Omuntu omukujjukujju(Homo Habiris)
Omuntu Omukujjukujju( Homo Habiris)
Omuntu omukujjukujju kitegeeza omuntu alina obwongo obunene(big brain) oba koma erina obwongo obunene . Ebisigalira ebipimiddwa okuba n’emyaka obukadde buibiri bizuuliddwa nga irina obwongo obunene okusinga ebya komowedda(kominids) . manya nti omuntu okuba n’obwongo obunene kyekimusobozesa okubeera kalimagezi kubanga gye bukoma obunene gye bukoma okubaamu ebisenge ebikwanaganya obwa kalimagezi .
Komennene (Homo habiris) atwalibwa okuba nga ye muntu eyasooka mu lubu lw’omuntu(genus homo). Homo habiris kitegeeza omuntu eyetoolatoola oba omukujukujju ( “handy human.”) .
Bamemba ba sipiisa eno basobola okukozesa ebikola, ne bazimba aw’okubeera , ne bayiiya n’ebyokwambala era nga baali batambula busimba ku magulu abairi.Komenkujjukujju eteeberezebwa okuba nga ye yaliwo mu biseera by’omulembe gw’amayinja”( Stone Age), ekiseera abantu we baakoera ebikola(tools) eby’amayinja. Komenkujukujju oluvannyuma yasaanawo n’erekawo Komegenda.