Jump to content

Omuyivu oba Omuyivuwavu(Learned person or Intellectual?)

Bisangiddwa ku Wikipedia

IALI NGO has been authorized by terminologist Charles Muwanga to post this article from his Luganda scientific works on Luganda Wikipedia for free public consumption.

Omuyivu (learned person ) oba omuyivuwavu (Intellectual) ?

Omuyivu oba omuyivuwavu ye muntu akola ng’omusomesa oba omunoonyerezi mu settendekero oba ettendekero erya waggulu lyonna. Mu bungi bano be bayitibwa abayivu(learned person) oba abayivuwavu(intellectuals).

Omuyivuwavu(intellectual) kiva mu bigambo "omuyivu ekiwanvu , ekitegeeza nti "omuyivuwavu" atera okuba ng’alina diguli eza waggulu( advanced degree) era nga "omukenkufu"(Professor) y'asembayo waggulu mu ttuluba er'abayivu ekiwanvu(abayivuwavu.

Omuyizi ali mu mitendera egya waggulu mu matendekerro ne Settendekero naye ayinza okubalibwa nga omuyivu naye aba tannaba kufuuka "muyivuwavu"(intellectual).

Okutwalira awamu omuyivuwavu(intellectual) aba waggulu wa muyivu.Omuyivuwavu ekimufuula omuyivu ekiwanvu lwa kwenyigira mu misomo egya waggulu , asomye ennyo n'okukola okunoonyereza okuviira ddala mu biseera bye eby'obuyizi obw’emitendera egya waggulu okutuuka ku abakenkufu (Professors) ne bakakensa (specialists).

Ekibuuzo ekyobuyivu (academic question) kye ki ?

Ekibuuzo eky'obuyivu kisonjolwa nga  ekibuuzo ekitasobola kuddibwamu mu ngeri emu kyokka abantu kye baagala okulowoozaako n’okukubaganyaako ebirowoozo .Ekyokulabirako ky’ekibuuzo eky'obuyivu  kwe kuba ng’oba ddala   waliwo  ensengekera y’enjuba (solar system) endala erina enkulungo(planet) okuli obulamu ?