Omuzira ow'entiisa (Tragic Hero)

Omulamwa gw’Omuzira ow’entiisa mu buwangwa bwaffe
Omuntu obutafuga mbeera ze ez’obuntu nga obwa nakyemalira , okwemanyamanya ,enge, empiiga, obukyayi, obutagambwako,enkwe,obusosoze, n'okunyumirwa ng'abalala bali mu bulumi oba mu kunyigirizibwa kifuula obulamu bwe obw’ekikolimo , oluusi n’akomekkereza mu nnaku ,olumu n’okufiira mu maanyi oba mu ntiisa.
Ono bw’aba nga mukulembeze oba ng’alina ekifo eky’enjawulo mu ntabaganya (society), ayitibwa “mupalattanyi” (protoganist) , omuzira ow’ekikolimo(cursed hero) , mukulembeze oba mufuzi wa ntiisa oba omuzira ow’entiisa (tragic hero). Kino kiva ku “kikolwa kazaalabulwa”(tragic flaw) nga okwegulumiza.
Manya enjawulo wakati w’obwetoowaze , okwegulumiza n’okukuuma ekitiibwa kyo eky’obuntu (self esteem) . Okukuuma ekitiibwa kyo eky’obuntu (self esteem) tekyetaagisa kwegulumiza yadde okwemotyamotya oba kwetya kuba kuno kuba kweteeka wansi wa kitiibwa kyo eky’obuntu(low self esteem) . Okwegulumiza n’okwemanyamanya kitegeeza kwesukkulumya ku kitiibwa kya buntu .Okwewa ekitiibwa eky’obuntu kintu ekikwenkanyankanya na buli muntu mu buttonde awatali kwefefetta yadde okwegulumiza.
Tandika okuwa abalala ekitiibwa n’okubatwala ng’abantu nga ggwe , yadde buli omu aba n’ebitone bya njawulo. Lekera awo okunoonya ensobi n’ ebikyaamu byokka mu balala naye noonya ebirungi ebibalimu kuba tewali atuukiridde ate era tewali atalina mugaso mu nsi. Okwegulumiza kuziyiza enkolagana ennungi n’abalala.
Singa omuntu alemwa okufuga embeera ze ez’obuntu ayinza okukomekkereza nga muntu wa ntiisa.