Omulimi n'omulunzi


Omulimi n'omulunzi bateekwa okubeera n’ekisolo oba n’ebisolo by'alabirira, olw'okufunako ebigimusa nga obusa, omusulo n’ebirala by'ateeka mu nnimiro ze ez’enva oba mu lusuku n'awalala asobole okuzza obuggya ettaka ly'alimirako.
Ebimu ku bisolo omulunzi by'asobola okubeera nabyo kuliko: embizzi, endiga, enkoko, obumyu, ente, embuzi, ebyennyanja, sekkoko, embaata n'ebirala bingi.
Emiti gy'ebibala n’enva endiirwa
Omulimi ateekwa okusimba emiti gy’ebibala n’enva endiirwa, nga bino bituyamba okwewala endwadde era n'okwongera okugaziya obwongo mu by'okuyiga, naddala abaana baffe, era n'okwongera ku maanyi g’obutonde mu nkula ey'ekitonde ekisajja. Enva endiirwa n’ebibala bikulu nnyo ku buli kijjulo ky’omulimi. Enva endiirwa tezisaana kusiikibwa na muzigo oba samuli yenna, wabula kugerekebwa.