Jump to content

Paul Lokiru Kalanda

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Paul Lokiru Kalanda (27 Ogwokubiri 1927 – 19 Ogwomunaana 2015) yali musosodooti eyaweereza ng’Omulabirizi w’essaza ly'e Moroto okuva mu 1980 okutuuka mu 1991 era ng’Omulabirizi w’essaza ly'e Fort Portal okuva mu 1991 okutuuka mu 2003. [1] [2]

Ebyayita bye n’obusosodooti

[kyusa | kolera mu edit source]

Kalanda yazaalibwa nga 27 Ogwokubiri 1927 ku kyalo Buwunde, mu ssaza ly’e Kyannamukaaka, kati nga ye Disitulikiti y’e Masaka, mu kitundu kya Buganda mu Uganda. Yatuuzibwa ng'Omusosodooti nga 21 Ogwekkuminebiri 1957. Yaweereza ng'Omusosodooti mu Bulabirizi bw'essaza ly'e Masaka okutuusa nga 29 Ogwekkuminogumu 1980, lwe yalondebwa okuba Omulabirizi. [1] [2]

Ng'Omulabirizi

[kyusa | kolera mu edit source]

Yalondebwa okuba Omulabirizi w’essaza ly'e Moroto, mu Uganda, nga 29 Ogwekkuminogumu 1980. Ssabalabirizi w'essaza ekkulu ery'e Kampala Kalidinaali Emmanuel Kiwanuka Nsubuga † yamutuuza ng’Omulabirizi nga 22 Ogwokusatu 1981 ng’ayambibwako Omulabirizi w’e Masaka Adrian Kivumbi Ddungu †, n' Omusumba w’Abatume owa Bahr el-Gebel Bishop Sisto Mazzoldi †. [1] [2]

Nga 17 Ogwomukaaga 1991, Kalanda yalondebwa okuba Omulabirizi w’essaza ly’Abakatoliki erya Fort Portal, n’aweereza mu kifo ekyo okutuusa lwe yawummula nga 18 Ogwokusatu 2003. Yafa nga 19 Ogwomunaana 2015, ng'Omulabirizi wa Fort Portal eyawummula mu Uganda, ku myaka 88 n’emyezi 5. [1] [2]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 http://www.catholic-hierarchy.org/bishop/bkalanda.html Cite error: Invalid <ref> tag; name "1R" defined multiple times with different content
  2. 1 2 3 4 http://fortportaldiocese.org/bishops-profile/ Cite error: Invalid <ref> tag; name "2R" defined multiple times with different content