Omukama w'e Tooro
Rukirabasaija Patrick David Matthew Kaboyo (Rwamuhokya) Olimi III (9 Ogwomwenda 1945 – 26 Ogwomunaana 1995) [1] yali Omukama ow’ekkuminomu mu Bukama bwa Tooro era yafuga okuva mu 1965 okutuusa lwe yafa mu 1995.
Okulinnya ku ntebe y'Obukama
[kyusa | kolera mu edit source]Yali mutabani wa Rukirabasaija Sir George David Matthew Kamurasi Rukidi III, Omukama ow’e Tooro, eyafuga okuva mu 1928 okutuuka mu 1965. Maama we yali Lady Byanjeru Kezia Bonabana. Yazaalibwa mu Lubiri lw’Obukama bw'e Kabarole, nga 9 Ogwomwenda 1945 ng’Omubiitokati Elizabeth Bagaya ne mwannyina omukulu . Yasomera mu Budo Primary School, Nyakasura School e Fort Portal, Sherborne School, Dorset, ne ku Ssettendekero wa Makereremu Kampala . Yalinnya ku ntebe nga kitaawe afudde, nga 21 Ogwekkuminebiri 1965. Yatikkirwa engule mu Lutikko ya St John Cathedral, Kabarole, nga 2 Ogwokusatu 1966.
Obulamu bwe obw’obufumbo
[kyusa | kolera mu edit source]Nga 10 Ogusooka 1987, yawasa Best Kemigisa, muwala w’Omubiito Mujungu, ow’ekika kya Batuku, ow’e Rwebisengo, mu Disitulikiti y’e Bundibugyo,( Disitulikiti y’e Ntoroko okuva mu 2017). Yazaalibwa mu 1967, yasomera mu Kahinju Primary School, Mpanga Senior Secondary School ne Kyebambe Girls School, byonna mu Bukama bwa Tooro . Ye mutandisi era omulungamya w’ekibiina ekigatta abakyala ekya To(o)ro Women’s Development Association.
Abaana be
[kyusa | kolera mu edit source]Omukama Kaboyo Olimi III yazaala abaana basatu; omulenzi omu n’abawala babiri. [2]
- Rukirabasaija Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV, nga ye Omukama w’e Tooro afuga mu kiseera kino.
- Omubiitokati Ruth Nsemere Komuntale. Yazaalibwa mu 1989. Yasomera mu Aga Khan Primary School mu Kampala ne mu International School e Tripoli mu Libya . Yatuuzibwa nga Batebe eri muganda we, Oyo Nyimba Iguru Rukidi IV, nga 12 Ogwomwenda 1996.
- Omumbejja (Omubiitokati) Celia Komukyeya. Yazaalibwa mu 1994. Yafa obulwadde bwa kookola w'omu musaayi, mu ddwaliro lya Royal Marsden Hospital, London, mu Ogwekkumi 1997.
Obukulembeze bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Omukama Kaboyo Olimi III yagobwa ku ntebe ku kuggibwawo kw'Obwakabaka nga kyakolebwa gavumenti ya Obote, nga 8 Ogwomwenda 1967. Yayingira mu kitongole kya Uganda eky'ensonga z'ebweru mu 1986. Yaweerezaako nga Minisita mu Embase ya Uganda e Dar-es-Salaam, Tanzania, wakati wa 1987 ne 1990. Yali Ambasada wa Uganda e Cuba, okuva 1990 okutuuka mu 1993. Nga 24 Ogwomusanvu 1993 yalangirirwa, oluvanyuma gavumenti ya Yoweri Kaguta Museveni okuzaawo obwakabaka mu Uganda. Yafa nga 26 Ogwomunaana 1995 mu lubiri lwe e Fort Portal, nga wa myaka 49. [3]