Jump to content

Onegi Obel

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

 

Angelo Onegi Obel (4 Ogwokuna 1932 – 16 Ogwekkuminebiri 2008), yali Munnayuganda omukugu mu by'enfuna, munnabyabufuzi era nga yali muwabuzi wa Pulezidenti wa Uganda . Era yaweerezako nga Gavana wa Bank of Uganda okuva mu 1973 okutuuka mu 1978. [1]

Obuto bwe n’obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Obel yazaalibwa nga 4 Ogwokuna 1932, ku kyalo Pacego Pumvuga mu Ggombolola lye' Panyango e Ssaza lye Jonam mu Disitulikiti y'e Nebbi, mu ttundutundu lya West Nile . Mu kiseera ekyo, ekitundu kya West Nile kyali kimanyiddwa nga Disitulikiti y'e West Nile . M u myaka gya 1940 yasomera mu Ngetta Catholic Primary School’ e Lira, nga tannagenda mu siniya ku St. Aloysius College e Nyapea, mu Disitulikiti y’e Nebbi, n’atikkirwa mu 1948. Mu 1949, yakkirizibwa mu ssomero lya Namilyango College, essomero ly’abalenzi bonna ery’ekisulo, n’atikkirwa eyo mu 1953, ne satifikeeti ya Ordinary Cambridge shool (O-Level). Oluvannyuma yeewandiisa mu ssomero erisomeseza emitala w’amayanja n’afuna satifikeeti ya Advanced Cambridge School Certificate (A-Level). Era oluvannyuma, y'ewandiisa mu Assumption University, mu Canada, n’afuna diguli mu by'enfuna eya Bachelor of Arts in Economics . Yakyuka n'agenda mu yunivasite y'e Toronto gye yafunira diguli ye ey'okubiri mu by'enfuna eya Master of Arts in Economics . Yakomawo mu Uganda mu 1965. [2]

Oluvannyuma lw'okutikkirwa mu ttendekero lya Namilyango College, Obel yaweebwa omulimu mu Gavumenti ya Uganda, ng'akalabaalaba mu by'okubala ebitabo mu Lira ne Arua . Bwe yakomawo okuva mu misomo gye e Canada, yafuna omulimu mu Minisitule y’ebyensimbi, ng’aweereza nga Kaminsona w’omusolo. Mu 1968, yakyusibwa n’atwalibwa mu Bbanka enkkulu eya Uganda ng’omumyuka wa Gavana, okuva mu 1968 okutuuka mu 1973. Mu 1973, yalondebwa okuba Gavana wa Bank of Uganda, nga yaweereza mu kifo ekyo mu 1978.

Yalondebwa ku lukiiko lwa Ssemateeka olwakola ssemateeka wa Uganda mu 1995. Kaweefube gwe yakola okutumbula eby'enfuna n’enteekateeka ya Uganda n’ebigendererwa bya Gavumenti by'aterantu okuviirako obutakkaanya era okugeza mu 2006, y'enyigira mu lutalo lw’amateeka olw’okuzimba olutindo ekyagootanya embeera z'abantu n'abalimi.

Ebirala ebikulu

[kyusa | kolera mu edit source]

Onegi Obel yafa nga 16 Ogwekkuminebiri 2008 olw’obulwadde obw’obutonde. Yaleka omukyala Agnes Atoh, abaana abawerako saako n'abazzukulu bangi. Omu ku batabani be Geoffrey Onegi Obel eyaweerezaako nga Ssentebe w'ekitongole kya National Social Security Fund . [3]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2018-01-06. Retrieved 2025-08-01.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. http://memorialwebsites.legacy.com/onegiobel/Homepage.aspx
  3. http://allafrica.com/stories/201411280365.html