Omusimba ogw'Ekkumi (Base Ten)

Bisangiddwa ku Wikipedia

From IALI NGO with authority from terminologist Charles Muwanga !!

Omusingi gwa namba ogw’ekkumi=Omusimba

       (Number Base Ten)

Ensengekera eno eragibwa mu namba z’emitonnyeze ekkumi . Omusingi ogw’ensengekera ya kkumi ze namba e 10 . Kino kitegeeza nti nti waliwo obubonero 10 , obutandikira ku ziro okutuukaku 9.Mu ngeri y’emu , kino kitegeeza ensengekera ekozesa obubonero obusatu 0, 1ne 2 guba musingi gwa namba ogwa 3, ensengekera ya namba eyeyambisa obubonero obuna ,0,1,2,3 guba musingi gwa namba ogwa nnya , n’ensengekera endala bwe zityo okweyongarayo nga wano mu taabulo eno:

Ensengekera ya namba Omusimba Omugereko gwa digito


Omusimba ogwa 3 3 0, 1, 2

Omusimba ogwa 4 4 0, 1, 2, 3

Omusimba ogwa 5 5 0, 1, 2, 3, 4

Omusimba ogwa 6 6 0, 1, 2, 3, 4, 5

Omusimba ogwa 7 7 0, 1, 2, 3, 4, 5, 6

Omusimba ogwa 8 8 0, 1, 2, 3, 4, 5, 6, 7

Omusimba ogwa 9 9 0, 1, 2, 3, 4, 5, 6, 7, 8

Omusimba ogwa 10 10 0, 1, 2, 3, 4, 5, 6, 7, 8, 9


Mu musingi gwa namba ogw’ekkumi(omusimba ogw'ekkumi) mulimu ebika bya namba eby’enjawulo omuntu yenna k’abe mubalanguzi oba nga si mubalanguzi bye yetaaga okunnyonnyoka mu bulamu obwa bulijjo. Bye bino:


a) Namba eza kibazo (cardinal numbers)

b) Namba ezibala (counting numbers)

c) Namba eza ndagakifo (ordinal numbers)

d) Namba eza ndagalinnya (nominal numbers )

e) Namba enzijuvu (Whole numbers)

f) Kibalirampuyibbiri (integers)

g) Namba ez’ensibo /ez'obutonde) (natural numbers)

h) Namba za kyegabanya (Even numbers )

i) Namba eza kigaaniremu/Kigaanira (odd numbers)

j) Emikutule (Fractions)

k) Namba ez’omugerageranyo (Rational Numbers)

l) Namba ezitali za mugerageranyo (Irrational Numbers)

m) Namba Zennyini ( Real numbers)

n) Namba Ez’omuteeberezo (Imaginary Numbers)

o) Namba za kyebiriga (Square numbers )

p) Namba za kyesatuza (Cube numbers)

q)Namba enzibuwavu (Complex numbers)