Jump to content

Omuwendo gw'ekifo(Place Value)

Bisangiddwa ku Wikipedia
place values

Gakuweebwa Muwanga !!Omuwendo gw’Ekifo mu Namba (Place Value in a number)

Mu kibalangulo bwe twogera ku muwendo gw’ekifo tuba tutegeeza omuwendo gw’ekifo mu namba. Mu namba buli kifo kirina omuwendo(value). Waliwo ebintu bitaano ebyetaagisa okutegeera omulamwa gw’omuwendo gw’ekifo.

(i ) Okuyiga buli namba bw’eyitibwa awamu, engeri gye zidding’ana n’engeri gye zikozesebwa okubala obungi, n’okukozesa namba mu ngeri ez’enjawulo mu bulamu obwa bulijjo mu kwogera, okusoma n’okuwandiika.

Omuzadde alina okulaba nga omwana ayiga okubala ebintu n’okutegeera bimeka oba meka buli linnya lya namba kye litegeeza. Abazadde n’abasomsa wano balina okulaba ng’abaana bafuna okwegezaamu ekimala nga babala namba okusooka nga bakoma ku 10 bwe bamala ne beyongerayo okumanya nti namba eziri mu kkumi zonna zirina ennyingo “kumi”, eziri mu abiri zonna zirina ennyingo “abiri”, n’okweyongerayo awatali kusooka kwebuuza lwaki kiri kityo.

(ii)Okukozesa namba okugatta n’okwawuza mu bulamu obwa bulijjo. Okugatta n’okwawuza ebisookerwako omwana abiyigira mu bulamu obwa bulijjo nga azannya n’ebintu ebiri mu bungi okutandika n’ebifaanagana. Kyetaagisa nnyo abaana okufuna okwegezaamu okunnyonnyoka engeri y’okugattamu emigogo gya namba za digito emu ku emu awamu n’okwawuza.

(iii) Obubondo bwa namba (group numbers). Muno mulimu okubala ebintu mu bubondo n’okumanyiira okubalira mu bubondo (practice with groupings), nga okubala ebintu mu misengeko egya ttaano ttaano awatali kuddingana buddinganyi 7, 14, 21, n’okweyongerayo. Muno mulimu n’okusobola okusoma n’okuwandiika ebintu mu bubondo awatali miramwa gya muwendo gwa kifo naye lwa kuba wayiga okuwandiika namba. Wegezeemu n’obubondo (ebibinja) bwa namba nga obubondo obwa 2, obwa 3, obwa 5, oba obwa 10.

(iv) Okukozesa obwongo ng’okozesa namba ng’ogoberera emitendera emisengeke (logical steps). Ensengekera ya namba gye tukozesa  esinziira  ku kumi kubanga ekozesa obubonero kumi bwokka obuyitibwa digito (digits). Nga tukozesa obubonero buno ekkumi tuyinza okuwandiika namba yonna.  

Endagamuwendo ekkumi

Endagamuwendo(digits) ze tukozesa kati ziyitibwa “Namba za Kiyindi-Kiwarabu” ("Hindu-Arabic Numerals) era zifaanana bwe zti:

0 1 2 3 4 5 6 7 8 9

Zino oyinza okuzikozesa ku bwazo okubala okutuuka ku mwenda. Okubala kkumi oba okweyongerayo, tuba tutandika n’omusimbalaala omulala, omusimbalala ogwa “amakumi”, olwo ne tuwandiika amakumi ameka ge tulina, ne tuddirira namunigina meka.

Namba “13 “etegeeza erimu ekkumi limu ne namunigina(ensusuuba) 3Kino era kiyinza okuwandiikibwa nga (1 × 10) + (3 × 1). Ekyokulabirako:"75" kitegeeza amakumi musanvu ne namunigina 5 oba(7 × 10) + (5 × 1)

Bwe tuba n’emiramwa egisukka mu 99, tuba tutandika omusumbalala omulala. Wano twetaaga okulaga ebikumi bimeka, amakumi ameka ne namunigina meka. Mu namba 194 tuba tulina ekikumi kimu, amakumi mwenda, ne namunigina nnya. Kino era tuyinza okukiwandiika nga (1 × 100) + (9 × 10) + (4 × 1). Mu namba "735" oba okiraba nti mulimu ebikumi 7, amakumi 3 ne namunigina 5,era ekiyinza okulagibwa nga (7×100 )+ (3×10 )+ (5×1).

Okutwalira awamu buli lw’oyagala okulaga namba esingako obunene, tuba tugattako omusimbalala gumu (one column) ku kkono era ne tumanya nti kino kitegeeza emirundi 10 okusingako omusimbalala oguli ku ddyo. Kati okiraba nti wetuteeka digito wa mugaso nnyo.