Omugotteko gw'e katanga
| Katanga Slum | |
|---|---|
| Country | |
| Region | Central Uganda |
| District | Kampala District |
| Division | Kampala Central Division |
| Saawa | EAT |
omugotteko gw'e katanga gusangibwa mu kiwonvu wakati w’eddwaliro ly’e Mulago ne nessettendekero w'emakerere, mu kibuga kya Uganda ekikulu, Kampala . [1] [2]
Ekifo wegusangibwa
[kyusa | kolera mu edit source]omugotteko guno gusangibwa mu Division y'e kawempe . mu bukiikakkono egabana ensalosalo ne Bwaise, mu buvanjuba ne Mulago, mu maserengeta ne Wandegeya, ne Nakasero mu bugwanjuba. [3]
Okulambika okutwaliza awamu
[kyusa | kolera mu edit source]Omugotteko gw’e Katanga guweza kiromita nga emu n’ekitundu (1.5) okuva e Wandegeya okutuuka Kubbiri, kumpi n’e Bwaise. Katanga egabanyizibwamu ebitundu bibiri ebifuga wansiku likiiko Local Council 1 zone, "Busia zone" ne "Kimwanyi zone". Kikulaakulanyizibwa n’ebisulo by’abayizi nga bw’olaba okuva e Wandegeya, n’ebizimbe eby’ekiseera ebizimbibwa n’embaawo oba ebitoomi/ettaka n’amabaati. Ebizimbe eby’ekiseera bisinga kuba kumpi naddwaliro ly'e Mulago. [4]
- Ebisulo e Katan
- Okukola bulooka mu katanga
- Katanga 2. Omuntu w’abantu
- Katanga 3. Omuntu w’abantu
- Katanga okuva e Mulago
- Katanga okuva e Mulago
- Katanga kumpi ne Mulago
- Katanga ng’alaga ebisulo ebisulwamu n’amayumba ag’ettaka
- Katanga nga mulimu ekifo we bazannyira
- Amaduuka mu katanga okumpi ne Mulago
- Ebisulo by'abayizi mu Katanga
- Oluguudo oluyingira nga luliko omukutu ogufulumya amazzi
Omusujja gw'ensiri n'omulwanirizi w’ebyobulamu Precious Baba yategekawo bulungi bwansi mu zooni zombi e Busia ne Kimwanyi e Katanga ebyaliwo nga 27 ne 28 May. Yakkaatirizza obwetaavu bw’okussaawo enkola z’obuyonjo nekungeri yokukendeezamu omusujja. Yawayo obutimba bw’ensiri, eddagala erigoba ensiri ne pad mu kitundu. Emikutu gy'amawulire mingi gyaliyo okuli Bukedde TV, New Vision, Pml daily, The observer newspaper, Top tv, Salt tv ne CBS FM Buganda . [5] [6]
Ebiwandiiko ebikozesebwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ http://startjournal.org/2011/10/the-bright-tones-of-katanga/
- ↑ https://sites.google.com/site/mapmakerpedia/community-projects/slum-mapping
- ↑ https://maps.google.com/maps?biw=1280&bih=585&q=katanga+makerere&bav=on.2,or.&bvm=bv.88198703,d.d2s&um=1&ie=UTF-8&sa=X&ei=3Z4GVfTALcWtadGAguAB&ved=0CAcQ_AUoAg&output=classic&dg=brw
- ↑ http://www.ugpulse.com/travel-and-tourism/a-day-in-katanga/487/ug.aspx
- ↑ https://www.pmldaily.com/news/2024/06/american-student-cleans-up-katanga-slum-in-fight-against-malaria.html
- ↑ https://cbsfm.ug/precious-baba-foundation-kigogodde-ekitundu-kya-katanga-okulwanyisa-endwadde-abatalina-mwasirizi-badduukiriddwa/