Jump to content

Patrick Ocan

Bisangiddwa ku Wikipedia

Patrick Ocan (yazaalibwa 24 ,Ogwokuna 1978) munnayuganda omukugu mu byenfuna era munnabyabufuzi, nga yaliko Omubaka wa Palamenti eyali akiikirira Munisipaali ya Apac mu kibiina kya Uganda People's Congress (UPC).[1][2][3][4]

Obulamu n’okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Ocan yasomera ku yunivasite y’e Makerere gye yatikkirwa ne ddiguli esooka mu nkyuka kyuka y'eby'enfuna mu by'amaguzi (Bachelor's degree in Qualitative economics).[5]

Emirimu gy’ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Ocan yalondebwa mu Palamenti ya Uganda okukiikirira disitulikiti y’e Apac mu 2018 kubendera ya UPC n’afuna obululu 6,597. Oluvannyuma lw’obuwanguzi bwe, Bbanka ya Centenary yazukusa omusango gw'obufere ogwali gumazze emyaka 12 nga bavunaana Ocan, ekyamuvirako okukwataibwa. Yavunaanibwa okufera bbanka obukadde bwa ssente za Uganda 25 oluvanyuma lw'okukizuula nti ssente zaali zibuze okuva mu gwanika lya banka.[6][7] Ocan yeegaana ebyali bigambibwa , ng'agamba nti bbanka yaferebwa, oluvannyuma lwa kasitoma okuleeta sente za ddoola okumukyusizaamu, wabula nga byali bicupuli ekintu ky'atazulirawo mu kusooka.[8]

Ocan yaggyibwa mu kifo kye mu palamenti Kkooti ya Uganda eya Ssemateeka mu Gwekumineebiri 2019, ng'ali n'ababaka abalala bataano. Ensala y’omusango eno yakolebwa eyaliko omubaka wa Palamenti eyali akiikirira Bufumbira East, Eddie Kwizera. Omusango guno gwasomooza nnyo banamateeka ab'ebitundu omukaaga gyebalondera omwali disitulikiti ya Apac ebyatondebwawo oluvannyuma lw’okulonda kwa 2016.[9][10] Kkooti yalangirira nti ebitundu byonna omukaaga tebirina makulu. Kkooti yalangirira ebitundu byonna omukaaga nti tebyaliwo mu mateeka.[11]

Mu 2025, Ocan yalangirira ekigendererwa kye eky'okwesimbawo nga talina kibiina mu kalulu ka 2026 ak'omulundi ogwe 11, oluvannyuma lw'okubeera nga baali bamuwezze okuva mu kibiina kya UPC. Yakola okulangirira kuno bwebaali mu kutendekebwa okwabanamwandu okwali okwenaku esatu, nga kuno kwali kutegekeddwa ekibiina ekitadukanyizibwa gavumeenti eky'e Kanisa ya Uganda eya St. Thomas mu Apac.[12][13][14]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. administrator (2018-07-31). "Directly Elected Member of Parliament, Apac Municipality, Apac District". Electoral Commission (in Lungereza). Retrieved 2021-08-17.
  2. "Ocan Patrick - 2021 General Election - Visible Polls". visiblepolls.org (in Lungereza). Retrieved 2023-02-04.
  3. Okello takes on Ocan for Apac seat (in Lungereza), 19 December 2020, retrieved 2023-02-04
  4. administrator (2018-07-31). "Directly Elected Member of Parliament, Apac Municipality, Apac District". Electoral Commission (in Lungereza). Retrieved 2023-02-04.
  5. "Hon.Ocan Patrick". MPScan Uganda (in American English). Archived from the original on 2021-11-27. Retrieved 2021-08-17.
  6. "Centenary Bank wants Apac MP race winner arrested". Daily Monitor (in Lungereza). 12 January 2021. Retrieved 2021-08-17.
  7. "APAC MP elect had been hiding from court, now a wanted man". Nile Post (in American English). 2018-07-29. Retrieved 2021-08-17.
  8. Reporter, Independent (2020-02-07). "Expelled MPs did not get fair hearing- Lawyers". The Independent Uganda (in American English). Retrieved 2021-08-17.
  9. Wandati, Michael (2019-12-28). "Why Ugandan court kicked out six MPs out of Parliament". Kampala Dispatch (in American English). Archived from the original on 2025-01-22. Retrieved 2021-08-17.
  1. administrator (2018-07-31). "Directly Elected Member of Parliament, Apac Municipality, Apac District". Electoral Commission (in Lungereza). Retrieved 2021-08-17.
  2. "Ocan Patrick - 2021 General Election - Visible Polls". visiblepolls.org (in Lungereza). Retrieved 2023-02-04.
  3. administrator (2018-07-31). "Directly Elected Member of Parliament, Apac Municipality, Apac District". Electoral Commission (in Lungereza). Retrieved 2023-02-04.
  4. administrator (2018-07-31). "Directly Elected Member of Parliament, Apac Municipality, Apac District". Electoral Commission (in Lungereza). Retrieved 2023-02-04.
  5. "Hon.Ocan Patrick". MPScan Uganda (in American English). Archived from the original on 2021-11-27. Retrieved 2021-08-17.
  6. "Centenary Bank wants Apac MP race winner arrested". Daily Monitor (in Lungereza). 12 January 2021. Retrieved 2021-08-17.
  7. "APAC MP elect had been hiding from court, now a wanted man". Nile Post (in American English). 2018-07-29. Retrieved 2021-08-17.
  8. "Lawyer to DPP: Try Apac MP-elect". Monitor (in Lungereza). 2021-01-11. Retrieved 2025-12-17.
  9. Reporter, Independent (2020-02-07). "Expelled MPs did not get fair hearing- Lawyers". The Independent Uganda (in American English). Retrieved 2021-08-17.
  10. Wandati, Michael (2019-12-28). "Why Ugandan court kicked out six MPs out of Parliament". Kampala Dispatch (in American English). Archived from the original on 2025-01-22. Retrieved 2021-08-17.
  11. "OCAN PATRICK - UGLEADER". ugleader.com. Retrieved 2025-12-17.
  12. "No Turning Back". LCCTV Uganda (in American English). Retrieved 2025-12-13.
  13. "Tension rises as MP Ocan is expelled from UPC". Radio Apac (in British English). 2025-07-07. Retrieved 2025-12-13.
  14. "West Nile, Lango and Teso battle of titans". Monitor (in Lungereza). 2025-10-22. Retrieved 2025-12-17.

matuluba: