Omugga Sezibwa
Template:Infobox riverOmugga Sezibwa mugga mu masekkati ga Uganda, mu buvanjuba bwa Afrika . Erinnya lino liva mu kigambo ky'Oluganda "sizibirwa kkubo",ekivvuunulwa nti "ekkubo lyange teriyinza kuzibikira".
Ekifo
[kyusa | kolera mu edit source]Omugga Sezibwa gusangibwa mu bukiikaddyo bw'amasekkati ga Yuganda. Kitandikira ku ntobazzi wakati w’ennyanja Victoria n’ennyanja Kyoga,mu maserengeta nga Victoria Nile ne kikulukuta mu ludda olw’obukiikakkono obw’awamu okutuuka mu nnyanja Kyoga. Ensibuko y’omugga Sezibwa esangibwa mu Disitulikiti y’e Buikwe,okuumpi n’ekibuga Ngogwe,nga emiyungo gy'entabaganye:olulayini lwenkulungoggazi :0.2700; Obuwanvu:33.0050. Sezibwa eyingira mu nnyanja Kyoga mu Disitulikiti y’e Kayunga,okuumpi n’ekibuga Galilaya, nga ekwatagana: olulayini lwenkulugoggazi:1.3700; Obuwanvu:32.8150. Obuwanvu bw’omugga Sezibwa buli nga 150 kilomita (93 mi) okuva ku nsibuko okutuuka ku kamwa.[1] Wakati w’ensibuko yaayo mu Disitulikiti y’e Buikwe, naye nga tennayingira mu Disitulikiti y’e Kayunga, omugga gukulukutila mu Disitulikiti y’e Mukono .
Okusinziira ku lugero, Omugga Ssezibwa si gwa butonde, wabula ezzadde ly’omukazi ow’olubuto ayitibwa Nakangu,eyawangaala ebikumi n’ebikumi by’emyaka egiyise era nga wa kkika kya Kibe (kibe). yali asuubirwa okuzaala abalongo,naye mu kifo ky’ekyo byeyayiwa okuva mu lubuto lwe byali migga gya balongo. Emyoyo gy’abaana ba Nakangu abataali mu lubuto - Ssezibwa ne Mubeeya giteeberezebwa okuziyiza emigga egy’abalongo olw’ensonga eno edda kyabanga kya mpisa Omuganda yenna ayita ku nsibuko y’omugga e Namukono, nga kiromita nga 20 ewala ebuvanjuba, okusuula omuddo oguwera oba amayinja mu mugga okufuna omukisa.Ne leero, ssaddaaka ey’okwebaza ey’olugoye lw’o lubugo,bbiya n’enkoko ekolebwa ku nsibuko y’omugga buli mwaka, ng’ebiseera ebisinga ekulemberwa Ssalongo (taata w’abalongo).[2]

Ebiwonvu bya Sezibwa
[kyusa | kolera mu edit source]
Ebiwonvu bya Sezibwa biri milo 20 (32 km), ebuvanjuba bwa Kampala,ekibuga ekikulu ekya Uganda,ku mabbali g'oluguudo lwa Kampala-Jinja Highway.Ekifo kino kya Buganda Heritage Site.Kiwandiikiddwako enjazi eziriko enjuyi ensongovu eziwanvuwa n’eddoboozi ery’ekitalo ery’amazzi agakkakkanya nga gakulukuta wansi ku mayinja agawanvu agaliko ebikondo. Ebiyiriro bino bisangibwa mu Disitulikiti y'e Mukono .
Okusinziira ku nfumo z’ennono, emigga gino ebiri egyatuumibwa Ssezibwa ne muganda waayo Bwanda, gyazaalibwa omukazi ng’agenda e Kavuma Bukunja. Omukazi ono,Nakangu Tebateesa, bba gwe yali ayitibwa Nsubuga Ssebwaato,yazaala abalongo mu ngeri y’amazzi,Sezibwa n’ekulukuta n’egenda mu maserengeta,n’eyita mu biziyiza bingi weyaggya erinnya lyayo,ate Bwanda n’ekulukuta ebuvanjuba, ng’ayolekera Nyenga . Abantu bangi bajja mu kifo kino okukola ebyamagero nga bwe balowooza nti ekifo kino kirina amaanyi agasukkulumye ku ga bulijjo.
Ebiwonvu bino biri 7mita (23 fuuti) obuwanvu. Okulinnya amayinja n’okulaba ebinyonyi bye bisinga okukolebwa mu kifo kino.Abakugu mu by’ettaka ne bannassaayansi abalala nabo batera okugenda mu kifo kino.Ne'bisolo by'omu nsiko mu kibira ekikyetoolodde mulimu enkima z'omu nsiko,enkima ez'emikira emimyufu n'ebisolo ebirala ebiyitibwa primates n'ebinyonyi .[3]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- Ennyanja Victoria
- Ennyanja Kyoga
- Victoria Nile
- Kayunga
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Approximate Distance between Ngogwe and Galilaya with Map
- ↑ Briggs, Philip (2020). Uganda: The Bradt Travel Guide (in English). England: Bradt Travel Guides Ltd. p. 180. ISBN 9781784776428.
{{cite book}}: CS1 maint: unrecognized language (link) - ↑ The Hidden Treasures of Sezibwa Falls Template:Webarchive