Omwenkanonkano

Bisangiddwa ku Wikipedia

Omwenkanonkano

Omwenkanonkano y'embeera nga buli muntu atwalibwa okubeera ku ddaala limu ng'omuntu omulala yenna awatali kusosolebwa nga basinziira Ku kikula kye. Kino kye kimu Ku bigendererwa by'ekibiina ky'amawanga amagatte nga okuleeta Omwenkanonkano mu mateeka, ensasula y’abakozi n'ebirala.

Ebyafaayo Omulwanyirizi w'omwenkanonkano eyasooka ye Christine da Pizan nga mu kitabo kye ekya The book of city of ladies yawandiika ku ngeri etaali nnung'amu abakyala gye baayisibwangamu. Ate ye Joseph Meachan yalaba nti abantu balina okutwalibwa ku ddaala lye limu era nga kino kye kyamuviirako okulonda Lucky Wright" mu kitongole kye yali akulembera okusobola okutandikawo omwenkanonkano.

Mu biseera ebyayita, omukazi yabeeranga yekka era n'abasajja nabo baabeeranga bokka. Mu bunnabuntu bwa Shaker, omusajja teyalina kakwate kyonna Ku mukazi okutuusa nga Wright aleeseewo enkola y'omwenkanonkano oluvannyuma lw'okufa kwa "Meacham" mu 1796. Shaker yateeka mu nkola embeera y'omwenkanonkano okumala emyaka 200 nga era akolera wamu n'ebibiina ebitaba abakazi. Mukulu wa Shaker Frederick Evans ng'akolaganira wamu ne Antoinette Doolittle yeegatta Ku kibiina ekitakabanira eddembe ly'abakazi okubunyisa endowooza y'omwenkanonkano mu America ey'obugwanjuba.

Ba Shaka kaali kabiina ka ddiini mu America era baateeka nnyo omwenkanonkano mu nkola ngabakkiriza abakazi okulonda wamu n'okukola mu yaafeesi z'ebitongole eby'enjawulo.

Emiziziko mu mwenkanonkano Waliwo okukolokotebwa kw'omwenkanonkano ng'abamu bagamba nti endowooza eno terina kiruubirirwa kwongera ku ddaala ly'abasajja wabula okwagala okuteeka abakyala ku ddaala ly'erimu n'abasajja. Abalwanirizi b'endowooza eno, beesigamye nnyo ku mbeera eri mu mawanga g'abazungu naye tebafuddeeyo ku ngeri abakazi gye bayitamu enyigiriza abakazi mu mawanga gano nga obutabanguko mu maka, okukakibwa omukwano n'ebirala.

Amaanyi g'okulwanyisa obutali bwenkanya mu bantu

Ebibiina by'amawanga binnyonnyola omwenkanonkano nga bisinsiira Ku ddembe ly'abantu naddala nga abakazi okukulaakulana mu by'enfuna. "UNICEF", Ennyinnyonnyola omwenkanonkano nga bagamba nti abantu bonna balina okuyisibwa mu ngeri y'emu. Ekitongole kya UNFPA kigamba nti, newankubadde endagaano nnyingi zitekeddwako emikono okuleetawo omwenkanonkano naye era abakazi bakyali wansi nnyo ku basajja mu bugagga, emirimu, okukola mu byenfuna n'emirala.

Mu 2010, European Union yatandikawo essomero lya European institute for gender equality ng'omu Ku kaweefube w'okuleeta omwenkanonkano. Omwenkanonkano kimu ku bisomesebwa mu mawanga nga Bungereza.

Okutyoboolebwa kw'abakazi

Okutyoboolebwa kw'abakazi abakugu bakikozesa okutegeeza ebikolwa eby'efujjo ebitali birung'amu ebikolebwa ku bakazi. Ekibiina ky'amawanga amagatte wansi w'omutwe Declaration on the elimination of violence against women, bannyonnyola okutyoboola kw'abakyala nga ebikolwa ebikolebwa ku bakyala nga basinziira ku kikula kyabwe olwo ne kibaviiramu obukosefu ku bwongo, ku mibiri gyabwe wamu ne ku bulamu bwabwe ng'abantu.

Okutyoboola kw'abakazi okumu kuviira ddala Ku buwangwa bw'abantu nga obuwangwa obumu butwala abasajja okuva Ku ddaala erya waggulu ku bakazi. Mu mawanga naddala ag'ebulaaya abakazi bangi battibwa baganzi baabwe n'abaaliko baganzi bwabwe naye ate amawanga gano tegavuddeeyo kulondoola bikolwa bino.