Pamela Mbabazi
Pamela Kasabiiti Mbabazi (yazaalibwa 6 Ogwokuna, 1969). Munnayuganda pulofeesa mu yunivasite, omuddukanya w'eby'ensoma,era omusomesa, nga mu kiseera kino akola nga Ssentebew'ekitongole ekivunaanyizibwa ku nteekateeka z'eggwanga ekya Uganda ekya National Planning Authority. Yatuuzibwa mu kifo ekyo mu Gwokuna 2019, okuweereza ekisanja kya myaka etaano, nga kizzibwa obuggya omulundi gumu. Omulimu gwe ogwa Ssentebe gwazzibwa buggya mu 2024 okuweereza okumala emyaka emirala 5 nga Ssentebe wa NPA. [1]
Emabegako yaliko amyuka omumyuka w'omukulu wa yunivasite ya Mbarara University of Science and Technology (MUST). Yalondebwa ku kifo ekyo mu 2010, okumala ekisanja eky’emyaka etaano ekizzibwa obuggya. [2]
Obuvo bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Mbabazi yazaalibwa Pamela Kasabiiti, e Mbarara mu Uganda, nga 6 Ogwokuna, 1969. Yasomerako mu masomero ga pulayimale ag'omu kibuga Mbarara, nga tannakyuka kugenda mu Kigezi High School okusoma Siniya eyookuna. Yagenda mu ssomero lya Bweranyangi Girls' Senior Secondary School e Bushenyi okusoma Siniya Eyoomukaaga. [3]
Mu 1987, yayingira yunivasite y’e Makerere, ettendekero lya Uganda erisinga obukadde n’obunene, n’atikkirwa mu 1990 n’afuna diguli esooka eya Art mu by’enfuna ne Sayansi w'ebyobufuzi. Yagenda mu maaso n'emisomo gye mu University of Leeds, gye yafunira diguli eyookubiri eya Arts mu masomo g'eby'enkulaakulana mu 1992. Yafuna diguli eyookubiri eya sayansi mu by'enkulaakulana mu nteekateeka n'okuddukanya enkulaakulana okuva mu Kwame Nkrumah University of Science and Technology e Kumasi, Ghana. Diguli ye eya Doctorate masomo g'eby'enkulaakulana yagifuna mu 2005 okuva mu yuniyasite ya Mbarara University of Science and Technology. [3] [4]
Obumanyirivu bwe ku mirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Okuva mu 1998, Mbabazi yali akulira ekitongole ekinoonyereza ku nkulaakulana oba Faculty of Development Studies mu yunivasite y’e Mbarara . Ono yasiimibwa olw’okutandikawo ekitongole kino n’okukola amasomo g'essomo lya diguli mu masomo gy'enkulaakulana n’okuddukanya bizinensi. Ekitongole kati kyagattibwa ku ttendekero lya Institute of Management Science. Mu 2010, yalondebwa okuba omumyuka w’omukulu wa chancellor mu MUST, n’adda mu bigere bya Jonathan Baranga eyali azze mu kitongole kya Sayansi. [5] Mu Gwokuna gwa 2019, yalayizibwa nga Ssentebe omuggya ow'ekitongole ekivunaanyizibwa ku nteekateeka z'eggwanga ekya Uganda ekya National Planning Authority, n'adda mu bigere bya Pulofeesa Wilberforce Kisamba Mugerwa, eyaweereza mu kifo ekyo okuva mu 2008 okutuuka mu 2018. [1]
Obulamu bwe obw’obuntu
[kyusa | kolera mu edit source]Mbabazi mufumbo eri Ivan Mbabazi Batuma. Bombi awamu balina abaana babiri. [3]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Emmeeza y’obusika mu kifo ky'omumyuka wa yunivasite y’e Mbarara
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 https://www.monitor.co.ug/News/National/Justice-Dollo-calls-tough-laws-help-national-planning--/688334-5093294-rmhy39z/index.html
- ↑ http://www.observer.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=9597:pamela-mbabazi-appointed-new-must-deputy-vc-
- 1 2 3 http://www.observer.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=19949:mbabazi-the-engine-at-mbarara-university&catid=85:education&Itemid=106
- ↑ https://web.archive.org/web/20160304081023/http://iitr.must.ac.ug/downloads/Prof%20Pamela%20K%20Mbabazi%20CV.pdf
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2018-10-23. Retrieved 2025-10-18.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)