Omusingi gw'Ebyenfuna(The Economic Base)
Empagi luwaga ey’ensiisira eva wansi mu musingi (ekinnya) omuwanvu obulungi okusobola okuba ennywevu obulungi. Mu ngeri y’emu, omusingi gw’ebyenfuna (economic base) ogugerageranya n’omusingi guno oguggumiza empagi luwaga mu ttaka.
Mu byobufuna, omusingi gusinziira ku mpalirizo z’entondeka y’ebikole n’enkolagana (emikwanaganyo) z’ebyanfuna.
Ekimu ku bintu ebikulu mu somo ly’ebyobufuna kwe kumanya nti ebyabyafaayo by’entondeka y’ebikole (the history of production) n’enkulaakulana y’entabaganya, byafaayo bya nkulaakulana mu sayansi ne tekinologiya.
Enkulaakulana mu sayansi ne tekinologiya etambulira wamu n’okuyivuwaza ennimi enzaaliranwa ng’abantu abazaaliranwa bazimba ebigambo bya sayansi, ekibalangulo, ne tekinologiya mu nnimi zabwe.
Okubuzaabuza okwakolebwa abafuzi b’amatwale ky’ekimu ekyalemesa abantu abazaaliranwa okukulaakulanya ennimi zaabwe mu sayansi ne tekinologiya ne kireka omusingi gw’ebyenfuna nga mufunda era nga singa tewabaawo kikolebwa gujja kusigala nga mufunda.
Okusobola okujjawo okudibonkanya okwakolebwa abafuzi b’amatwale kitwetaagisa:
i) Okuba abannyonnyofu mu byobufuna by’entabaganya, okutandika n’ebyafaayo by’enkulaakulana y’entabaganya ezikulaakulanye ng’obigerageranyizza n’ezaffewano mu Afrika.
ii) Okuzimbulula omusingi gw’ebyenfuna omufunda (narrow economic base). Abangereza baaleka omusingi gw’ebyefuna omufunda ennyo ogwesigamye ku masomo aga sayansi agagubya obugubya obusobozi bwaffe awamu n’okulima n’amakolero agatalina musingi mu kutendekebwa kwaffe wano.
iii) Okwewala ebikolwa n’enkola ezawulayawula mu bantu, Buganda, Uganda, ne Afirika okutwalira awamu. Okutambuliza eggwanga mu nkola ezawulayawula mu bantu okusinziira ku buwangwa n’amadiini kirina okwewalibwa. Kino kirimu okuwa enkizo abantu ab’obuwangwa obumu n’okudibaga eby’enfuna by’obuwangwa obulala.
iv) Okwewala enkwe, okukozesa obubi obuyinza, okudiibuuda, obulyake, obuli bw’enguzi, n’obunyunyunsi.
v) Okwewala embeera z’ebyenfuna n’ebyofunfuzi ez’obukyayi mu bantu ab’enjawulo mu ggwanga.
vi) Okwenyigira ennyo mu by’obulimi ebiri ku mutindo gw’obusuubuzi mu kifo ky’abo abalina ettaka okulitunda bbo ne bagenda mu “dayasipola” (ebweru wa Uganda) ate abalala ne bagulamu ebya eby’okwejalabya ng’emotoka, bodaboda, n’okukola embaga ez’okweraga.
vii) Obuteesiba ku kulima kwokka ng’ekyobuwangwa wabula okukola buli kalimu akaleeta ssente gamba ng’okulunda. Abantu baffe balina endowooza ey’emabega egamba nti okulunda tekuli mu buwangwa bwa bwaffe, ensonga lwaki abantu abalunda babayiseeko kuba bbo balunda ate ne balima nga bakozesa nakavundira ava mu busa bw’ensolo ze balunda okujimusa ettaka. Ensolo zino zirya muddobuddo gwetulina wano mu bungi.
viii) Okuteekawo enkolagana ennungi mu byenfuna, ebyobufuzi n’ebyobuwangwa mu mawanga agali mu Uganda ne Afrika okutwalira awamu.
ix) Abaganda Okwagala obwakabaka bwaffe ng’ekifundikwa ky’ebyobuwangwa n’empisa zaffe. Obwakabaka y’enkulungo ya Sebasitula wa Buganda.
x) Okuyivuwaza (intellectualization) ennimi zaffe ez’ekinnansi. Twetaaga okukulaakulanya amagezi aga sayansi, ekibalangulo ne tekinologiya mu nnimi zaffe ez’obuzaaliranwa.