Jump to content

Omuyimbi Eunice Otuko Apio

Bisangiddwa ku Wikipedia

Eunice Otuko Apio (yazaalibwa mu 1976) munnabyabufuzi enzaalwa ya Uganda, omuwandiisi, omunoonyereza ku by'eddembe ly'obuntu n'emirembe.[1] Y'omu ku bammemba b'ekibiina kya Uganda People's Congress (UPC) eyafuuka omubaka wa Oyam North Constituency mu Palamenti ya Uganda ey'e 11 oluvannyuma lw'okuwangula akalulu akaaliwo nga July 6, 2023.[2][3] Y'omu ku batandisi ba Facilitation for Peace and Development.[1]

Obulamu obw'obuto n'obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Apio yazaalibwa mu disistulikiti y'e Oyam mu famire y'abooluganda mwenda. Yagenda mu St. Mary's Aboke Girls' okusoma pulayimale n'agenda mu Tororo Girls' School mu 1992 gye yasomera siniya n'amaliriza mu 1996.[1] Yeegatta ku Makerere University gye yafunira diguli mu Sayansi.

Oluvannyuma lw'okumaliriza emisomo mu yunivasite y'e Makerere, Yakolako ng'omuwi w'amagezi ku nkulaakulana mu ofiisi za gavumenti ez'ebitundu. Mu 2000, yeegatta ku kakiiko ka Uganda Human Rights Commission, omulimu gwe yaleka oluvannyuma lw'emyezi ebiri n'atandikawo ekibiina kye ekirwanirira eddembe ly'obuntu ekiyitibwa Facilitation for Peace and Development.[1]

Akola ng'omubaka omukyala wa Oyam County North oluvannyuma lw'okufa kwa Charles Engola.[4]Omukolo gw'okulayiza gwabaawo nga July 20, 2023.[5][6]

Apio era abadde mulwanirizi w'eddembe ly'obuntu era omulwanirizi w'emirembe mu bukiikakkono bwa Uganda mu distulikiti y'e Lira, mu ssaza ly'e Oyam okuva mu 2006 oluvannyuma lw'okugwawo kwa LRA.[1]

Ebirabo n'okulondwebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Muwanguzi wa Janzi Award olw'ekitabo (Zurz Maid).[7]
  • Yalondebwa okufuna ekirabo kya 2022 Women Building Peace Award.[8]
  1. 1 2 3 4 5 https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/life/eunice-apio-the-war-shaped-her-life-1516740
  2. https://nilepost.co.ug/politics/165028/who-is-dr-apio-otuko-the-new-oyam-north-mp
  3. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/women-mps-making-oyam-a-model-district--4306136
  4. https://ugandaradionetwork.net/story/otuko-sworn-in-as-oyam-north-mp
  5. https://www.independent.co.ug/new-oyam-north-mp-apio-otuko-eunice-takes-oath/
  6. https://nilepost.co.ug/editors-choice/164154
  7. https://www.chibow.org/single-post/dr-eunice-otuko-apio-wins-the-janzi-award-for-new-book
  8. https://www.cbow.org/post/dr-eunice-apio-shortlisted-for-2022-women-building-peace-award