Jump to content

Omunanansi

Bisangiddwa ku Wikipedia

Omunanansi (era guyitibwa Munanansi ) kyakunywa ekitali kya mwenge ekikolebwa okuva mu bikuta by’ennaanansi ebifumbibwa ebimanyiddwa olw’okubaamu ebiriisa nga Vitamin C, A, ne B, nga kitabulwamu n'entangawuzi n’amajaani. [1] Kye ky'okunywa ekikolebwa okutundibwa n'obutatundibwa. Gwasooka kukolebwa Baganda abaali bagatta omubisi gw’ennaanansi n’ebikoola n'amajaani. [1]

Okukola omunanansi

[kyusa | kolera mu edit source]

Enteekateeka y’omunanansi erimu okufumba ebikuta by’ennaanansi nga mulimu entangawuzi n’amajaani. Gusobola okunywebwa nga gunnyogoga oba nga gwokya, nga gulimu ssukaali oba omubisi gw’enjuki oba nga temuli. [2]

Emitendera egiyitwamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Funa ennaanansi ennyengevu ozooze nnyo okukasa nti ebikuta bitukula.
  • Sotta ennaanansi okugifuula ey’omubisi.
  • Ennaanansi gisalemu obutundu obutono nga obwenkanankana(ekyomunda n'ebikuta).
  • Ebitundu ebisaliddwa biteeke mu sseffuliya n’omubisi osseemu amazzi nga mangi.
  • Bifumbe okumala essaawa nga bbiri ku bbugumu erya waggulu okutuusa lwe bifuuka ebya kitaka.
  • Oluvannyuma ssaamu olubatu lw'entangawuzi n'amajaani obireke bitokote okumala wakati w’eddakiika 15 ne 30.
  • Bweguba guyidde, ggya esseppiti ku muliro ogureke guwole.
  • Gusengejje bulungi osigazeewo munanansi gwokka. [1] [2] [3] [4]

Olwo omunanansi gujja kuba gutuuse okunywebwa. Abanaagunywa basobola okulondawo okussaamu sukaali oba omubisi gw'enjuki. Ekyokunywa bwe kiba kya kutundibwa, olwo oli aba asobola okukisiba naakitegeka okutundibwa.

Emigaso gyagwo

[kyusa | kolera mu edit source]

Omunanansi kyakunywa kya bulamu ate nga tekirina bulabe bw’ogeraageranya n’ebyokunywa ebirala nga sooda. [1] Ennaanansi nnungi eri omubiri kubanga zirina obusobozi obuziyiza okuzimba n’okuyamba abaserikale b’omubiri olwa enzyme ey’amaanyi gye zirina eyitibwa bromelain . Ekibala kino n’ebikuta byakyo kirimu ebirungo omuli vitamins, minerals, fiber, n’ebirungo ebitta obutwa mu mubiri ne biziyiza endwadde. [4]

Omugaso mu kutunda omunanansi

[kyusa | kolera mu edit source]

Omunanansi guvaamu ensimbi eri bannannyini bizinensi entonotono ez’enjawulo kuba bateekamu ssente ntono ate nga bakola amagoba mangi. [4] [1]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 5 https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/life/omunaanasi-a-marriage-of-pineapple-and-tea-leaves-1528860
  2. 1 2 https://akitcheninuganda.com/2020/09/06/omunanansi-pineapple-juice-video/
  3. https://www.newvision.co.ug/news/1159298/pineapple-jam-juice
  4. 1 2 3 "Archive copy". Archived from the original on 2025-05-15. Retrieved 2025-10-18.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)