Jump to content

Omusujja gwa Typhoid

Bisangiddwa ku Wikipedia
SalmonellaTyphiFlagellar which cause Typhoid

Omusujja gwa Typhoid (era ogumanyiddwa nga omusujja gw'omu byenda) guleetebwa obuwuka obuyitibwa Salmonella Typhi nga bukwata mu byenda ne mu musaayi.Omusujja guno bwe gukukwata otandika okufuna (okulaba) obubonero bwagwo mu bbanga eriri wakati w'ennaku omukaaga n'asatu (6-30 days).[1]

Obubonero bw'omusujja gwa Typhiod

[kyusa | kolera mu edit source]

Omuntu bw’afuna omusujja guno nga gwa maanyi okumala ennaku eziwera, anafuwa omubiri, alumizibwa mu lubuto, akaluubirizibwa mu kufuluma era alumizibwa n’omutwe. Wabula, waliwo n’abafuna obutulututtu ku mubiri. Omusujja gw’omu byenda gukwatira mu kulya era n'okunywa amazzi oba emmere ebiba birina akakwate ku bubi bw'oyo eyakwatibwa edda obulwadde buno. Omusujja guno gukwata bantu bokka, tegukwata kisolo kyonna.

Obubonero obulala obw’omusujja gw’omu byenda bwe buno. Mu mbeera ng'omulwadde alina omusujja gw’omu byenda tajjanjabiddwa, obulwadde buno bulina emitendera ena, era nga buli mutendera gumala wiiki ng'emu era, gye gino wammanga:

  • Mu wiiki esooka, ebbugumu ly'omulwadde litadika mpolampola okulinnya nga kw’otadde okuwuliramu engeri y'omusujja. Embeera eno ewerekerwa ebintu ng'okukendeera mu ntujja (enkuba) y'omutima, okulumizibwa kw'omubiri,omutwe oguluma ssaako n'ekifuba ekikololwa.
  • Mu birala mulimu okwerumika n'okulumwa olubuto. Kyokka ssinga bakukebera mu kiseera kino ekya wiiki esooka bwe bakukebera tebasobola kugulaba.
  • Mu wiiki ey'okubiri, omulwadde atandika okuba omunafu ddala era kimuwa obuzibu okuzuukuka,era olwadde afuna n'obutulututtu.
  • Olubuto lwongera okugejja(okuzimba) wamu n'okukulumwa, era wano osobola okufuna n'ekiddukano. Akabonero ek'enkukunala ak'obulwadde buno kali nti omulwadde oyo abaafuna omusujja buli kawungeezi mu wiiki esooka n'eyookubiri.
  • Mu wiiki eyookusatu, ebyenda bitandika okuvaamu olusaayisaayi.
  • Wiiki eyookusatu weggweerako ng'omusujja gutandise okukendeera

Okuziyizaamu omusujja gwa Typhoid

[kyusa | kolera mu edit source]

Okubeera abayonjo. Okusinga ennyo obulwadde buno bukwatira mu byakulya ne mu mazzi agalimu obubi bw’oyo eyakwatibwako obulwadde buno.

Okujjanjaba endwadde eno, eddagala lino wammanga lye limu ku likozesebwa: Oral rehydration therapy, ekika kya Fluoroquinolone okuli eddagala nga eiprofloxacin n'ebika by'eddagala ebirala bingi. Ebiseera ebisinga endwadde y’omusujja gw’omu byenda bw'eba ejjanjabiddwa mu budde ewona bulungi.

  1. https://en.wikipedia.org/wiki/Wikipedia:WikiProject_Medicine/Translation_task_force/RTT/Simple_typhoid_fever