Paul Waako
Paul Waako (yazaalibwa nga 20 ogw'okubiri mu mwaka gwa 1967) munnayuganda era omusawo w'eddagala, muddukanya weby'ensoma n'ebyenjigiriza ng'abadde mumyuka wa cansala mu yunivasite y'e Busitema , eya gavumenti mu Buvanjuba bwa Uganda, okuva nga 1 May 2019. [1]
Ensibuko n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Waako yazaalibwa nga 20 ogw'okubiri mu mwaka gwa 1967 ku kyalo Mukuta, mu Disitulikiti ye Mayuge, mu Buvanjuba bwa Uganda. Oluvannyuma lw’okusomera mu masomero ga pulayimale ne siniya mu kitundu, yayingizibwa mu Makerere , essomero ly’obusawo erisinga obukadde mu East Africa . [1]
Alina diguli esooka mu by'eddagala ne mu by'okulongoosa ne diguli eyookubiri mu sayansi mu by'eddagala, byombi byamuweebwa Makerere University, mu Uganda. Diguli ye ey'obusawo mu by'olufilosoofo mu nkola y'eddagala yagifuna okuva mu Yuniversity ya Cape Town, mu Afirika eyamaserengeta. Alina ne diguli eyookubiri mu by’okuddukanya emirimu, gye yafuna okuva mu ttendekero lya Uganda Management Institute, mu Kampala. [1]
Omulimu
[kyusa | kolera mu edit source]Emyaka kkumi, Waako yakubiriza ekitongole ky’eddagala n’obujjanjabi mu Makerere yunivasite ettendekero lya sayansi w'ebyobulamu . Olwo n’alondebwa okuba akulira ekitongole kya Busitema yunivasite ettendekero lya sayansi w'ebyobulamu, n’aweereza mu kifo ekyo okuva mu mwaka gwa 2013 okutuuka mu gwa 2019. [1]
Ng’omumyuka wa cansala mu yunivasite y’e Busitema, yasikira Pulofeesa Mary Okwakol, omumyuka wa kansala eyatandikawo, ekisanja kye ekyaggwaako nga 30 ogw'okuna mu mwaka gwa 2019. [2]
Amaka
[kyusa | kolera mu edit source]Waako mufumbo era mukyala we ye Ziria Tibalwa Waako, yinginiya w’amasannyalaze, abadde akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku masannyalaze mu Uganda okuva mu November wa 2016. Bombi, bazadde b’abaana bataano. [3]
Ebiwandiiko ebikozesebwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 George Okello (4 March 2019). "Prof Waako Appointed New Busitema University Vice Chancellor". Kampala: PML Daily. Retrieved 4 November 2019.
- ↑ Philimon Badagawa (11 March 2019). "Prof. Paul Waako to takeover from Prof. Mary Okwakol as Vice Chancellor of Busitema University". Kampala: Campus Times Uganda. Retrieved 4 November 2019.
- ↑ Busitema University (June 2019). "Profile of Professor Paul Waako: Vice Chancellor Busitema University". Busitema University. Archived from the original on 19 February 2020. Retrieved 4 November 2019.