Omuyimbi Joselyn Kamateneti
Joselyn Kamateneti ( yazaalibwa 16 Ogwokuna, 1982) mubalirizi w'ebitabo era munnabyabufuzi mu Uganda, akola ng'omubaka wa palamenti Omukyala owa disitulikiti y'e Ntungamo mu palamenti ya Uganda ey'ekkumi n'emu (2021 okutuuka 2026). [1][2]
Obulamu obwasooka n’okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]Joselyn Kamateneti yazaalibwa nga 16 Ogw'okuna, 1982 ku kyalo Nyabushenyi, mu ggombolola eye Nyabushenyi, mu disitulikiti y’e Ntungamo, mu maserengeta ga Uganda, eri mugenzi Tadeo Kanyankore-Kakiga ne Norah Twinomugisha. [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (March 2024)">okujuliza kwetaagisa</span> ]
Yasomera Nyakisa Primary School okusoma pulayimale, Hornby High School e Kabale okusoma O'level n'oluvannyuma n'agenda mu Immaculate Heart Nyakibare Girls' Secondary School okusoma A'level. [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (March 2024)">okujuliza kwetaagisa</span> ]
Oluvannyuma yeegatta ku Makerere University, Kampala, gye yafunira diguli ye eyasooka mu by’obusuubuzi, ng’akuguse mu by’ensimbi. [2]
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Joselyn Kamateneti yakolera wamu ne Crane Bank Uganda, nga tannayingira Bank of Uganda gye yali akola nga omubalirizi w’ebitabo. Nga tannayingira byabufuzi, yali alina bizinensi mu Kampala ng’asuubula eby’okukuba ebitabo n’eby’okuwandiika. [2]
Obulamu bw’omuntu ku bubwe
[kyusa | kolera mu edit source]Joselyn Kamateneti mufumbo ne Sande Baata-Kaketto eyali kansala w’eggombolola y’e Nyabihoko sub-county, mu disitulikiti y’e Ntungamo era balina abaana bana. [2]
Ebijuliizddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Agent holds MP's academic papers hostage, demands Shs209m". Monitor (in Lungereza). 2021-08-12. Retrieved 2024-03-16.
- 1 2 3 4 "Know your MP-elect: Joselyn Kamateneti". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-03-16. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":0" defined multiple times with different content