Jump to content

Paidha Black Angels FC

Bisangiddwa ku Wikipedia

Paidha Black Angels FC ttiimu ya mupiira okuva e Paidha, mu Disitulikti y'e Zombo , mu bitundu bya West Nile, mu Bukiika kkono bw'ebitundu bya Uganda. Yavuganya mu liigi ya Uganda eyababinywera eya 2018-19 .

Black Angels yazannya sizoni ya 2018–19 mu liigi ya Uganda eyababinyweera oluvannyuma lw’okusimusibwa okuva mu kibinja kyawansi mu sizoni ya 2017/2018. [1] Baasobola okufuna obuwanguzi bwa mirundi ebbiri gyokka mu mipiira 26 egyasooka era ye ttiimu eyasooka okukakasibwa nti esaliddwaako okudda mu kibinja kyawansi. [2]

Black Angels, eyali etendekebwa Allan Kabonge, yawangudde empaka za FUFA Big League eza 2017/2018 ez’okusunsula anaayitamu okugenda mu liigi y'okutinko. [3] Black Angels ye kiraabu ey'okuna Kabonge gyeyali mu mitambo nesumusibwa okugenda mu liigi ya Uganda ey'okubiri emannyikiddwa nga Big league. [4]

Bano era bamanyikiddwa olw’okuzannya fayinolo y’empaka za Uganda Cup eya 2016/2017, gye baakubwa KCCA FC ggoolo 2-0 . [5]

Ebjuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. FUFA (17 May 2018). "FUFA Big League: Paidha Black Angels, Kitara Face Off For Available Top Flight Slot". Federation of Uganda Football Associations (FUFA). Retrieved 20 June 2018.
  2. "Paidha relegated from Uganda Premier League after dismal campaign". 10 April 2019.
  3. Airtel Uganda Football (20 May 2018). "Paidha Black Angels defeat Kitara to earn promotion to Uganda Premier League". Airtel Football Uganda. Archived from the original on 21 June 2018. Retrieved 21 June 2018.
  4. Isabirye, David (March 2018). "Kabonge's Paidha Black Angels humble Amuka Bright Stars; FUFA Big League (Elgon Group)". Kawowo.com. Retrieved 20 June 2018.
  5. Rsssf.com (2017). "Azam Uganda Premier League 2016/2017: Competition Tables". Rsssf.com. Retrieved 20 June 2018.