Patrick Birungi
Patrick Bitonder Birungi munnayuganda omukugu mu by’enfuna, muby'ensoma n’ebitongole, akola nga dayireta omukulu owa Uganda Development Corporation (UDC), okutandika nga 4 ogw'okuna mu 2019. [1] UDC kkampuni ya gavumenti ya Uganda, eyatandikibwawo mu 1952, erina obuyinza okutumbula ssente mu ggwanga n’okuddukanya ssente za gavumenti mu bizinensi n’amakolero ag’obwannannyini. [2]
Obulamu obuto n’okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]Birungi yazaalibwa nga 1 Gatonya mu 1968 mu kitundu ky'e Toro . Oluvannyuma lw’okusomera mu masomero ga pulayimale ag’omu kitundu, yeewandiisa mu essomero lya Nyakasura , ery'abawala n'abalenzi, ery’ekisulo, nga lya siniya erisangibwa mu Fort Portal, mu Disitulikiti y’e Kabarole, mu bitundu by'ebugwanjuba bwa Uganda. Yatikkirwa e Nyakasura n'afuna Dipulooma ya Siniya . [3]
Yafuna diguli ye esooka, Bachelor of Arts mu byenfuna, okuva mu yuniversite e Makerere , eya gavumenti esinga obukadde n'obunene mu Uganda. Diguli ye eyookubiri, eya sayansi mu by’enfuna yagifuna okuva mu yunivasite y’e Pretoria mu bukikakkono bwa Afirika. Alina ne diguli ya Dokita mu bufilosoofo mu by’enfuna, nayo yagifuna okuva mu yunivasite y’emu. [4]
Omulimu
[kyusa | kolera mu edit source]Okutandika mu myaka gya 1990, Birungi yakola ng’omukugu mu by’enfuna mu mirimu egy’enjawulo omuli n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga . [4] Okuva mu 1992 okutuuka mu 2008, yasomesa mu yunivasite e Makerere, n’alinnya ku kifo ky’omusomesa omukulu, mu kiseera weyaviirayo. Okumala emyaka esatu, wakati wa 2007 ne 2010, yaliko omukugu mu by’enfuna mu ggwanga, mu nteekateeka y’amawanga amagatte ey’enkulaakulana (UNDP). [3]
Nga tannatuuka ku kifo ky’alimu kati, yamala emyaka kumpi mwenda mu kitongole ekivunaanyizibwa ku nteekateeka y’eggwanga ekya National Planning Authority of Uganda, ng’aweereza eyo nga Dayirekita w’okuteekateeka enkulaakulana. [3] [5] [6]
Ng’ali eyo, yeenyigira butereevu mu kuteekawo enteekateeka y’enkulaakulana y’eggwanga eyasooka (I)(2010–2015) n'eyookubiri (II) (2015–2020). [7] [8]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijulizo
[kyusa | kolera mu edit source]Ebiyungo eby’ebweru
[kyusa | kolera mu edit source]- Uganda Development Corporation Omukutu gwa yintaneeti
- Empisa Embi Ensimbi N'okukulembeza Ebikosa Enkula Ya Uganda -Kisamba Mugerwa Nga 21 ogw'omusanvu mu 2018.
- ↑ Ismail Musa Ladu (4 April 2019). "Uganda Development Corporation gets new boss". Retrieved 4 April 2019.
- ↑ The Report Company (13 October 2015). "Interview with Fred Ogene, CEO of Uganda Development Corporation". Thereport.com. Retrieved 4 April 2019.
- 1 2 3 Patrick Birungi (2019). "Patrick Birungi: Uganda". Linkedin.com. Retrieved 4 April 2019.
- 1 2 Researchgate (2019). "Patrick Birungi's Research While Affiliated With National Drug Authority, Uganda And Other Places". Retrieved 4 April 2019.
- ↑ The Independent (20 February 2019). "Experts call for balanced investment in infrastructure". Retrieved 4 April 2019.
- ↑ Birungi, Patrick (25 July 2016). "Development Planning in Uganda" (PDF). Clubrunner.blob.core.windows.net. Retrieved 6 April 2019.
- ↑ Tentena, Paul (19 July 2018). "Why Uganda Can't Attain Middle Income Status By 2020". Archived from the original on 26 July 2018. Retrieved 4 April 2019.
{{cite web}}: CS1 maint: unfit URL (link) - ↑ Agather Atuhaire (1 April 2014). "We Need to Focus On Implementation: National Planning Authority". Uganda Radio Network. Retrieved 4 April 2019.