Jump to content

Patricia Magara

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Patricia Magara (yazaalibwa 1978) Munnayuganda, munnamateeka era munnabyabufuzi ye ssentebe w'ekibiina kya liigi y'abakyala ba National Resistance Movement e Luweero, era muwala wa Sam Magara, munnayuganda omuyeekera eyattibwa mu 1982. [1]

Obuto bwe n'obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Magara yazaalibwa mu 1978 eri omugenzi Sam Magara ne Joy Magara e Nairobi mu Kenya, bazadde be gye baali mu buwanganguse. Baganda be kuliko Emmanuel Noowe, Stalin Kanduho, ne Sam Mwerindebiro. [1]

Yatandika okusoma mu Indian Nursery e Nairobi, era yeegatta ku ssomero lya Budo Junior school mu 1986 n’oluvannyuma Jinja Army Boarding School, gye yamaliriza okusoma pulayimale . Magara yasomera mu Namasagali College okumala emyaka ebiri n’alyoka yeegatta ku Mary Hill High School e Mbarara, gye yakolera siniya ey''okuna. Siniya ey'omukaaga yagikolera ku Bweranyagi Girls oluvannyuma yaweebwa ekifo mu Ssettendekero wa Makerere okusoma diguli mu mateeka. [1]

Omulimu Patricia gwe yasooka okukola ng’amaze okutikkirwa mu 2002 gwali gwa Kaliisoliiso wa gavumenti okumala emyezi mukaaga, oluvannyuma n’akolera mu maka g'obwa Pulezidenti oba State House okutuusa mu 2010 lwe yeegatta ku minisitule y’ebyamateeka n'ensonga za ssemateeka. [1]

Ye ssentebe w'ekibiina kya Women's League NRM e Luweero . [2] Yakiikirira ekibiina kya National Resistance Movement ng'akutte bendera mu Konsityuwensi ya Katikamu ey'Obukiikaddyo mu kulonda kwa bonna okwa 2021 gye yawangulwa Hassan Kirumira owa National Unity Platform . [3] Mu kalulu k'ekibiina yawangula Abubakar Kalume era najjulira mu kakiiko ka NRM ng'asaba obululu okusazibwamu olw'okuteebereza nti kalimu obukumpanya, emivuyo n'okutaataganya ebyali bivudde mu kulonda[4] [5] Kkooti eno yagoba okusaba kwe kuno olw’obutaba na bujulizi bwesigika obwamuleetera okuvuganya ku bwannamunigina mu kulonda kwa bonna okwa 2026. [6] [7]

Ebimukwatako eby'omunda

[kyusa | kolera mu edit source]

Magara maama w’abaana babiri nga mufumbo eri Sam Buchanan. [1] [8] [9]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 5 https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/our-childhood-was-in-exile-patricia-magara-1563058 Cite error: Invalid <ref> tag; name ":0" defined multiple times with different content.
  2. ↑ https://www.newvision.co.ug/category/politics/luwero-nrm-launch-early-mobilisation-NV_144369_022026
  3. ↑ https://ugandaradionetwork.net/story/court-adjourns-katikamu-south-election-petition-
  4. ↑ https://nilepost.co.ug/news/277719/magara-demands-fresh-nrm-primaries-in-katikamu-south-over-rigging-allegations
  5. ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/-nrm-candidate-alleges-conspiracy-to-block-election-petition-5143136
  6. ↑ https://www.independent.co.ug/nrm-tribunal-upholds-victory-by-4-mp-flagbearers-in-luwero/
  7. ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/special-reports/elections/2026-elections-why-21-faces-are-fighting-for-the-soul-of-katikamu-south-4951920
  8. ↑ https://chimpreports.com/nra-historicals-daughter-patricia-magara-gets-death-threats/
  9. ↑ https://observer.ug/news/city-tycoon-buchanan-remanded-over-illegal-gun-possession/

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]