Jump to content

Onduparaka FC

Bisangiddwa ku Wikipedia

Onduparaka FC kiraabu y'omupiira mu Uganda, nga esaawa eno ezannyira mu Kibinja kya Uganda eky'okubiri.[1] Bazannyira emipiira gyabwe ku kisaawe ekiyitibwa Greenlight Stadium mu Onduparaka, ekitundu ekisinganibwa mu Arua.Erinya lya kiraabu eno litegeeza ''ekimera ky'omuweemba'' mu lulimi olulugwaara, wabula nga engombo yabwe egenda nti ''okutawaana tekukoma".[1]

Mu biseera byabakyakayiga

[kyusa | kolera mu edit source]

Onduparaka FC yatandikibwaawo munkomerero y'Ogwekumi mu 2011 nga kyakolebwa Joe Erema ne Benjamin Nyakuni, abaali baatikirwa okuva mutendekero lya Makerere University Business School. Mu kusooka kiraabu eno yali yakuyamba bayizi wau n'abantu abali mu myaka emito era kibasobozese okuzannyira mu mpaka ezibeera zitegekeddwa ku kyali. Ttiimu yali esinga kubeeramu bakyakayiga ng'era yatondebwaawo okuyamba abavubuka okubeera nga batanbulira mu makubo amalungi nga galimu empisa, nga bayita mu kwagala kw'eby'obulamu eri emizannyo egy'okuvuganya. Oluvannyuma lw'omwaka gumu nga beetabamu, ttiimu yakyusa erinya neetandika okweyita Onduparaka Football Club era nebagisumusa okuva mu kibinja kya Uganda eky'okubiri okugenda mu kibinja kya Uganda ekyababinyweera, kunkomerero ya sizoni ya 2015/2016.[1]

Sizoni ya 2015–2016

[kyusa | kolera mu edit source]

Onduparaka yawa eyaliko omutendesi wa ttiimu y'eggwanga lya South Sudan Leo Adraa nga omutendesi wabwe eyali asooka mu Kibinja kya Uganda ekyawagulu okudira Allan Kabonge, nga ono endagaano ye yali eweddeko oluvannyuma lw'okubeera nga yali abayambye okusumusibwa nebayingira ekibinja kyawagulu, wamu n'okutuuka ku fayinolo z'empaka za Uganda Cup. Oluvannyuma yafuuka eyali akulira eby'ekikugu. Mu Gwomunaana 2016, Charles Livingstone Mbabazi yaleetebwa nga omutendesi waabwe ng'amyukibwa Adraa ate Moses "Ugoboss" Oloya n'abeera omutendesi w'abakwasi ba ggoolo.[2]

Mu 2016, Onduparaka FC yakubwa mu fayinolo eya;o ey'omulundi ogwa 42 ey'empaka za Uganda Cup oluvannyuma lw'okubeera nga baali bakubiddwa Vipers SC ggoolo 3-1, nga guno gwegwaali omulundi gwabwe ogwaali gusookera ddala okwetaba mu fayinolo.[3]

2016–17 season

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu sizoni yabwe eyasooka mu 2017 mu kibinja kyawagulu, Onduparaka FC ye ttiimu yokka eyali mu liigi yababinyweera etaakubwaamu ng'eri waka.

Ebimu ku byali ebiribirirwa bya ttiimu ku mulundi gwaayo ogwaali gusookera ddala mu kibinja kyawagulu mu sizoni yabwe eyali esooka kwali kwewala kusalibwaako kuddayo wansi mu kibinja eky'okubiri. Kunkomerero ya lawuundi eyali esooka mu mipiira egyali gizannyiddwa, Onduparaka yali erinye okutuuka mu bifo ebina ebisooka. Omulundi ogwasembayo ttiimu okuwangula ekikopo ng'eva bweru wa Kampala kyaliwo mu 1999 nga kino kyakolebwa Dairy Heroes okuva e Mbale, era abawagizi baali basuubira Onduparaka okubeera nga yeeyali eddako oba ekoleyo eky'amagero, mukusumusibwa nga Leicester City FC bweyali ekikoze mu Bungereza.

Baatandika sizoni n'omupiira gwebaalemagana 0-0 ne Soana, awo oluvannyuma nebakubwa Bright Stars nga tebanaba kukola maliri neera nga 6, Ogwomwenda 2016 , wabula nga mu kaseera kano gaali na Express FC, ttiimu esinga okubeera enkadde mu liigi. Omupiira ogw'okuba gwaali wakati waabwe ne KCCA abaalina ekikopo kino, nga bano baali bawangudde emipiira gyabwe gyonna esatu egyasooka. Ondu baali beetaaba ggoolo ez'amangu okuva ew'omuzannyo omu amannyikiddwa nga Muhammad Shaban okubeera nga bakubwa ttiimu eyali kawangula ekikopo kino emirundi 11 era ne gubeera omupiira gwabwe gwebaali basoose okusuula mu sizoni eyo nga 9, Ogwomwenda, 2016ku kisaawe kya Greenlight Stadium.

Wadde nga waliwo olulumba olwali lusembayo nga lwa maanyi, abagenyi basobola kusunayo ggoolo emu yokka ekintu ekyawa Onduparaka obuwanguzi bwabwe obwaali busokera ddala mu kibinja kya Uganda ekyababinyweera. Nga 1 Ogwekumi, 2016, SC Villa, kiraabu ekyasinze okubeera ng'ewangula ebikopo ebingi mu upiira gwa Uganda, yeeyasooka okuteeba, wabula abapya mu liigi okuva mu Arua baayavula okudda nebateeba ggoolo satu nga bayita mu Caesar Okhuti, Wahab Ajuman Gadafi n'eyali akulembedde abateebi mu kibinja kya Uganda ekyababinyweera mu kaseera ako Muhammad Shaban.

Abagenyi beerwanako okuva wansi ggoolo 3–1 okutuuka wwebaafuna eyekyenkanyi nga bayita mu peneti ya Tabu Vitalis eyaliko kapiteeni wa Onduparaka, wabula nga Shaban yeeyalina akaseko akaali kasembayo weyateeba ggoolo ye eyokubiri mu mupiira guno. Omupiira guno gwali ku kisaawe kya Greenlight Stadium. Ondu yali tesobola kubeera ng'eyisibwaamu amaaso aba Jogoos. Wiiki emabegako, Ondu yali yakuba Police FC 2–1 ku kisaawe kyekimu, nga ggoolo zino zaateebebbwa Shaban ne Kabon. Enaku satu emabega Ondu nebakomekereza Villa okubeera nga yali tenakubwaamu mu sizoni, Ekibiina ekidukanya omuzannyo gw'omupiira mu Uganda kyakakasa nga omuzannyi ow'emyaka 26 Caesar Okhuti bweyali asobola okuzannyira bano abaali bava mu Bukiika ddyo bwa Bugwanjuba, nga bali baali mu kifo kya kitaano ku kimeesa; Yali ku banja kya myezi mukaaga okuva mu KCCA okuviira ddala mu masekati gwo Gwomwenda. Nga 10 Ogwekumineebiri, mu 2016, Ondu yakuba Sadolin FC 1–0 ku kisaawe ky'e Bugembe, era nebalinya okutuuka mu kifo eky'okusatu nga sizoni yakatuuka mu masekayti, nga ggoolo eno yali eva ku mukusimula kisobyo ekya Gaddafi.

Omuteebi wa Ondu eyali akulembedde Muhammad Shaban nga baali bamukazaako erya [I]jagason yalondebwa FUFA nga omusambi eyali asinze okugasa ttiimu ye mu mwaka, nga mukaseera kekamu eyali ggoolo kkipa wa Mamelodi Sundowns Denis Onyango yali akoze bulungi era n'awangula ekirabo ky'omuzannyi eyali asinze ku semazinga wa Afrika, nga kino kyamuweebwa ekibiina ekidukanya omupiira mu Afrika ekimannyikiddwa nga CAF, ng'ate ggoolo Farouk Miya gyeyateeba Comoros neetwala Uganda mu mpaka z'okulukalo lwa Afrika.

Mu 2017, abasatu bano baagenda e Gabon mu mpaka za AFCON ekikopo ekyetabibwaamu amwanga ga Afrika; Onyango only played in the two narrow 0–1 defeats to Ghana and Egypt. Shaban came on as a substitute in both games while Miya was substituted but scored Uganda's only goal in the third game; Uganda drew 1–1 with Mali in the third group game to register at least a point after a 39-year absence from the continental showpiece. Also on Onduparaka's squad is KCCA loanee Caesar Okhuti who is no stranger to being a hot newcomer especially after he took the nation by storm with another Arua club called Ediofe Hills FC in 2007 and was called up to the national team.

Abazannyi abalala ku ttiimu ya Onduparaka eya 2017 kuliko: Richard Anyama (omukwasi wa ggoolo eyali mu Saints FC), Nisar Kasim (omukwasi wa ggoolo omulala), Alex Gasper Adriko (aka The Rock), Norman Saddam, Rashid Toha, Gibson Adinho, Akram Kakembo, Ivan Mbowa, Ibrahim Faizul (aka Anini), Sabir Simba, Dickens Okwir, Mohammad Rashid, Ajobe Toto, Denis Andama, Rashid Agau, Living Kabon, Wahab Ajuman Gaddafi Gadinho ne Fahd Muhammad Toko. [4]

Nga 17 Ogwokubiri mu 2017, Azam TV yalaga omupiira butereevu okuva mu kisaawe kya Greenlight e Onduparaka omulundi ogwaali gusookera ddala. Kabon Living era amannyikiddwa nga Messi, eyali ayambadde omujoozi namba 13, ye yateeba ggoolo yokka mu mupiira guno bweyali ayambibwaako Shaban mu ddakiika ya 88 eyamuteerawo omupiira n’awa Ondu obuwanguzi ku Kirinya Jinja SS. Kabon yagyako esaati, n’akuba sama mu kujaguza ggoolo n’afuna kaadi eya kyenvu olw’okwolesa empisa embi kyokka ggoolo ye n’eyamba Ondu okubuuka ku kimeeza okudda mu kifo eky’okusatu okulinaana SC Villa ne KCCA.

Baasula obubonero bwe baakubwa KCCA mu ngeri eswaza ku bugenyi (7-0 mu kisaawe kya Phillip Omondi e Lugogo - Nga kuno kwekwaali okukubwa ggoolo enyingi okukyasinze okubeera okunene mu liigi ya Uganda, nga Caesar Okhuti, KCCA gwe yawola mu Ondu yasubwa omupiira guno, ne SC Villa yabakuba ggoolo 4-1 ku kisaawe kya Masaka Recreation Ground. Wabula nga baasobola okudda kuntandikwa y'olunaku mu kyamukaaga nga 1 Ogwokuna 2017 n'akakisa k'okulinya mu ky'okuna n’obuwanguzi bwe yawangudde mu kisaawe ky'e Kakindu e Jinja oluvannyuma lwa Vipers SC okubeera nga yali yakubiddwa dda ttiimu y'e Jinja ey’enjawulo, Gaddafi yateeba emu kuzaali zigenda okuvuganya ku ggoolo ya sizoni nga bazannya Jinja Municipal Council eyataasa amaliri ga ggoolo 1-1. Nga 5 Ogwokuna mu 2017, ggoolo ya Muhammad Shaban mu kitundu ekisooka yali emala okukuba Lweza eyali esigaza abazannyi mwenda webaali ku kisaawe kya Greenlight, era bano nebakomekereza eky'okubeera nga baali bamazze emipiira esatu egy’omuddiring’anwa nga tebawangula. Mu mupiira gwabwe ogw’omukwano ogw’ensi yonna gwebasooka okuzannya mu sizoni eyo, Onduparaka yakuba Gor Mahia ggoolo 2-0 mu kisaawe kya Mandela National Stadium Nambole nga 4 Ogwokubiri mu 2017.

Kizza Besigye, eyali yakamala emirundi enna ng'akwata kyakubiri mu kulonda kwa Pulezidenti wa Uganda, yalaba omupiira guno ng’ayambadde omujoozi ogwa kiragala n’awa Onduparaka FC obukadde bwa sillingi za Uganda 2. Olwo nga 21 Ogwokubiri mu 2017, Onduparaka ng’eyambadde omujoozi omweeru, yonna yava ggoolo wansi n’ekuba Mbarara FC n’agenda mu Uganda Cup mu luzannya lwa ttiimu 16. Airtel - FUFA MVP Shaban yasubwa peneti kyokka Okhuti n’ateeba ggoolo y'obuwanguzi nga bawangula ggoolo 2-1 mu kisaawe e Kakyeka e Mbarara. Nga 26 Ogwokusatu mu 2017, ggoolo okuva ewa Okhuti nate ne Rashid Agau eyali akomawo zaayamba Ondu okuwandulamu ttiimu ya Big League eyitibwa Water FC n’eyitamu okugenda ku luzannya lwa ‘quarter’ fayinolo.

Nga 9 Ogwokuna 2017, Sadolin Paints FC yawandula Onduparaka mu mpaka za Uganda Cup ng'egikubye ggoolo 2-1 e Jinja. Wadde kyali kityo, ekisaawe kya Onduparaka ekya Greenlight Stadium kyalondeddwa okutegeka fayinolo ya Uganda Cup ey’omulundi ogwa 43, nga KCCA ekuba Paidha Black Angels ggoolo 2-0 mu Gwomukaaga 2017. Mu mupiira gwa gw'ekibinja kya Uganda ekyababinyweera oluvannyuma lw’ennaku 12, Painters yava e Onduparaka n’akabonero oluvannyuma lw’amaliri ga 0-0. Okusinziira ku mutendesi Livingstone Mbabazi, ttiimu ye yeeyasinge okukola emikisa mu liigi mu sizoni ya 2017. Yagatako nti "abazannyi bbe baali tebatya ttiimu nnene" kubanga bakimanyi nti nabo banene wadde ng'okuva wansi ggoolo 2-1 ezaabakubwa Soana, nga Shaban eyagibwa ku katebe n'ayingira eyateeba ggoolo emu nga 29 Ogwokuna mu 2017.

Ondu y’emu ku ttiimu ebbiri zokka mu AUPL ezaali tezinakubwa waka nga bagenda mu mupiira gwa wiiki 27 gwebaalina okuzannya Express FC nga 5 Ogwokutaano mu 2017. Livingstone yali wakusubwa Living Kabon eyali ayimiriziddwa olw’okuweza kaadi ezakyenvu satu ne Akram Kakembo eyalina ensonga za famire. Ate Sabir Simba yali asuuka okuva mu bulwadde bw'omusujja gw'ensiri obwali bumuluma. Omupiira gwa Livingstone ogwasooka ng’omutendesi wa Onduparaka gwali Wankulukuku ng'era gugweera mu maliri ga ggoolo 1-1.

Omupiira ogw’okudingana nagwo gwalinga ogwali gw'olekera mu kubo ly'erimu nga Express ekulembedde ng’eyita mu Didier Jean mu kitundu ky’esaawa ekyali kisooka oluvannyuma lw’omumyuuka wa kapiteeni Rashid Toha eyali omuzibizi omuwanvu gwebaali baakazaako erya Per Mertesacker okuseereera, Express n’ekozesa akakisa ako neefuna ggoolo. Ondu yali yeetaaga nnyo ggoolo ey’ekyenkanyi oluvannyuma lw’emikisa gyayo gyonna gyeyali eyonoonye; Muhammad Shaban yakuba ku bikondo n’asubwa emikisa emirala.Omupiira guno gwagibwaako akawuuwo mu budde bw'omusana kyokka n’empewo yali tesobola kulemesa mipiira gyali gikubibwa mu banga. Olwo ng’ekitundu ekisooka kinaatera okuggwa, Wabula ng'ekitundu ekisooka tekinakomekerezebwa,kapiteeni wa Express n'akola ekisobyo ku Dickens Okwir muntabwe.

Toha yayimirira n'ateeba ggoolo ey’ekyenkanyi mu ddakiika ya 41 ne yeenunula oluvannyuma lw’okusindika omukwasi wa ggoolo mu kifo ekikyamu. Mu kitundu eky'okubiri, Omutendesi Livingstone yali tateredde ku mabali gw'ekisaawe n’asaba abazibizi bbe obutaddamu kuteebwa ggoolo ndala. Rashid Agau yacamula abawagizi bwe yayitibwa okuva ku katebe okubuguma ng’agenda okudda mu bigere bya Caesar Okhuti, eyali omusambi wa ttiimu eno eyali asinga Obukulu. Fahd Toko mu kiseera ekyo yeeyadda mu bigere bya Okwir ng’ebula eddakiika ezitakka wansi wa 20 okuva ku mupiira omujjuvu.

Shaban yazannye okufirawo wabula nga terwali lunaku lwe kubeera muzannyi w'anjawulo weyayonoona emikisa egyali gisobola okubatuusa kubuwanguzi mudakiika ezibeera zongeddwaamu. Eddakiika nnya zezayongerwaamu era ng’omupiira gwali gulabika ng’ogwolekedde okuddamu okufanagana nga bwegwali mu luzannya olusooka, Rashid Toha y’ateeba ggoolo ey’obuwanguzi mu ddakiika ey’okusatu mu zaali zongeddwaamu n’aletera abawagizi abaali ku kisaawe okutandika okujaguza mungeri eyali eraga essanyu eriritiridde.Okujaguza gyekweyongera mu maaso, Agau eyayingizibwa mu kisaawe nga Caesar Okhuti agiddwaayo, naye yagibwaayo nebaleeta Caesar Olega, olwafuuka nga ba Caesar abafaanaganya amannya basala layini mu kusooka n'oluvannyuma lw’okufuna obuwanguzi. Waayita obutikiti butono, edenge evva nnyuma nerikomotebwa.

Omutendesi Leo Adraa yategeeza nti Ondu yalina obudde obumala okwetegeka obutafanako Kiraabu esinga Obukadde mu mupiira gwa Uganda eyakubwa Lweza ggoolo nnya mu mupiira gwabwe ogwasembayo. Omuyimbi okuva mu Kampala Kalifah Aganaga eyabadde ekivvulu mu Arua wiikendi eyo, yaliwo ng’ayambadde omujoozi gwa Onduparaka ogwa kiragala. Omuyimbi okuva mu Arua era afulumya ennyimba King Weedah naye yaliwo ku mupiira guno. Obuwanguzi buno bwasitula kiraabu eno eyakazibwaako erya Caterpillars okuva mu kifo ekyo 6 okudda mu kyo 5 okuva ku ttiimu e 16, nga bali waggulu wa Express eyasigala ku bubonero 40 ng’ebula emipiira esatu sizoni okuggwa.

Nga bali mabega wa Vipers eyali mu kifo ekyo 3 ng'era ebasinga obubonero buna, Caterpillars yali yeetaaga obuwanguzi okukendeeza ku kibangiriz kino okutuuka ku kabonero kamu. Eky'embi, baakubwa ggoolo 4-1 mu kisaawe kya St. Mary's Kitende e Kajjansi, nga 9 Ogwokutaano 2017. Omupiira gwagobererwa na butabanguko. Ku lunaku lwerumu KCCA yatikkirwa okubeera nga beba Nnantameggwa omwaka ogw'okubiri ogw’omuddiringanwa. Mu Mupiira Ogwali Gusembyeyo nga bali Waka mu Sizoni Eyo, Muhammad Shaban yateeba mu ddakiika eya 16, wabula Saints FC neefuna ey’ekyenkanyi ng’ekitundu ekisooka kinaatera okuggwaako.

Oludda lw’amagye lwali lwetaaga akabonero kamu kokka, nga kwali kukola maliri okubeera nga tebakyasobola kusalibwaako kuddayo mu kibinja kyawansi nga bwekibeera bwekiti ebeera erureseemu Lweza ne ttiimu ya Poliisi; JMC Hippos yali yasaliddwaako dda okuddayo wansi. Caesar Okuti yadda mu kifo kya Dickens Okwir mu kitundu eky'okubiri ate oluvannyuma Denis Andama eyali yakasibwaako erya Koko Makosa n'ayingira mu kya Gasper. Eyali Omukwasi wa ggoolo ya Saints, Alex Mugabi yeekoona ku muti gwa ggoolo ng’agezaako okugyamu omupiira ogwali gumukubiddwa nga gugenda mu katiimba ng'era yali yeetaaga obujjanjabi mu bunambiro; yagibwa ku kisaawe n'asikizibwa Harrison Sempajji eyataasa emipiira egiwerako nga giva kungeri Onduparaka gyeyali ebalumbamu.

Mohammad Rashid yagibwa ku kisaawe nebaletamu Rashid Agau, omwagalwa w’abawagizi ba Ondu era nga wayise eddakiika ntono, Kabon Living yakolebwaako ekisobyo muntabwe. Kapiteeni Rashid Toha yeesowolayo n'ateeba peneti eyo. Ng'obudde obusambibwaamu bunatera okugwaayo, Richard Anyama eyali mu ggoolo ya Ondu ng'ono yali yaleetebwa okuva mu Saints mu mwezi Ogwoluberyebery, ng'ali wamu ne Ivan Mbowa yateebwa ggoolo ey'okubiri eyali ey’ekyenkanyi okuva mu kusimula ekisobyo. Kyali kirabika ng’abagenyi abaali bawonye nga tebakyali mu bulabe bwakusalibwaako, wabula oluvannyuma lw’eddakiika ennya ezaali z'ongeddwaamu nga ziweddeyo, Kabon era eyali amanyiddwa nga Messi yateeba era n'azaayo Saints mu kiinja kyawansi. Bannamagye baategeka emundu zaabwe ng'esonga evva kukubeera ng'abawagizi abaali bazze ne ttiimu wamu n'abakungu baayo okulaga obutali bumativu ng'era banyiivu eri ba ddiifiri n'abawuubi b'ebiwero.

Oluvannyuma lw’akavuyo okukakana oluvannyuma lw’eddakiika, omupiira gwaddamu okutuuka mu ddakiika ey’e 100 era Ondu n’ekuuma Likodi yaayo ey’Obutakubwa ku butaka mu sizoni yaayo eyasooka eyasooka mu kibinja ky'okutinko. Ttiimu eyali yasembayo okubakubira mu kisaawe kyabwe ekiyitibwa Greenlight Stadium yali eyitibwa Nebbi Central emyaka esatu emabega. Mu mupiira ogwali gusembayo mu sizoni eyo mu kisaawe ky’e Kakindu e Jinja, Dickens Okwir yateebera Ondu eyabakulembeza omupiira mu ddakiika ya 28, wabula ng'ate BUL FC yalina ggoolo gyeyali eteebye wabula n'egaanibwa mu bwangu ddala oluvannyuma. Wabula oluvannyuma lw’okunyigirizibwa, bannyinimu baafuna ggoolo ey’ekyenkanyi mu ddakiika ya 57. Mu mupiira ogwali gusembayo mu sizoni eyo,ogwalimu ne Ibrahim Faizul okuweebwa kaadi emyuufu, gwagweera mu maliri ga 1-1.

Onduparaka yakomekkerezza sizoni yaayo eya Azam Uganda Premier League eyali esoose nga bali mu kifo kyakutaano n'obubonero 45. Wadde nga baali balina enjawulo ya ggoolo embi, Ondu yasobola okuwangula emipiira 11, neekola amaliri 12 n’okukubwa emipiira 7 mu mipiira 30. Mu bikujuko bya Uganda Premier League ebyali eby'okugabirako awaadi ez'enjawulo nga 27 Ogwomusanvu 2017, Muhammad Shaban y'omu kubatekebwa ku ttiimu y’omwaka eya Azam UPL. Mu sizoni eyo, buli muzannyi eyali ku lukalala yafuna ssente za Uganda 250,000 nga kino kyakolebwa aba Betway. Mungeri y’emu abawagizi ba Ondu baalondebwa ng’Abawagizi Abaasinga nga kino kyakolebwa mu bikujuko ebyali mu Kampala ku Imperial Royale.

Sizoni ya 2017–18

[kyusa | kolera mu edit source]

Shaban ne Rashid Toha baafuna obuvugirizi okugenda okugezesebwa mu ggwanga ly'e South Afrika kyokka ne bakomawo mu Gwomusanvu wakati mu 2017. Mu biseera bya sizoni nga bazannya emipiira egy'omukwano nga balina abasambi abapya, Onduparaka yawangula 1-0 mu mupiira gwabwe ogw’omukwano ogwasooka nga tebanakuba Nyowa Young Elephants ggoolo 4-1 ne ggoolo za Caesar Okhuti, Dickens Okwi n’omuzannyi omupya Karim Ndugwa eyateeba ggoolo ebbiri. Oluvannyuma baagenda e Masindi nebalemagana 1–1, nga Ndugwa era y'ateebye nga kwekwali n'okugenda e Hoima. Mu nkuba eyatonnya ku lunaku lwa Eid Adha nga 1 Ogwomwenda 2017), Ondu yakuba JKS ggoolo 3-0 nga zateebwa Agau, Gadinho ne Shaban eyali akomawo okuva mu buvune. Nga wayise ennaku ssatu, Betway yalangirira enteekateeka y’okuvugirira Onduparaka n'obukadde bwa ssente za Uganda 600 mu by’entambula n’eby'embeera z’abazannyi.[5] nga 7 Ogwomwenda, baali bakuzannya Jinja Kirinya SS mu mupiira ogw’omukwano.

Sizoni ya UPL eya 2018 yatandika nga 12 Ogwomwenda mu 2017, nga Ondu yagwa maliri ga 0-0 ne Proline FC mu kisaawe kya Greenlight wadde ng'omupiira gwali gwongeddwaamu eddakiika 6 mu kitundu eky'okubiri. Nga wayise ennaku nnya oluvannyuma wadde nga waliwo okusaba okuva ewa Shaban eyeegatta ku KCCA, namukadde Caesar Okhuti yateeba ggoolo bbiri ku bugenyi gyebaali ewa Maroons e Luzira n’awa Ondu obuwanguzi bwayo obwalu busoose mu sizoni eyo. Nga 19 Ogwomwenda mu 2017, KCCA yakuba Ondu ggoolo 4-1. Nga 27 Ogwomwenda mu 2017, Ondu yakuba Police FC ggoolo 1-0 mu Arua. Nga 14 Ogwekumi mu 2017 mu Arua, Ondu yakuba Soana FC ggoolo 2-0 nga ggoolo eyasooka yateebwa mu bwangu ddala Kapiteeni Rashid Toha mu eddakiika eyali esooka n’omuzannyi eyali azannya omupiira gwe ogwali gusooka nga Viane Sekajugo nga yali agiddwa mu Jinja Municipal Council, nga ggoolo yagikuba mu ddakiika ey’omwenda.

Ondu yasindiikiriza okuweza obubonero 10 nga beenkana nkana n’abaali bakulembedde ekimeeza wabula nga bali mu kifo kya 3, ate Soana n’esigala mu ky'okubiri ng'ova wansi nga balina obubonero buna. Kampuni y'amasimu eya, MTN Uganda yali erangiridde ddiiri y'obuvugirizi obw'omwaka ogumu nga baali bakutekamu Obukadde bwa ssente za Uganda 390 mu kiraabu ya Onduparaka FC. Mu lukung’aana lwa bannamawulire olwali ku Desert Breeze Hotel mu Arua, Val Oketcho, eyali akulira w’Eby'empuliziganya mu kampuni ya MTN Uganda yakwaasa Omuyima wa Ondu Ow'ekitiibwa Bernard Atiku ng'ono yeeyali omubaka w'Essaza lya Ayivu mu Paalamenti, era nga ye Ssentebe w’Olukiiko lw’Ettaka mu kiseera kino mu Kibuga kya Arua ceeke eyali eraga ssente zino [6]. Nga 21 Ogwokumi mu 2017, Ondu yakuba Express FC ggoolo 2-1 ku kisaawe ky'e Wankulukuku n'erinya kuntiko y'ekimeeza kya liigi okutuusa kulunaku olwaddako Olwokusatu Kirinya Jinjja SS bweyeeteeba mu mupiira ogwaali ku kisaawe ky'e Namboole nekitwaala Police FC ku kimeeza wagulung'ekibawula y'enjawulo ya ggoolo.

Ggoolo ya Alfred Leku mu ddakiika ya 46 ne namukadde Caesar Okhuti okukuba omupiira mungeri ey'akakodyo mu ddakiika ya 92 ng'ono yazannye ttiimu zombi yawa abagenyi obubonero busatu. Serunkuma yafuna ggoolo ya Express oluvannyuma lw’ekitundu ekisooka nga mu mipiira guno ggoolo. Nga 28 Ogwekumi 2017, Ondu ne Vipers baazannya omupiira ogwagweera mu maliri nga tewali ateebye mune mu Arua. Leku teyasobla kuzannya kubanga yali ku bbanja okuva mu Vipers, Toha yalina obuvune mu kisambi bweyali yafuna okuva mu mupiira gwe baanzaya ne Express ate Agau yali afunye obuvune ku kagere kyokka nga Gasper yali akomawo. Amaliri gano agataalimu ggoolo wadde gaaliwo, gazaayo Ondu ku ntikko y'ekimeeza n’enjawulo ya kabonero kamu okutuusa nga 31 Ogwekumi ttiimu ya Poliisi bwe yakuba UPDF ggoolo 1-0 eyali ebakyazizza e Bombo. Nga 3 Ogwekuminoogumu, Ondu yakola amaliri ne BUL FC e Jinja agaali aga 0-0.

Nga 7 Ogwekuminoogumu mu 2017, Mbarara eyali ejaganya yakwata Ondu amaliri ga 0-0 mu Arua, nga gano gaali maliri agataliimu ggoolo ag'omulundi ogwokubiri mu wiiki emu. Nga 18 Ogwekuminoogumu mu 2017, Ondu yakuba Kirinya Jinja SS ggoolo 1-0 mu Arua eyava mu peneti eyakubwa ggoolo kkipa Sebwato ne kibateeka akabonero kamu emabega wa Police FC eyali ekulembedde ekimeeza kya liigi naye nga bali mu kifo kyakuna nga basibaganye ne KCCA ne Villa ku bubonero 19. Muntandikwa y'olunaku baali mu kifo kya 5, omupiira Karim Bida yateeba ggoolo bbiri ezaawa Ondu obuwanguzi obwa 2-1 ku UPDF mu Arua nga 28 Ogwekuminoogumu mu 2017 mu kiseera ggoolo kkipa wa Caterpillar Nicholas Sebwato eyali yakazibwaako erya Mr. Safe Hands bweyali ayitiddwa ku okugenda ku ttiimu y’eggwanga nga beetegekera ekikopo kya CECAFA Challenge Cup. Omupiira guno gwali wakati wa sizoni.

Ekitundu kya Ondu eky'okubiri ekya sizoni eyo kyatandika nga 19 Ogwekumineebiri 2017 nga bakubwa ggoolo 2-1 kiraabu eyali emannyikiddwa nga Masavu FC. Okhuti yeeyateeba ggoolo emu gyebafuna oluvannyuma lw'okukuba peneti mu ddakiika eye 90. Nga 22 Ogwekumineebiri mu 2017, baakuba URA ggoolo 1-0 ng'eno yateebwa Viane mu kisaawe kya Mandela National Stadium.

Nga 27 Ogwoluberyeberye mu 2018, FUFA yawa Onduparaka obubonero nga tebazannya mupiira gwa eya ttiimu 32 mu mpaka za Uganda Cup eza 2018 oluvannyuma lwa ttiimu gyebali balina okuzannya eya Light SS obutalabikako.[7]

Onduparaka yagwa amaliri ga 0-0 ne Express mu mupiira ogwali omuwuubi w'ekitambaala omukazi nga 10 Ogwokubiri mu 2018. Enkeera ku Lwokubiri, baakubwa Vipers ggoolo 2-0 e Kajjansi, ng'eno Sebwato yafunirayo kaadi eya kyenvu mu ddakiika eya 45 nga tebannakubwa Soana eyalina abasambi 10 ggoolo 3-2 mu mpaka za Stanbic Uganda Cup.

Nga 20 Ogwokubiri mu 2018, Ondu yakuba BUL FC ggoolo 1-0 mu Arua ng’eno yateebwa eyali omuzannyi wa Express Yafesi Mubiru nga yeeyali ggoolo ye eyali esooka ng'ali nebano ba Caterpillars. Ondu yakyalira e kisaawe kya Kyabazinga nga 3 Ogwokusatu mu 2018, wabula nga baali bakulembeddwa Jinja Kirinya SS mu kitundu ekisooka. Ggoolo eyali eteebeddwa eyali omuzannyi wa Caterpillar Fred Adaku. Nga 10 Ogwokusatu mu 2018,Onduparaka yakubwa omupiira ogwaali gusookera ddala nga bali waka mu liigi ya Uganda Premier, nga bano baakubwa ggoolo 1-0 SC Villa eyakasinga okuwangula ekikopo kya liigi emirundi emingi. Ondu yasigala n’obubonero 29 oluvannyuma lw’okuzannya emipiira 20 ng’era baasigala mu kifo kya 6.

Wiiki eyaddako oluvannyuma lw’abawagizi okumulumiriza wamu n’abamu ku bazannyi nti tebaawaayo kimala eri ttiimu yabwe, omutendesi omukulu Livingstone Mbabazi yayawukana ne Onduparaka FC. Mu kiwandiiko kye baafulumya mu lujjudde, Abaali Baddukanya Onduparaka FC baategeezezza nti baali basabye Livingstone "okuddako ebbali okutandika amangu ddala okuva ku (ku) UPL Matchday 21 Clash ne UPDF (14 March 2018) okutuusa nga waliwo okutegeezebwa okulala."

Mu butabeerawo bwe, akatebe k’ebyekikugu akalimu Leo Adraa, Simeon Masaba, Moses Oloya, Morris Adiga ne Ramathan Musema be baalabirira ttiimu. Ondu yakola amaliri ga 0-0 e Bombo oluvannyuma lwa ggoolo okusazibwaamu, peneti neegaanibwa n’okukuba ku kikonde mu ddakiika ezisembayo. Ku Lwokutaano olutukuvu nga 30 Ogwokusatu mu 2018, ggoolo bbiri ezaateebeddwa Viane mu kitundu ekisooka ne ggoolo ya Okhuti mu kitundu eky'okubiri, zaawa Onduparaka obuwanguzi ku Masavu FC gyebaakuba ggoolo 3-0.

Gwali mupiira gwa Caterpillars ogwali gusookera ddala okuwangulira ewaka nga bakubye ggoolo ssatu mu liigi ya Uganda Premier. Ggoolo ya Viane Sekajugo mu ddakiika ya 40 nga 4 Ogwokuna mu 2018 yawa Ondu ggoolo 1-0 mu kisaawe kya Proline FC ekya Startimes Stadium Lugogo, e Kampala. OFC yakyaza Maroons nga 9 Ogwokuna mu 2018 mu Arua, kyokka omupiira gwasigala ku 0-0. Nga 17 Ogwokuna mu 2018, Ondu yakyaza bannantameggwa aba KCCA FC abaali baatwala Muhammad Shaban eyali emunyeeye yabwe. Bwe yateeba mu kitundu ekisooka, omutendesi wa KCCA, Mike Mutebi yalabika ng'eyali amatidde nnyo, wabula Viane n’afunira bannanyimu ggoolo ey’ekyenkanyi oluvannyuma lw’omupiira okuddamu era nga guno gwagweera ku ggoolo 1-1.

E Nambole nga 27 Ogwokuna, OFC yakuba Abakuumi B'eddembe ggoolo 5-0 nga ggoolo bbiri zaava wa Viane mu kitundu ekisooka mu ddakiika eye 30’ ne 40’, Moses Ndawula mu ddakiika ey'e 62’, Hassan Muhammod - Mudu mu ddakiika 64’ ne Ezra Bida mu ddakiika ey'e 83’. Buno bwebwali obuwanguzi bwa Ondu obwali businga okubeera obunene ng'eri ku bugenyi mu myaka ebiri mu UPL. Ondu yakomekkerezza olunaku ng'eri mu kifo kya 4, wabula nga bazannye omupiira gumu okusinga abalala n’obubonero 41, nga SC Villa eyali ekulembedde ekimeeza ng'ebasinga obubonero 11, KCCA ng'ebasinga obubonero mwenda ate Vipers ng'ebasinga musanvu ng’ebula emipiira ena. Ondu yattunka ne URA FC nga 2 Ogwokutaano mu 2018 wabula nga baalemagana 0-0.

Nga wayise ennaku bbiri, ggoolo emu eyateebwa Jamal Malish mu ddakiika ya 94, yawa Caterpillars ekirabo ky’obuwanguzi ku bannyinimu aba Soana. Nga 9 Ogwokutaano, baakyalira Mbarara FC emanyiddwa ennyo olw’okufuna peneti. Omupiira guno gwabakubibwa olw'okubeera ng'eyali abakyazizza yafuna peneti. Mu mupiira ogwaali gusembayo mu sizoni eyo nga 25Ogwokutaano mu 2018, Ondu yakuba abagenyi abaali babakyalidde aba Bright Stars ggoolo 2-0 nga ggoolo ya Caesar Okhuti yagya mu kitundu ekisooka ate Ezra Bilda n’ateeba mu kitundu ekyokubiri. Okhuti yagobwa ku kisaawe mu mupiira guno kyokka OFC n’esigala mu kyakuna, ekifo kimu okusinga ekya sizoni yaayo eyali esooka mu mu kibinja ky'okuntikko.

Sizoni ya 2018–19

[kyusa | kolera mu edit source]

Okutandika sizoni etali ya mupiira gwa kuvuganya, Onduparaka FC ne KCCA FC baazannye omupiira gw’omukwano ogw’alimu n'okudingana ogw’ali ogw'okudukirira abantu abaalina enddwadde ez'enjawulo mu Arua, Onduparaka yawangula oluzannya olwasooka ku ggoolo 3-1 e Lugogo nga 30 Ogwomukaaga mu 2018. [8] Ebikujuko ebyayitibwa The Charity Walk to Greenlight for Hospice Arua byaliwo nga 14 Ogwomusanvu mu 2018. Omwezi gwe gumu, Kapiteeni wa KCCA eyawangula ebikopo eby'emirundi ebiri, Denis Okot Oola yeegata ku Onduparaka ku ndagaano ya myaka ebiri nga yali omu ku bazannyi abapya abaali bawera omukaaga okwaali Abel Eturude okuva mu SC Villa kw’ogatta n’omuwuwuttanyi Nicholas Kagaba okuva mu URA FC. Omutendesi wa Onduparaka omuggya Asaph Mwebaze yakulembera ttiimu ye okutuuka ku fayinolo ya FUFA Super 8 eyali esoose ng'evugirirwa Pilsner ng'erimu Ttiimu 8 ezisinga okuva mu liigi ya Uganda Premier. Onduparaka yagwa amaliri ga 1-1 ku luzannya oludirirwa olw'akamalirizo ne SC Villa kyokka n’ekubwa Jogoos 5-4 ku peneti.

Wadde baakubibwa KCCA ggoolo 2-0 ku fayinolo nga 25 Ogwomunaana mu 2018, Ondu yavaayo n’ekirabo kya ssente obukadde 5 mu za Uganda, ekitundu ku ezo omuwanguzi zeyafuna.[9] Ondu yakubwa 1-0 ewa Soana mu mupiira gw'omukwano nga 5 Ogwomwenda mu 2018. Nga 22 Ogwomwenda mu 2018, Ondu yakyaza Wakiso Giants mu mupiira ogwali ogw'omukwano ng'ebula ennaku mukaaga sizoni ya UPL etandike. Kaweefube w’okusonda ssente yatandikibwaawo abawagizi okuyamba ttiimu eno okugula bbaasi.

Ku Lunaku Olwaggulawo sizoni ya UPL eya 2019, Viane Sekajugo eyateeba omutwe mu ddakiika ya 28 nga kwogasse ne peneti ya Sebwato mu ddakiika ey’e 78, byawa Onduparaka obubonero busatu mu Arua ng’ettunka ne Nyamityobora FC eyali esibuka e Mbarara, era nga gwe mulundi gwayo ogwali gusoose okwetaba mu liigi. Ggoolo eyateeba Rashid Toha yawa Ondu obuwanguzi bwa 1-0 ku bugenyi e Nambole nga bakuba SC Villa nga 3 Ogwekumi mu 2018. Ggoolo z’olunaku olw’okusatu ng'emipiira gino gizannyibwa zateebwa Allan Okello mu ddakiika ey’omunaana ne Timothy Awany mu ddakiika ey'e 64 zaavirako KCCA FC okukuba bannyinimu abaali babakyazizza aba Onduparaka ggoolo 2-0 nga 19 Ogwekumi 2018. Ku kisaawe kya Mighty Arena e Jinja nga 23 Ogwekumi mu 2018, Caesar Okhuti ye yateeba ggoolo esooka mu ddakiika ey'e 25, Onduparaka bweyali ewangula Kirinya Jinja SS ggoolo 3-0.

Wadde nga yali afunye kaadi eya kyenvu, Omuzannyi eyali asinga omuwendo mu mpaka za 2018 FUFA Drum eyateeba ggoolo ey’ekyenkanyi mu mpaka eyawanguza Buganda ku West Nile ku kisaawe kya Greenlight nemu Pilsner Super 8 - Viane Sekajugo yateeba ggoolo satu nga webwatukira mu ddakiika ey'e 75, wabula ggoolo ya Ondu ey’okuna yagaanibwa ddiifiri wadde nga omuwuubi w'ekitambaala yali agikiriza. Ggoolo za Viane ebbiri ezaali entuufu, zayambibwaako Okwalinga mu ddakiika eya 34 ne Okhuti mu ddakiika ey'e 65. Oluvannyuma lw'omupiira, Omutendesi Asaph yategeezezza nti, "Twandibadde tusobola n'okuteeba etaano." Nga 3 Ogwekuminoogumu, Ondu yagwa amaliri ga 0-0 ne Tooro United eyali eyitibwa Soana FC okuva mu 2015 okutuuka mu 2018 mu maka gaabwe amapya aga Buhinga Playground e Fort Portal mu Disitulikiti y’e Kabarole.

Nga 7 Ogwekuminoogumu, Ondu yakubwa ggoolo 2-1 ng'ekyadde ewa Maroons nga ggoolo emu gyebafuna yateebwa Toha. Wadde nga kyali bwekityo, wiiki eyo yennyini, Asaph Mwebaze yawangula engule y’omutendesi w’omwezi mu mpaka za Real Stars Sports Monthly Awards. Nga 20 Ogwekuminoogumu mu 2018, Ondu yakuba Ndejje University ggoolo 3-0 nga ggoolo zateebwa Denis Okot mu ddakiika eye 19, Gadafi Gadinho mu ddakiika y'e 67 ne Abel Eturude mu ddakiika eye 76. Tewali muntu yenna yafunye kaadi mu mupiira guno. Ng’ebula essaawa ntono omupiira gwa Ndejje gutandike, Asaph Mwebaze nga tanaweza myezi ena ku mulimu gwe gyokka – yalekulidde obutendesi bwa Onduparaka ng’awa ensonga z'enzirukanya y’emirimu embi nadala mu baali badukanya kiraabu eno, ensengeka ya kiraabu embi, obutaba na bitabo bikumibwaamu likodi, obutakola bulungi kwossa n’enkwe.

Yalangiridde okugenda kwe ku pulogulaamu ya NTV eyali eyitibwa Monday Night Pressbox nga 19 Ogwekuminoogumu mu 2018, era ne yeegatta ku Nyamityobora FC. Eyali omumyuuka wa Mwebaze Simeon Masaba eyaweebwa omulimu mu Gwoluberyeberye gwa 2018 ye yakwata obuvunaanyizibwa. Nga 1 Ogwekumineebiri, ggoolo za Ezra Bida mu ddakiika eya 50' ne n'eyawangula ekirabo ky'omuzannyi w'olunaku ekya Pilsner Man of the Match Gadafi Gadinho mu ddakiika eya 56' zaalaba Ondu n'eddamu okukuba Express FC e Wankulukuku. Mu mupiira gwaabwe ogw'embiranye ogw'omubitundu bw'omu West Nile Derby ogwaali gusooka nga 8 Ogwekumineebiri, Ondu yava mu ddakiika ey’omwenda ne ggoolo eyali etebeddwa Andrew Kidega n’efuna obubonero bwonna.

Ggoolo ey’ekyenkanyi okuva ewa Gadafi Gadinho mu ddakiika eya 56’ n’ey'obuwanguzi okuva ew'omuteebi omukadde Caser Okhuti ng’ebula eddakiika musanvu yakakasa obuwanguzi eri Caterpillars abaali bakozesa ekisaawe kyekimu ne Paidha Black Angels abaali abapya mu Liigi ya Uganda. Nga 11 Ogwekumineebiri, Ondu yakubwa BUL FC ggoolo 1-0 e Jinja. Ggoolo okuva ewa Per Mertesacker ne Okhuti zaawa Ondu obuwanguzi bwa ggoolo 2-1 ku ttiimu ya Poliisi eyali ebakyalidde nga 16 Ogwekumineebiri. Nga 28 Ogwekumineebiri, ggoolo ya Viane gyeyateeba ng'ekitundu ekisooka tekinagwa, yaddirirwa eya URA FC ey’okusatu nga wayise eddakiika nga ssatu oluvannyuma lw'omupiira okuddamu n’ekwasa Ondu okukubwa kwabwe okw'omulundi ogw’okuna mu sizoni eyo.

Wadde kyali kityo, Onduparaka yasigala mu kifo kya 3 ku kimeeza ng’esinga beyali evuganya nabo abaali bakungaanyizza obubonero 20 oluvannyuma lw’okuwangula ggoolo 3-1. Nga 4 Ogwoluberyeberymu 2019, Ondu yagwa amaliri ga 0-0 n’abagenyi baayo abaafuna kaadi emyuufu bbiri. Eyasooka yali ya butereevu eri Karim Ndugwa mu ddakiika ey'e 63 olw’ekisobyo kyeyakola ku Viane ate omukwasi wa ggoolo ya Mbarara FC n’agobwa mu budde obubeera bwongeddwaamu olw'okubeera nga yali akubye Gadinho omutwe; gwali mulundi ogw'okubiri ng'aweebwa kaadi eya kyenvu ey'asooka yali ayakubeera nga yali amala n’obudde. Ondu yakomekkerezza lawundi esooka mu sizoni eno nga 8 Ogwoluberyeberye nga bakubiddwa Vipers ggoolo 3-0. Mu mpaka za Uganda Cup nga 11 Ogwoluberyeberye, Solomon Okwalinga ye yateeba ggoolo yokka eyawangula omupiira ewa Kirinya Jinja SS mu ddakiika ey’okuna mu zaali zongeddwaamu. Yeeyali ggoolo ye eyali esooka ku Onduparaka.

Nga 2 Ogwokubiri mu 2019, Nelson Senkatuka yateebera bannanyinimu aba Bright Stars FC mu ddakiika eye 18 nga Rashid Toha tannateeba ggoolo ya Ondu ey’ekyenkanyi mu ddakiika eya 55. KCCA yakuba Ondu ggoolo 1-0 nga 5 Ogwokubiri mu 2019. Nga wayise ennaku nnya n’ennaku musanvu, Ondu yalemagana 0-0 ne Kirinya Jinja SS ku Lwomukaaga ne URA FC ku Lwokubiri mu Arua. Ku Lwokusatu nga 20 Ogwokubiri mu 2019, bannanyinimu aba Mbarara City FC baagenda mu maaso mu ddakiika ey'e 19 okuva mu kusimula ekoona nebateeba nga bayita mu Mukundani eyatometa n'omutwe kyokka Toha naye n’ateeba n'omutwe mu ddakiika eya 54.

Olwo Okhuti n’ateeba ey'obumuwanguzi mu ddakiika eye 77 ng’agenda mu maaso n’omuze nga ggoolo za Okhuti zonna mu sizoni bbiri eziyise zaali za bawanguzi. Onduparaka era n'ekomekkerezza eky'okubeera nga Mbarara yali Tekubibwaogwa waayo. Ku Lwokubiri nga 26 Ogwokubiri mu 2019, amaliri agataliiko ggoolo ne Vipers eyali ebakyalidde ng'eri mu kifo kyakubiri kyali kiategeeza nti Ondu yamalirizza olunaku ng'eri mu kifo kya 6. Ku Lwomukaaga nga 2 Ogwokusatu mu 2019, Ondu yakuba Maroons ggoolo 2-1 n’erinya okugenda mu kifo eky’okutaano.

Ku Lwokubiri nga 5 Ogwokusatu mu 2019, baakyalira Nyamityobora kyokka ne bakubwa ggoolo 1-0. Ku Lwokusatu nga 27 Ogwokusatu mu 2019, ggoolo okuva ewa Gadafi ne Okhuti zaawa Ondu obuwanguzi bwa ggoolo 2-1 ku SC Villa abaali abagenyi nga bano baafunayo ggoolo emu eyateebwa Magwali. Ku Lwokutaano nga 5 Ogwokuna mu 2019, Ondu yakubwa abagenyi baayo Soana ggoolo 1-0. Ku lunaku lw’emupiira egy'oluzannya lwa 26, ku Lwokubiri nga 9 Ogwokuna mu 2019, Ondu yakubwa ttiimu ya Poliisi omulundi ogwaali gusooka ggoolo 2-1 nebasigala mu kifo kya 7.

Ku Lwomukaaga Olutukuvu nga 20 Ogwokuna mu 2019, Ondu yakuba BUL ggoolo 1-0. Nga wayise ennaku nnya, baagwa amaliri ga 1-1 ewa Paidha Black Angels. Mu Gwokutaano, Onduparaka FC yakola omukago gwa Football for Peace ne AVSI Foundation omukago gwa Kiraabu ogwaalo ogw'okuna oluvannyuma lwe gwebaakola ne Palliative Care Association of Uganda, Care International nga nga kwekuli n'ogwa Everton FC okuyamba ebitundu by’ababundabunda mu ggwanga lya South Sudan naddala eby’Omugo ne Palabek. Omupiira gwabwe ogwasembayo mu sizoni ya Startimes Uganda Premier League mu 2019 baali battunka ne Express FC mu Arua gwagwa tewali ateebye mune. Onduparaka yamaliriza kampeyini yaayo ng'eri mu kifo kya 6, ekifo ekyali kisinga obubi bukyanga kiraabu eyingira kibiinja kya ku ntikko.

Sizoni ya 2019–20

[kyusa | kolera mu edit source]

Livingstone Mbabazi yakomawo mu Onduparaka nga sizoni y'omupiira tenatandika. Nga 4 Ogwomunaana mu 2019, oluvannyuma lw’okugwa amaliri agataalimu ggoolo ne Tooro United mu Arua, ggoolo ezaateebwa Jamal Malish, Dudu Ramadhan, Amis Muwonge ne Tabu Vitalis nga nabo bali mu kukomawo mu kukuba penetin n'emipiira egyatasiba Richard Anyama zaasindikira Ondu ku luzannya oludirira olw'akamalirizo mu mpaka za Pilsner Super 8 okuttunka ne KCCA eyabagyamu. Nga 7 Ogwomusanvu mu 2019, Ondu yakuba Kyetume ggoolo 7-1 mu Arua nga mulimu abasambi babiri abaali bateebye ggoolo ssatu buli omu okuwandiisa obuwanguzi bwabwe obwali businga obunene mu Premier liigi era nebakomekereza olunaku nga bali mu kifo kya 3.

Akaboneroi ka Onduparaka kuliko empeta ssatu n’enkulungo. Empeta ey’ebweru ya kiragala ng'ate y'esinga obutono, ey'okubiri njeru, ate ey’okusatu nene ng'ate ya kiragala era ng’eriko erinnya lya kiraabu waggulu mu langi enjeru n’omubala ogugamba nti, "The Struggle Continues" wansi, nayo mu langi enjeru. Wakati w’erinnya lya kiraabu n’omubala waliwo emunyeenye bbiri enjeru ezirabika ku kkono ne ku ddyo wakati mu mpeta ennene eya kiragala ey’omunda. Empeta zino zeetoolodde ekifo ekyeru, emirundi emitono egya kiragala wa ovakedo, ekirimu ekisaanyi ekyakiragala, nga kwekuva n'erinnya eryabakazibaako ku kono nga kuliko ekimera eky’ekikolo ekiddugavu nga kiriko ebibala ebya kyenvu nga kwogasse omupiira omuddugavu n’omweru wansi waakyo ku ddyo.

Langi za Onduparaka awaka mu sizoni yaabwe eyasooka ey’oku ntikko zonna zaali za kiragala ate omujoozi gw’oku bugenyi gwonna gwali mweru wadde ng’oluusi wali ngawo okutabika ebidugavu n’eby'eru. Abakuumi ba ggoolo nga bambala bbululu, bidugavu oba kyenvu nga kisinziira ku bazannyi abaali mu kisaawe.

Mu mateeka kyali kiyitibwa AbaBet Greenlight Stadium, ekisaawe kya Onduparaka ekimanyiddwa nga Paruku mu lulimi Olulugwaara nga kitegeeza "No escape" oba tewali kutoloka kisangibwa ku kyalo Onduparaka, ekitakka wansi wa ddakiika 10 mu bukiikakkono bw'ekibuga kya Arua ate ku ludda olwa ddyo bw'osala okuva ku luguudo olukulu mita ntono oluvannyuma lw'enkulungo enkulu ey'omu kitundu kino. Emabegako kyali kiyitibwa Discovery Greenlight Arena. Eriko olukomera olw’enjegere olwawula abawagizi ku kisaawe okuva abasambi webazannyira n'ekikomera ekikyetolodde ng'era kisobola okutuuza 1,000. Ebipande ebibeera bikuba obulango bitekebwa ku kikomera. Abamu bakiyita Oluwonvu gy'Ogenda wabula nga togenda kudda kubanga Onduparaka yali tekubibwa waayo mu liigi mu sizoni yabwe eyali esooka. Ttiimu ennene nga KCCA, Policei ne Express (zonna baazikubirayo ggoolo 2-1), Vipers (1-0) kw’oteeka ne SC Villa (4-3).

Abazannyi ba Ttiimu

[kyusa | kolera mu edit source]
Ttiimu ya kiraabu eya 2024-2025
Namber EKIFO ERINNYA SHIRT No
ABATEEBI
Omuteebi Bran Boy Fazillinoh 21.
Omuteebi Ceaser Okhuti 23.
Omuteebi Dominic Abonga 18.
ABAWUWUTTANYI
Omuwuwuttanyi Ivan Sekazza 24.
Omuwuwuttanyi William Gama 8.
OMUZIBIZI
Omuzibizi Hassan Mohamood .....
Omuzibizi Rashid Okocha 15.
Omuzibizi Hoodi Kakooza ...
Omuzibizi Alex Gasper Adriko
Omuzibizi Luggya Moris 3. 3.
OMUKWASI WA GGOOLO
GK Mathias Muwanga
GK G Atendele
GK R Mohammad
GK Nze Faizul
GK Gadaffi Wahab
GK Rajab Kakooza
GK A Lukwata
GK Julius Mangumu
GK Joel Jangeyambe
GK Malish Jamal
GK Vitalis Tabu
GK Paul Kayanja Dumba
GK Gibson Adinho
GK Bashir Bheto Adinan
GK N. Saddam
GK Rashid Yakin

AbaBet yakola omukago ne Onduparaka FC mu 2021 nga kino kyali kyetaagisa kiraabu eno okwambala akabonero kaayo ku mijoozi gyabwe, nga n'ekisaawe kyabwe nakyo kituumiddwa AbaBet Greenlight Stadium. MTN Uganda eyali yasooka okulangirira ddiiru y’okuteeka ssente mu Onduparaka FC mu Gwekumi gwa 2017, yazza obuggya ddiiru yaayo ey’okuteeka ssente mu mujoozi gwa Onduparaka mu Gw'okubiri ogwa 2019.

Ttiimu ento eyitibwa Junior Caterpillars

[kyusa | kolera mu edit source]

Omulembe oguddako ogw'emunyeenye za Onduparaka FC bayitibwa Ondunyiri . Mu lulimi Olulugwaara, nyiri kitegeeza ekitono oba abaana abalabika ng'abatono.

Likodi z'abantu sekinoomu

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Ssentebe asooka: Benjamin Nyakuni
  • Omuzannyi asoose okuzannya mu Uganda Cranes : Caesar Okhuti
  • Omuzannyi eyasooka okuwangula liigi ya Uganda Super League [kati UPL]: Caesar Okhuti (ne Bunamwaya [kati Vipers], 2010)
  • Omuzannyi asoose okuwangula Cecafa: Caesar Okhuti
  • Omuzannyi asoose okuwangula engule ya FUFA MVP (Most Valuable Player): Muhammad Shaban, 2016
  • Omuzannyi asoose okuzannya mu mpaka za Afrika : Muhammad Shaban, Gabon 2017
  • Omuteebi wa Kiraabu akulembedde, mu biseera byonna: Muhammad Shaban (mu mpaka zonna)
  • Ggoolo ezisinga obungi Caterpillar ze yateebye mu UPL: Muhammad Shaban 13 (mu 2017, wakubiri mu kuteeba ggoolo)
  • Omuteebi asinga okuteeba ekikopo mu Uganda: Muhammad Shaban (ggoolo 7 ez’awamu), 2016

Likodi za kiraabu

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Omupiira gwa liigi ogusoose: 0–0 ne Soana (mu 2016)
  • Okukubwa liigi okusoose ku butaka: 0-1 ne SC Villa, 10 Ogwokusatu 2018
  • Obuwanguzi bwa liigi obusoose: 2-1 ne KCCA, 9 Ogwomwenda 2016
  • Omupiira gwa liigi ogusoose okulagibwa butereevu ku Azam TV: 1–0 ne Kirinya Jinja SS, Uganda Premier League, 17 Ogwokubiri 2017
  • Omupiira gw’omukwano ogw’ensi yonna ogusoose: 2-0 ne Gor Mahia, 4 Ogwokubiri 2017
  • Obuwanguzi bwa ggoolo ssatu obusoose ku butaka, 3-0 ku Masavu FC, 30 Ogwokusatu 2018
  • Obuwanguzi obusinga obunene ku bugenyi mu UPL: 5-0 ne Police FC e Nambole, Ogwokuna 2018
  • Abasinga okuteeba mu buwanguzi: Ggoolo 16 ne Muni FC (Division League)
  • Okumalira mu UPL okusinga obunene: mu kyakuna (mu 2018)
  • Okumalira wansi mu UPL: Mu kifo kya 6 (mu 2019)
  • Okukubwa likodi mu liigi: 7-0 ne KCCA, 25 Ogwokubiri 2017
  • Obudde bwa likodi nga tebakubwa awaka, emyaka ena wakati w’okukubwa Nebbi Central ne SC Villa, sizoni emu n’ekitundu nayo mu UPL
  • Ekyokubiri: Uganda Cup, 2016
  • Ebikopo: Regional League (1), 2016 eyabalabye nga bakuziddwa mu UPL
  • Tewanguddwa waka mu sizoni ya UPL yonna, 2017 (tiimu yokka)

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 https://www.kawowo.com/2016/06/14/the-evolution-of-onduparaka-football-club/
  2. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1429754/leo-adraa-joins-onduparaka-head-coach
  3. http://www.fufa.co.ug/fufa-statement-on-the-42nd-uganda-cup-final-played-on-18th-june-2016/
  4. Kayondo, Elias (9 August 2017). "Onduparaka FC releases 2017/2018 squad with Muhammad Shaban relieved of captaincy". Kampala: Swift Sports Uganda. Archived from the original on 3 July 2018. Retrieved 3 July 2018.
  5. Betway Renew Onduparaka Partnership With Shs 600 Million Deal
  6. Onduparaka Unveil MTN as Sponsors in Multi Million Deal
  7. "Uganda Cup: URA, Maroons knocked out, Soana, Stars progress". Uganda Premier League. 29 January 2018. Retrieved 4 November 2018.
  8. Charity Fund
  9. "PILSNER FUFA SUPER 8: Onduparaka, KCCA FC Battle For Trophy". Archived from the original on 2025-04-25. Retrieved 2025-11-20.