Jump to content

Omulembe Omutebi(the Mutebi era)

Bisangiddwa ku Wikipedia

"Omulembe Omutebi"

     (the Mutebi Era)

Omulembe Omutebi bwe bwakabaka bwa Buganda obwatandika mu butongole mu 1993 oluvannyuma lw'amatikkira ga Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi. Omulembe Omutebi gwajjawo oluvannyuma lw'entalo ezaali zitaaguddetaagudde Buganda ne Uganda okutwalira awamu era eby'obuwangwa bya Buganda nga byali biddiridde nnyo olw'obukulembeze obwali buggyewo Obuganda obwalina obukyayi, effutwa, enge, n'empiiga awamu n'okulabira ddala nga Buganda esaanawo. Ebintu ebikulu ebituukiddwako ku Mulembe Omutebi birimu bino:

(i) Okukulaakulanya Oluganda okutuuka ku mutindo gwa Sayansi. Oluganda lufuuse olulimi olusoose mu Afirika eri wansi w'eddungu Sahara okufuuka olulimi olwa sayansi olusobodde okweyubula ne luwandiika emmanduso(primers) mu:

  (a) Ekibalangulo (mathematics). "Ekibalangulo" era kiyitibwa "essomakubala".Okubala kivvuunula  "counting"
  (b) Sayansi ez'ensibo(the natural sciences). Sayansi ez'ensibo zirimu "essomabuziizi"(Chemistry), "Essomabuzimbe" oba "essomabutonde"(Physics)
  (c) Sayansi ez'Obulamu(Health sciences). Sayansi ez'obulamu zirimu:
       
        -Essomabiramu(Biology),Essomabulamu lirimu:Essomabulamu bwa nsolo(animal biology), essomabulamu bwa bimera(planty biology), n'essomabulamu obusirikitu(microbiology)
        -Essomabulamu bwa nsolo mulimu amasomo mangi ddala nga essomansolo(Zoology) n'essomabimera(botany), okunokoolayo gano gokka.

(ii) Muzzang'anda(restoring unity through forgiveness ). Olw'entalo n'okutabulatabula awamu n'okusiga obukyayi ebyakolebwa abafuzi b'amatwale n'abo abaabaddira mu bigere, abantu mu Buganda ne Uganda baateekebwamu omutima ogw'obukyayi ogwesigamizibwa ku musingi gw'amawanga oba obuwangwa n'eddiini. Omulembe omutebi gusize ensigo ezitaba abantu ab'enjawulo abasangibwa mu Buganda ne Uganda okutwalira awamu.