Peace Mutuuzo

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Peace Regis Mutuuzo munabyabufuzi Omunayuganda awereza nga omukyala akiikirira Disitulikiti ya Bunyangabu.[1]Ye Minisita omubeezi ow'Ekikula ky'abantu n'Obuwangwa mu Kabineeti ya Uganda. Yaweebwa ekifo kino nga 6 Ogwomukaaga mu 2016.[2] Mu 2021, yalondebwa mu Paalamenti ya Uganda eyekumineemu.[3]

Obulamu bwe n'okusoma kwe[kyusa | edit source]

Yazaalibwa nga 2 Ogwokutaano mu 1975 ku kyali kya Rwimi, mu munisipaali ya Bunyangabu mu Disitulikiti ya Kabarole, mu Bitundu bya Buganjuba bwa Uganda. Okuva olwo munisipaali ya Bunyangabu yakyusibwa nebagifuula Disitulikiti ya Bunyangabu.[4] Yasomera ku St. Peter and Paul Primary School, Katikamu SDA Secondary School wamu ne Mpanga Secondary School erisinganibwa e Fort Portal. Yeeyali omuwala eyali akulira abayizi bweyali asomera ku Mpanga.[5]

Yasomera kutendeero lya National Teachers College Kakoba (NTCK), nga kati liri wamu ne Bishop Stuart University e Mbarara, gyeyatikirwa ne Dipulooa mu By'obusomesa bwa Siniya. Yawerezaako nga Omuyizi eyali akulira bane ku NTCK, ng'akyasomerayo.[5]

Oluvannyuma yeegata ku Yunivasite y'e Makerere, nga ye yunivasite ya gavumenti esinga obukadde mu Ugnada, n;atikirwa ne Diguli mu Environmental Science. Oluvannyuma yafuna Diguli ey'okubiri mu b'okudukanya n'okulabirira abantu n'ebibeetoloddeokuva kutendekero lya Uganda Management Institute mu Kampala.[5][1]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Nga tanaba kwegata ku byabufuzi, yali akola ne kampuni eyitibwa Give and Take eyali edukanyizibwa John Sanyu Katuramu nga kati baamusiba obulamu bwe bwonna mu komera Luzira, nga oluvannyua yali mu Ofiisi ya Pulezidneti, nga Omuwandiis wa Pulezidenti wa Uganda ow'obuntu. Mu 2016, yeesimbawo ku kifo ky'Omukyala anaakiikirira Disitulikiti ya Kabarole, naye nebamuwangula mu kamyuufu k'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement.[5][6] nga 6 Ogwomukaaga mu 2016, yaweebwa ekya Minisita Omubeezi Owekikula ky'abantu nobuwangwa.[7]

Egimu ku mirimu gyeyasooka okusaako esira nga yakafuna ekifo ky'obwa minisita, ky'ekizibu ky'obutabanguko obusibuka ku kwegatta ob okunyumya akaboozi ak'ekikulu.[8] Ensonga endala eyali kulukalala luno y'entegeka y'okulakulanya, okugaziya n'okuterezza ekifo ewazannyibwa katemba n'okulagibwa ffirimu mu Uganda ekyazimbibwa mu 1956 nga kati kyafuuka kitono nnyo okubeera nga kisobola okukungaanyizibwaamu abantu abangi ababeera bazze okulaba.[9] Y'omu kubali mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movementi.[1]

Laba ne bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwaamu[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=446
  2. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2016-10-07. Retrieved 2024-03-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/mutuuzo-peace-regis-10194/
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2017-08-12. Retrieved 2024-03-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. 5.0 5.1 5.2 5.3 "Archive copy". Archived from the original on 2016-08-09. Retrieved 2024-03-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2018-10-01. Retrieved 2024-03-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. https://www.scribd.com/doc/314964607/New-Cabinet
  8. http://www.weinformers.com/2016/09/21/great-lakes-region-urged-to-tackle-sexual-violence-gender-minister-peace-mutuuzo/
  9. http://businessguideafrica.com/uganda-national-theater-not-for-sale-govt/

Ewalala w'oyinza okubigya[kyusa | edit source]