Paulson Luttamaguzi
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda | |
| Yazaalibwa nga | 25 Gwakkuminebiri(Ntenvu) 1979 | |
| Gy'azaalwa | Nakaseke | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza, Luganda | |
| Omulimu | munnabyabufuzi, economist | |
| Ekifo ky'alimu | Omubaka wa Palamenti ya Uganda | |
| Gyeyasomera | Ssettendekero wa Makerere | |
Paulson Kasana Semakula Luttamaguzi (yazaalibwa nga 25 Ogwekkuminebiri 1979), munnabyabufuzi era omukugu mu by'enfuna Munnayuganda .omuddukanya w'ebyensimbi era munnabyabufuzi. Yali mubaka wa Paalamenti eyakiikirira Nakaseke ey'obukiika ddyo okuva mu 2016-2026.[1][2][3][4][5]
Yaddamu okulondebwa mu kulonda kwa Paalamenti okwa 2021 ng'eyasimbibwawo ekibiina kya Democratic Party (DP).[6]Mu Gwokuna 2025 olupapula lwa Daily Monitor lwategeeza nti yali avudde mu kibiina kya DP nadda mu National Unity Platform.[7]
Mu kulonda kw'ababaka ba Paalamenti okw'Ogwoluberyeberye 2026,Charles Nsereko Bassajjassubi yalangirirwa ku buwanguzi bw'ekifo ky'e Nakaseke ey'obukiika ddyo n'obululu 30,279 ng'amegga Paulson Kasana Semakula Luttamaguzi eyali mu kifo ekyo eyakunἠἠanya obululu 18,123 .[8][2][3][9]
Obuto bwe n'okusoma kwe.
[kyusa | kolera mu edit source]Luttamaguzi yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Nakaseke nga 25 Ogwekkumineebiri 1979.[1] Mu 2017, bweyali ayogerako eri amawulire ga The Observer , yagamba nti yasomera ku Kitebi Primary School, yasomerako katono ku Jinja College , olwo era yasomera ku Jinja Secondary School ku mutendera gwa siniya eyokuna ne Luweero Secondary School ku mutendera gwa siniya ey'omukaaga bweyali tannatikkirwa ne Ddiguli esooka ey'ebyobusuubuzi okuva mu Yunivasite y'e Makerere.[10]Mu kwogera kwekumu yagamba nti bazadde be ye Luttamaguzi Mukiibi ne Cissy Nalunkuuma.[10]
Emirimu gy'ebyobufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Okulonda
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2020 nga twolekera okulonda kwa 2021, Daily Monitor yawandiika nti yafuna obululu 11,519 mu 2016 nga yawangulira watono Denis Ssekabira owa NRM eyafuna obululu 11,157.[11]
Mu kulonda kwa 2021, Uganda Radio Network yagamba nti yafuna obululu 26,089 waggulu wa Charles Nsereko eyafuna obululu 9,836 ne Stephen Mukiibi eyafuna obulu e 280.[12] Oluvannyuma New Vision yagamba nti yalayizibwa mu Paalamenti y'ekkumineemu oluvannyuma lw'okeddiza ekifo.[13]
Okulonda kwa Paalamenti
[kyusa | kolera mu edit source]| Omwaka | Wofiisi | Ekibiina | Obululu | Obululu bw'abamuvuganya | Ebyava mu kulonda |
| 2016 | Omubaka, Nakaseke ey'Obukiika ddyo | Ekibiina
kya Democratic Party |
11,159[11] | Denis Ssekabira (NRM)
11,157[11] |
Yalondebwa |
| 2021 | Omubaka, Nakaseke ey'Obukiika ddyo | Ekibiina kya Democratic Party | 26,089[5] | Charles Nsereko (NRM)
9,836; Stephen Mukiibi 280[5] |
Yaddamu okulondebwa |
Ekibiina kye.
[kyusa | kolera mu edit source]Ekibanja ky'ababaka ba Paalamenti ekitongole kiraga Luttamaguzi nga mmemba wa Democratic Party (DP).[1] Mu Gwokuna 2025, Daily Monitor yamunyonnyola ng'eyali akyusizza enkolagana ye okuva ku DP n'adda National Unity Platform(NUP).[7]
Luttamaguza yaddamu naavuganya ku kifo kya Paalamenti ekya Nakaseka ey'obukiika ddyo mu kulonda kwa bonna okwa 2026 ng'akwatidde National Unity Platform bendera naye yawangulwa Charles Kawuma Nsereko owa National Resistance Movement.[14]
Emirimu gya Paalamenti n'ensonga z'Eggwanga
[kyusa | kolera mu edit source]Entalo z'ettaka n'okusengulwa
[kyusa | kolera mu edit source]Mu mboozi ya 2020, ekwata ku kuvuganya kwa Nakaseke ey'Obukiika ddyo nga twolekera okulonda kwa 2021, Daily Monitor yayunga eby'obufuzi by'ekitundu ku ntalo z'ettaka n'okusengulwa era n'eraga Luttamaguzi ng'akubaganya ebirowoozo ku ddembe ly'obwananyini ku ttaka n'okutuusa obuweereza (Enguudo / Amakubo, eby'obulamu n'ebyenjigiriza).[11]
Ekyuma ky'e Nakaseke ekikamula ennyanya
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Gwokusatu 2017,Uganda Radio Network yagamba nti Akakiiko ka Paalamenti akaloondoola ebisuubizo bya gavument n'ebikoleddwa bwekaakyalako ku kyuma ky'e Bulemezi ekikola emmere mu Disitulikiti y'e Nakaseke, Luttamaguzi ng'omubaka wa Paalamenti ow'ekitundu yabuuza lwaki ekyuma kyali tekikyakola oluvannyuma lw'okutandikibwawo ng'ekitundu ku nteekateeka za gavumenti.[15]Mu Gwoluberyeberye 2021, Daily Monitor yawandiika nti ye n'abakulembeze abalala baalaga obweralikirivu ku bikwata ku kugwa kw'ekyuma ekikamula ennyanya n'okufiirizibwa abalimi abaalima nnyanya nga basuubira akatale ak'obuliwo kwebaasanga[16]
Endaba ze ez'ebintu ne byayogedde eri ensi
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2017 ng'ayogerako ne The Observer yeeyogerako ng'ali Politically romantic n'agamba nti yali agenderera kwesimbawo ku bwa pulezidenti mu 2023.
Obulamu bwe ng'omuntu
[kyusa | kolera mu edit source]Ekibanja kya Paalamenti ekitongole eky'Ababaka ba Paalamenti kimussa ku lukalala ng'omufumbo.
Laba ne.
[kyusa | kolera mu edit source]- Disitulikiti y'e Nakaseke
- Ekibiina kya Democratic Party (Uganda) .
- Paalamenti ya Uganda
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 "Hon. Luttamaguzi Semakula Paulson Kasana". Members of Parliament Database. Parliament of Uganda. Retrieved 15 December 2025.
- 1 2 "Luttamaguzi loses as parliamentary map shifts in Nakaseke, Nakasongola". The Independent Uganda. 18 January 2026. Retrieved 1 March 2026.
- 1 2 "I Will Not Be Participating in Elections Going Forward – Paul Lutamaguzi Semakula". howwe.ug. Retrieved 1 March 2026.
- ↑ "Uganda elections 2016: Provisional parliamentary results". New Vision. 17 February 2016. Retrieved 15 December 2025.
- 1 2 3 "Nakaseke South MP Luttamaguzi beats NRM's Nsereko". Uganda Radio Network. 15 January 2021. Retrieved 15 December 2025.
- ↑ "Nakaseke South MP Luttamaguzi beats NRM's Nsereko". Uganda Radio Network. 15 January 2021. Retrieved 15 December 2025.
- 1 2 "Will Luttamaguzi's new party keep NRM at bay in Nakaseke?". Daily Monitor. 16 April 2025. Retrieved 15 December 2025.
- ↑ "After All the History Against Him, NUP's Luttamaguzi Says Baganda Ready to Apologize to Obote Through Akena". mulengeranews.com. 28 February 2026. Retrieved 1 March 2026.
- ↑ "MP Ssempala Mbuga loses Nakaseke Seat". Uganda Radionetwork. Retrieved 1 March 2026.
- 1 2 Prisca Baike (8 March 2017). "I am politically romantic - Luttamaguzi". The Observer. Retrieved 15 December 2025.
- 1 2 3 4 "Tough race for Luttamaguzi as NRM seeks to reclaim MP seat". Daily Monitor. 12 June 2020. Retrieved 15 December 2025.
- ↑ "Nakaseke South MP Luttamaguzi beats NRM's Nsereko". Uganda Radio Network. 15 January 2021. Retrieved 15 December 2025.
- ↑ "WATCH: Paulson Luttamaguzi sworn in as Nakaseke South MP". New Vision. Retrieved 15 December 2025.
- ↑ https://www.newvision.co.ug/category/blogs/when-voters-say-enough-is-enough-NV_227455_062026
- ↑ "Ugx 700m tomato processing plant closes shop in Nakaseke". Uganda Radio Network. 23 March 2017. Retrieved 15 December 2025.
- ↑ "Billions lost as Nakaseke tomato factory collapses". Daily Monitor. 15 January 2021. Retrieved 15 December 2025.
Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Ebikwata ku Paalamenti ya Uganda mu bufunze
- Abantu Abalamu
- Abaazaalibwa mu 1979
- Abantu abava mu Disitulikiti y'e Nakaseke
- Abaasomera ku Yunivasite y'e Makerere
- Ababaka ba Paalamenti ya Uganda
- Ababaka ba Paalamenti ya Uganda ey'ekkumi
- Ababaka ba Paalamenti ya Uganda ey'ekkumineemu
- Bannabyabufuzi ba Democratic Party eya Uganda
- Bannabyabufuzi ba National Unity Platform
- Abaasomera ku Makerere University