Jump to content

Patrick Nsamba Oshabe

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Patrick Oshabe munnabyabufuzi Munnayuganda era omubaka wa paalamenti ow'ekitundu kya Kassanda ey'obukiika kkono.[1][2] Yalondebwa ku kifo kino mu Mwezi Ogwolubereberye 2021 wansi w'ekibiina kya National Unity Platform. Emabegako yaweerezaako ng'omubaka wa paalamenti wansi wa NRM.[3][4][5]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Nsamba yasomera ku Kikandwa UMEA Primary School mu Disitulikiti y'e Mubende ne Mityana Secondary School ku mitendera gyombi ogwa Siniya eyokuna ne Siniya ey'omukaaga. Yafuna ddiguli esooka mu by'enfuna ne Philosophy okuva mu Yunivasite y'e Makerere era okuvannyuma naafuna Ddiguli eyokubiri mu by'empisa n'okuddukanya emirimu gya gavumenti ( Master of Arts in Ethics and Public Management ).[6]

Yafuna ne satifikeeti mu kugonjoola obutakkanya n'enkulaakulana ne Dipulooma mu kudduknaya n'okulabirira enkulaakulana okuva mu yunivasite ya Open University e Bungereza.[6]

Nsamba yeeyali Omubaka wa Paalamenti ow'ekitundu ky'e Kasanda ey'obukiika kkono.[7] Yali atuula ku kakiiko k'ebyenjigiriza n'ebyemizannyo mu Paalamenti ey'ekkumineemu.Yali mmemba wa Paalamenti y'Afirika (Pan African Parliament) essiga erikola amateeka mu kibiina omwegattira amawanga ga Afirika ( African Union ) ekisangibwa mu Midrand mu South Africa.[8]

Yali omu ku babaka ba NRM ba kiwagi era yakulemberamu ttiimu ya babaka omukaaga abaali ab'okuleeta ekiteeso ekisaba gavumenti okuteekawo akakiiko akeekeneenya Ssemateeka ak'okukola etteeka ery'ennongoosereza ekyawangulwa ababaka b'ekibiina abasinga obungi.[9][10].Olwo yava mu kibiina ne yeegatta ku kisinde ki People Power Movement mu 2019 oluvannyuma ekyafuuka NUP.[11] [12]Mu 2021 oluvannyuma lw'okulonda kwa bonna, yali omu ku babaka ba paalamenti abataano abaatunuulirwa okulondebwako akulira oludda oluvuganya owa paalamenti ey'ekkumineemu.[6]Yaddamu naavuaganya mu 2026 ku kifo kya paalamenti eky'ekitundu kya Kasanda ey'obukiika kkono ng'akwatidde NUP bendera naawangula.Eyamuvuganya Isaac Kamulegeya yasaba kkooti okuddamu okubala obululu, oluvannyuma kkooti kyeyagoba nenyweza Nsamba ng'omubaka wa paalamenti omulonde omutuufu ow'ekitundu kye Kasanda ey'obukiika kkono.[13]

Ebijuliziddwa.

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. ↑ "Uganda MPs swear-in at Pan African Parliament – Parliament Watch". parliamentwatch.ug. Retrieved 16 December 2025.
  2. ↑ watchdog (6 November 2021). "Parliament to reconsider Bill promoting local content". Watchdog Uganda. Retrieved 16 December 2025.
  3. ↑ https://www.newvision.co.ug/category/politics/nups-nsamba-elected-pan-african-parliament-au-NV_137549NUP's Nsamba elected Pan-African Parliament audit committee chair - New Vision Official [permanent dead link]
  4. ↑ Eyotaru, Olive (27 September 2017). "MP Nsamba outlines tactics to fight moves on age limit". The Observer (Uganda).
  5. ↑ "Five nominated to Pan African parliament". New Vision. Kampala. 18 March 2004.
  6. 1 2 3 "NUP lines up five as LoP debate heats up". Monitor. 10 April 2021. Retrieved 13 December 2025
  7. ↑ https://mpsdb.parliament.go.ug/?page=18
  8. ↑ Kiwawulo, Chris (27 May 2021). "Uganda MPs swear-in at Pan African Parliament". The Independent (Uganda).
  9. ↑ "Details of age limit removal motion leak". Monitor. 14 January 2021. Retrieved 13 December 2025.
  10. ↑ "11 NRM MPs sue party over Museveni sole candidature". Monitor. 17 September 2020. Retrieved 16 December 2025.
  11. ↑ Kaaya, Sadab Kitatta (11 June 2018). "Nankabirwa, 'rebel' MPs renew age limit feud". The Observer. Retrieved 13 December 2025.
  12. ↑ https://www.independent.co.ug/tag/patrick-nsamba-oshabe/
  13. ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/mubende-court-dismisses-vote-recount-application-against-nup-s-oshabe-5336210

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Ekibanja ky'omutimbagano ekya Paalamenti ya Uganda
  • Ekibanja ky'omutimbagano ekitongole