namba (number theory) gutandika na kuyiga namba, obutaffaali obuzimba omugereeso gwa namba ne sessomo ly’ekibalangulo lyonna okutwalira awamu.

Ekinambirizo (arithmetic) kikozesa bubonero okubala. Kyetaagisa okuwa obubonero buno amannya . Erinnya ly’akabonero akabala liyitibwa “namba”. Amannya g’obubonero buno mu luganda gali : “ziro , emu, bbiri, satu, nnya, ttaano, mukaaga , n’okweyongerayo mu entakoma. Ezo ze namba ez’enjawulo . Amannya gano gayitibwa mannya agabala oba namba za kibazo (namba ezibala).

Obubonero obukiikirira namba bulagibwa nga: "1, 2, 3, 4, 5, 6, 7” n’okweyongerayo mu ntakoma. Obubonero buno buyitibwa nambiso (numerals). Waliwo ne nambiso z’ekirooma”( Roman numerals) nga I,II,III,IV ,n’okweyongerayo . 'Okiraba nti mu nambiso z’ekirooma temuli kabonero ka ziro.

Mu butuufu buli ssomo mu sessomo ly'ekibalangulo liyinza okwogerwako nga "omugereeso"(mathematical theory) nga wano wansi:

(i)Omugereeso gw'Obuserengeto (Slope theory)

(ii)Omugereeso gw'emigereko(Set theory)

(iii)Omugereeso gw'Obuufu (the theory of mathematical locus)

(iv) Omugereeso gw'essomampimo(Geometry theory)

n'okweyongerayo.