Jump to content

Omuyimbi Catherine Abbo

Bisangiddwa ku Wikipedia

    Catherine Abbo (yazaalibwa mu 1972) Munnayuganda anoonyereza, omusawo era musomesa . [1] Mu kiseera kino aweereza ng'omusomesa mu kitongole ky'ebyobulamu bw'emitwe, essomero ly'obusawo(School of Medicine), College of Health Sciences mu Makerere University . [2]

    Ebyenjigiriza

    [kyusa | kolera mu edit source]

    Yatikkirwa mu yunivasite e Makerere n’afuna diguli esooka mu by’obusawo n’okulongoosa, diguli ey'okubiri mu [./Psychiatryhttps://en.wikipedia.org/wiki/Psychiatry by’obulamu bw’emitwe] okuva mu yunivasite e Makerere, diguli ey'okusatu mu by’obulamu bw’emitwe okuva mu yunivasite e Makerere ne Karolinska Institute, mu Sweden (2005-2009). [3] [4] diguli ey'okubiri mu by’obufirosoofo mu by’obulamu bw’abaana n’abavubuka okuva mu Yunivasite y’e Cape (2012-2014). [1] munne mu College of Medicine eya South Afrika . [3] [2]

    Abbo yakola okwegezaamu mu by’obusawo mu ddwaaliro e Mulago mu Kampala oluvannyuma naweereza nga"Medical Officer" mu ddwaaliro ly'e Butabika National Mental Referral Hospital. [1] [2] [3] Mu gw'omukaaga 2006, Abbo yeegatta ku yunivasite e Makerere ng’omusomesa omuyambi mu kitongole ky’eby’emitwe. [3] [1] [4] Musomesa owekiseera ekigere mu yunivasite y'e Gulu mu kitongole ky'obusawo . [3] [5] [2]

    Okunoonyereza

    [kyusa | kolera mu edit source]

    Afulumizza bye yazudde mu kunoonyereza kwe mu mwana n'omuvubuka, obujjanjabi bw'eby'omutwe n'obwongo ne "Transcultural Psychiatry" [3] mu bitabo by’obusawo n' ebirala ebifulumizibwa banne. Noolwekyo ajuliziddwa n’omuwendo gwa H-index ogwa 46 nga guliko ebijuliziddwa 847 era bw’atyo afulumizza ebizuuliddwa mu kunoonyereza mu bitabo ebisukka mu 67 ebikebereddwa banne ebya Scientific publications. [6] [7] [8] [5] Yaweebwa engule ya Young Minds Award mu 2005 mu by'obulamu bw'emitwe okuva mu kibiina ekigatta abasawo b'emitwe mu Amerika mu mutendera gw'ensi yonna [9] [10]

    Akola nga Pulezidenti Elect Uganda Psychiatric Association, ssentebe wa UMA SACCO, ssentebe wa Governing Council ku Butabika School of Psychiatric Clinical Officers.

    Ebiwandiiko ebikozeseddwa

    [kyusa | kolera mu edit source]
    1. 1 2 3 4 "Catherine Abbo | Makerere University College Of Health Sciences | MakCHS". Chs.mak.ac.ug. Archived from the original on 2021-07-09. Retrieved 2021-07-08.
    2. 1 2 3 4 "Makerere University 2019 Course Lecturers". Ginger.sph.harvard.edu. May 8, 2019. Archived from the original on July 9, 2021. Retrieved July 8, 2021.
    3. 1 2 3 4 5 6 "Dr. Catherine Abbo – Save Children With Autism Uganda". Autismuganda.org. Archived from the original on 2021-07-09. Retrieved 2021-07-08.
    4. 1 2 "Catherine Abbo Profile - The International Alumni Association". Thealumniassociation.com.
    5. 1 2 "Catherine Abbo (0000-0002-5972-6194)". Orcid.org.
    6. "Catherine Abbo". Researchgate.net. Retrieved 9 November 2021.
    7. "Europe PMC". Europepmc.org.
    8. "Collaborative Research – THRiVE". Europepmc.org. Retrieved 9 November 2021.
    9. "American Psychiatric Association And AstraZeneca PLC Award Unique International Career Development Prizes To Top Psychiatry Researchers". BioSpace.com. Archived from the original on 9 November 2021. Retrieved 9 November 2021.
    10. "Psychiatrist Says Ongwen's 'Resilience' Should be Taken into Account When ICC Considers Judgement". Ijmonitor.org. 13 April 2018. Retrieved 9 November 2021.

    Ebiyungo eby’ebweru

    [kyusa | kolera mu edit source]

    Lua error: Invalid configuration file.