Paul Mwiru
Paul Mwiru Munnamateeka Munnayuganda era munnabyabufuzi.
Yaweerezaako ng'omubaka wa Paalamenti omulonde owa munisipaali y’e Jinja, ekitundu ky'obuvanjuba mu kibuga Jinja, mu ttundutundu ly'obuvanjuba bwa Uganda. Yaali yeegattira mu kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) naye oluvannyuma yeegatta ku kibiina kya National Unity Platform (NUP) . Mwiru yasobola bulungi okusigaza ekifo kye mu kulonda kwa bonna okwaliwo mu 2021, gye yawangula gweyali naye ku mbiranye ennyo owa National Resistance Movement Nathan Igeme Nabeeta. [1]
Obuvo bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa nga 12 Omwezi ogwomunaana 1977 mu Walukuba ey'obuvanjuba mu Disitulikiti y’e Jinja. Mwiru yasomera ku Walukuba East Primary School gye yakolera ebigezo bye eby'akamalirizo ebya pulayimale, bweyali tanneegatta ku somero lya siniya erya Jinja senior secondary school gye yafunira ebbaluwa zombi eya siniya eyokuna (Uganda Certificate of Education (UCE) n'eya siniya eyomukaaga Uganda Advanced Certificate of Education ( UACE) .Oluvannyuma yasoma dipulooma mu mateeka mu Law Develop[ment Centre. Oluvannyuma lwakabanga ng'ebyokusoma abiwummuddemu , yaddayo okusoma ddiguli esooka mu mateeka ku yunivasite y’e Makerere, gye yafuna mu 2010. [2]
Olugendo lwe olw'ebyobufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Olugendo lwe olw’ebyobufuzi lubadde lumpi, kyokka yali wa maanyi nnyo mu paalamenti mu kiseera ky’okukyusa ebbago ly’etteeka ly’ekkomo ku myaka omukulembeze w'eggwanga gyalina okukomako okwesimbawo, gye yalonda ng’awakanya ennoongosereza yalyo
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Parliament of Uganda". www.parliament.go.ug. Retrieved 2021-03-18.
- ↑ "Paul Mwiru: Why I ditched FDC for ANT". Nile Post (in American English). 2020-07-10. Retrieved 2021-03-18.