Otole dance
Otole mazina agabiibizibwa mu lutalo ag'obuwangwa bwa Acholi . Ekigendererwa kyago kuyigiriza bavubuka ba Acholi ku biki byebalina okusuubira mu kiseera ky’okulwana. Abeetaba mu mazina gano kuliko abasajja n’abakazi ab’amaanyi ab’emyaka wakati wa 30-50. [1]
Ebigendererwa
[kyusa | kolera mu edit source]Amazina ga Otole gaalina ebigendererwa ebiwerako, omuli: [2] [3]
- Okweteekateeka omubiri okulwana
- Okwegezaamu mu nsengeka z’okulumba n’obukodyo.
- Okwetegekera okuklwana n'efujjo mu birowoozo
- Okusitula obuwagizi bw’abantu eri ekiteeso ky’okulwana
Okunnyonnyola
[kyusa | kolera mu edit source]Amazina Otole gategekebwanga ku mulanga gw’omutaka. [2] Amazina gano mwabangamu okujaguza obuwanguzui n’entalo ez’ebicupuli. Mu kiseera ky’amazina ga Otole, abasajja bayambalanga amaliba g’engo n'ebyooya bya Ssekkokko, era basitulanga amayembe, [4] engabo, n’amafumu. [2] [3] Abakazi baasitulanga obubazzi obutono obw'emiti oba emiggo egitalina nkula. [2] [4]
Omuyimbi omukazi omukulu atandika amazina n'enduulu, era omusajja akulembera n’atandika okugegenya okulwana. [4] Amazina ga Otole gawerekerwako enggoma, era abeegeetabamu bayimba oba okuleekaana ennyimba z’olutalo. [5] [6]
Mu mazina gano, abakyala batambulira mu kibinja nga bakuumibwa abasajja ku ma bbali akabonero akalaga nti abasajja bakakasa obukuumi eri abakyala. [4]
Ebiwandiiko ebikozesebwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
- 1 2 3 4 https://blogs.loc.gov/kluge/2016/11/dance-manhood-and-warfare-amongst-the-acholi-people-of-northern-uganda/
Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":0" defined multiple times with different content - 1 2 https://ugandasafariexperts.com/uganda-traditional-dances/ Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":1" defined multiple times with different content - 1 2 3 4 https://www.tandfonline.com/doi/full/10.1080/23277408.2018.1510644 Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":2" defined multiple times with different content - ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
- ↑ https://diglib.library.vanderbilt.edu//displayitem.pl?RC=59