Patricia Ochan Okiria
Patricia Ochan Okiria y'amyuka omuduumizi wa gavumenti mu Uganda . Omulimu gwe munnamateeka era okusinga akola nga munnamateeka w’eddembe ly’obuntu.[1]
Yali mmemba ku kakiiko akavunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights commission gye yeegatta mu 2019 okutuusa pulezidenti lwe yamulonda nga Deputy Inspector General Of Government.[2][3][4]
Obuyigirize n’ebyafaayo by’emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Okiria alina diguli ey’obusawo mu mateeka okuva mu yunivasite y’e Pretoria mu South Afrika, diguli eyookubiri mu mateeka okuva e Pretoria nayo, dipulooma ya diguli eyookubiri okuva mu kifo ekikulaakulanya amateeka mu Uganda ne diguli esooka mu mateeka okuva mu yunivasite y’e Makerere mu Uganda.
Akola nga omuwolereza wa kkooti enkulu mu Uganda, omumyuka wa pulezidenti w'ekibiina ekigatta bannamateeka abakulisitaayo.
Okiria mmemba mu kibiina ky'abannamateeka abakyala mu Uganda.
Yakolerako mu minisitule y'emirimu n'eby'entambula ng'omuwabuzi ku nkola y'amateeka okuva mu 2016 okutuusa lwe yalondebwa ku kakiiko akavunaanyizibwa ku ddembe ly'obuntu mu Uganda . [5]
Yaweereza mu kitongole ekivunaanyizibwa ku mpisa n’obwesimbu okumala emyaka mukaaga ng’omuwabuzi ku by’amateeka mu nkola n’oluvannyuma n’akola nga dayirekita w’ensonga z’amateeka. [6]
Mu kiseera kino akola nga Deputy Inspector General Of Government nga kwotadde ne President Of the east African association of anti-corruption Authorities. [7] [8] Yeetaba mu kulwanyisa enguzi. [3]
Awandiise ebitabo bingi omuli The Best Practices on State reporting ne The IDP crisis in Africa . [9]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "IGG: What lies ahead as Kamya, deputies swear in". Monitor (in Lungereza). 2021-09-23. Retrieved 2024-05-28.
- ↑ "Museveni names Patricia Achan Okiria deputy IGG". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-05-28.
- 1 2 "Patricia Achan Okiria: From making laws to fighting corruption". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-05-29.
- ↑ "Uganda's syndicated corruption difficult to fight - deputy IGG Okiria". Monitor (in Lungereza). 2023-08-26. Retrieved 2024-05-29.
- ↑ UHRC (2023-05-29). "UHRC 25th Annual Report is very rich in quality and content – Experts". Uganda Human Rights Commission (UHRC) (in British English). Archived from the original on 2024-05-29. Retrieved 2024-05-29.
- ↑ "Museveni names Patricia Achan Okiria deputy IGG". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-05-29.
- ↑ "Deputy IGG Achan assumes EAAACA presidency". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-05-29.
- ↑ Matovu, Muhamadi (2024-05-09). "Have IGG Kamya and deputy Okiria fallen out?". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2024-05-29.
- ↑ Editorial, PML DAILY EDITOR | PML Daily (2021-02-27). "DR. PATRICIA ACHAN OKIRIA: Children's rights and the digital sphere in Uganda". PML Daily (in American English). Retrieved 2024-05-29.