Jump to content

Opiyo Oloya

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Opiyo Oloya, nzaalwa za Uganda, nga musomesa era omuwandiisi, abeera mu Canada, mu kiseera kino y'amyuuka Omukulembezze ku Western University avunaanyizibwa ku By'obwenkanya, okuteeka okunyigira abantu mu nsonga ez'enjawulo n'okubasembeza. [1] Yawandiika akatabo akayitibwa Child to Soldier akaafulumizibwa ab'empapula za University of Toronto mu 2013. Akatabo kano kakwata ku bajaasi naye nga baana abaayingizibwa mu magye ga Joseph Kony . [2]

Obuvo n'obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Oloya yazaalibwa mu kyalo Pamin-Yai, mu Disitulikiti y’e Amuru ey’omulembe guno, mu kitundu ky’obukiikakkono, mu Uganda, mu 1957. [3] Mu kiseera bwe yazaalibwa, Disitulikiti y’e Amuru kyali kitundu ku Disitulikiti y’e Gulu ebaliraanye kati. Oluvannyuma lw’okusomera ku masomero g'omukitundu ky'ewaabwe, yagenda ku Sir Samuel Baker Secondary School gyeyasomera okuva mu S1 okutuuka ku S3, okuva mu 1973 okutuuka mu 1976. Yakyuka n’agenda mu St. Peter’s College e Tororo, gyeyatuulira S.4 ne S.6, okuva mu 1976 okutuuka mu 1979. Mu 1979 yakirizibwa ku Makerere University okusoma a diguli mu Sayaansi w'eby'obufuzi. Bwe yali e Makerere, yeenyigira nnyo mu by'obufuzi ng'ali kutendekero lino era n’alondebwa okuba pulezidenti w’Ekibiina Ekigatta Abayizi mu Makerere University. Endowooza ze zaakontana nga n'ab'obuyinza abaali mu biseera bya Obote II eyali mu buyinza mu kiseera ekyo. [4]

Mu 1981, yaddukira ku muliraano e Kenya, nga tanamaliriza misomo gye egya diguli. [5] Yawaaba omusango gw’obubudamu e Kenya era n’akkirizibwa Canada, gye yasengukira mu 1981. Yeeyongerayo n'emisomo gye ku Queen’s University, n’atikirwa diguli mu By'emisomo Egy'enjawulo Sayansi w’Eby'obufuzi mu 1986. Yagenda mu maaso n’afuna diguli ey'Okubiri mu By'okusomesa okuva mu University of Ottawa mu 1988. [4] Mu Gwomukaaga mu 2010, yafuna obuwanguzi bw'okuwolereza ebbaluwa ye ey'okusoma diguli Ey'okusatu okuva mu York University. [3]

Oloya ye muwandiisi wa bitabo ebiwerako, omuli Child to Soldier ( University of Toronto Press, 2013) ne Black Hawks rising: emboozi y’olutalo lwa AMISOM olw’obuwanguzi n’abayeekera ba Somalia, 2007-2014 . [6] [7] Omulimu omukulu Opiyo Oloya gwe yalonda gwakusomesa.

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Western News 13 July 2021 https://news.westernu.ca/2021/07/opiyo-oloya-to-lead-equity-work/
  2. Teresa Latchford (20 October 2011). "Fleet-footed principal leads by example". Newmarket, Ontario, Canada: Yorkregion.com. Retrieved 5 December 2019.
  3. 1 2 Oloya, Opiyo (22 June 2010). "Happy Father's Day Mzee Alipayo Oloya! I Salute You". Retrieved 1 April 2015. Cite error: Invalid <ref> tag; name "Father" defined multiple times with different content
  4. 1 2 Oloya, Opiyo (2008). "Biography of Opiyo Oloya". Rootsworld.com. Retrieved 1 April 2015. Cite error: Invalid <ref> tag; name "Music" defined multiple times with different content
  5. Lubega, Henry (2019). "He fled Mak a student, returned as a lecturer". Daily Monitor. Retrieved 7 October 2019.
  6. Hurlbut, Joanne (2015). "Review: Child to Soldier: Stories from Joseph Kony's Lord's Resistance Army". Nova Religio. 18 (3): 126–8. doi:10.1525/nr.2015.18.3.126. JSTOR 10.1525/nr.2015.18.3.126.
  7. Solomon, Hussein (2017). "Book Review: BLACK HAWKS RISING: THE STORY OF AMISOM'S SUCCESSFUL WAR AGAINST SOMALI INSURGENTS, 2007-2014". Scientia Militaria: South African Journal of Military Studies. 45 (1): 155–7. doi:10.5787/45-1-1199. Retrieved 7 October 2019.