Omusuja gw’enkaka (Yellow fever)

Bisangiddwa ku Wikipedia


Obubonero n’enfaanana[kyusa | edit source]

Buno bulwadde obuleetebwa akawuka era nga butera okujja n’obubonero okuli: omusujja, obutayagala kulya, okusinduukirirwa emmeeme, okulumizibwa mu nnyingo, omutwe oguluma. Obubonero buno businga kweyolekera mu nnaku ezitasukka ttaano, kyoka mu bantu abamu, mu lunaku obulwadde buno we bweyongera, bafuna omusujja mungi, olubuto oluluma n’okukosa ekibumba kutandika ekireetera olususu okufuuka olwa kyenvu. Kino bwe kibaawo , olwo n’akatyabaga k’okuvaamu omusaayi wamu n’okulwala kwensigo kweyongera.

Ekibuleeta[kyusa | edit source]

Obulwadde buno buleetebwa akawuka akayitibwa yellow fever virus era ne kasaasaanyizibwa ensiri enkazi, singa eluma omuntu.Obulwadde buno bukwata bantu,ebisolo ebirala ebigwa mu luse lw’abantu n’ebimu ku bika byensiri.Obulwadde buno bwandiba obuzibu bw’okuzuulirawo, okujjako ng’omuntu amaze kufuna bubonero obwo waggulu, era okubukakasa omulwadde bamala kumujjako omusaayi ne gukeberebwa.

Okugema[kyusa | edit source]

Lyo eddagala erigema obulwadde buno gyeriri era mu mawanga agamu kiba kya buwaze eri abatambuze (abalambuzi) okugemebwa. Enkola endala ez’okwewalamu omusujja guno, kuliko okutta ensiri ezibusaasaanya. Yo mu bifo ewali abalwadde abangi ng’ate tewaaliyo kugema, abalwadde bakeberebwa mangu era n’okugema abantu mu bungi kikorebwa okwongera okubuziyiza. Eyo mu bitundu gye buba bukutte ennyo ate abantu ne batafuna bujjanjabi, abalwadde ebitundu ataano ku buli kikumi bafa.