Jump to content

Omusujja gw'Enkaka

Bisangiddwa ku Wikipedia
YellowFeverVirus

Enkaka ndwadde efuula olususu olwa kyenvu, era nga efuula n'amaaso okuba aga kyenvu, nga kiva ku kweyongera kwa kirungo ekya kyenvu ekiva mu kwesengejja kw'omusaayi mu mubiri ekiyitibwa Birilubin. [1]

Obulwadde buno buleeta ebintu ng'okusiiyibwa olususu, okufuluma obubi obwa kyenvu ennyo, ate n'omusulo nga gwa kyenvu omukwafu. Era obulwadde buno bukwata nnyo abaana abato nga baakazaalibwa naddala mu wiiki esooka, naye buno tebuba bwa bulabe nnyo eri omwana oyo. Kyokka ekirungo ekyo ekiyitibwa birilubin bwe kyeyongera ennyo mu musaayi gw'omwana oyo okumala ekiseera ekiwerako, kyandimuviirako okufuna obulemu ku bwongo ekiyitibwa kernicterus.

Obungi bw'ekirungo kya birilubin mu musaayi, mu mbeera eya bulijjo tekiyina kusukka milligram emu, kyokka birilubin bw'atuuka wakati wa milligram ebbiri n'essatu mu musaayi, olwo kwe kufuna omusujja guno ogw'enkaka.

Embeera endala eziyinza okupeeruusa olususu ne lufuuka lwa kyenvu kyokka nga si musujja gwa nkaka, mulimu obulwadde obuyitibwa Carotenemia ekireetebwa omuntu okulya emmere ey'ekika ekimu mu bungi ate okumala ebbanga eddene.

Ekirala ekiyinza okuleetawo embeera eyo, lye limu ku ddagala erikozesebwa, gamba nga eriyitibwa Rifampicin erikozesebwa mu kujjanjaba endwadde ng'akafuba.

Mu mawanga agaakula edda enkaka esinga kuleetebwa kuzibikira kwa kakutu akaleeta omubisi ogugonza emmere okuva mu kibumba, akayitibwa (Bile duct), kyokka nga yo mu mawanga agakyakula enkaka esinga kusiigibwa busiigibwa naddala obuwuka obuyitibwa arbovirus obuleetebwa ensiri eyitibwa Aede.

Okuzibikira kw'akakutu kali aka 'bile duct' kitera kuva ku ndwadde nga kookola (cancer) awamu n'obulwadde obukwata akalulwe obuyitibwa 'Pancreatitis'.

Obujjanjabi bw'omusujja guno businziira ku ekiguleese. Okugeza, singa kizuulwa nti ensibuko y'omusujja guno kuzibikira kwa kakutu kali aka 'bile duct', awo omulwadde aba alina okulongoosebwa ng'etteeka okukazibukula era n'okuwona. Kyokka ate bwe kiba ng'obulwadde busiigiddwa buwuka, era bufunirwa eddagala, oba okuyimiriza omulwadde okuddamu okukozesa eddagala eriyinza okuba nga lye libuleeta.

  1. https://en.wikipedia.org/wiki/Jaundice