Pen-Mogi Nyeko
Jack H. Pen-Mogi Nyeko Munnayuganda omusawo w'ebisolo , munnabyanjigiriza, era omuddukanya w'ebyenjigiriza. Ye omumyuka w'omukulu w'ettendekero lya Gulu University, yunivaasite ya gavumenti mu bukiikakkono bwa Uganda.[1][2]
Obuto bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu ttundutundu ly'obukiikakkono bwa Uganda nga 12 Ogwokutaano, 1948. Yava mu Makerere University mu 1975 ng'alina diguli esooka eya Bachelor of Veterinary Medicine. Mu 1981, yamaliriza emisomo gye mu University of Nairobi ne diguli eyookubiri eya Master of Science. Diguli ye eyookusatu yagifuna okuva mu Makerere University mu 1988. Ekitundu kye eky'obumanyirivu kyekya molecular parasitology.[3]
Omulimu gwe
[kyusa | kolera mu edit source]Omulimu gwe yagutandika mu 1987, nga Principal Research Entomologist, mu kitongole kya Uganda Tsetse Control Department, nga eno yakolerayo okutuuka mu 1991. Okuva mu 1993 okutuuka mu 1996, yakola nga Omusomesa omukulu ow'etendekero ly'awaggulu mu Faculty of Veterinary Medicine, Department of Veterinary Parasitology, mu Ssettendekero wa Makerere. Mu 1994, yalondebwa Pulezidenti wa Uganda okufuuka omubaka w’olukiiko olufuzi olwa Ssemateeka, olwawandiika n’okukakasa Ssemateeka wa Uganda owa 1995. Okuva mu 1996 okutuuka mu 2001, yali mubaka wa palamenti, ng’akiikirira Kilak County, mu Disitulikiti y'e Gulu . [3]
Mu 2001 ekitongole kya Technical Task Force kyalondebwa okuteekawo Yunivasite y'e Gulu. Profesa Nyeko yalondebwa okubeera ssentebe w'ekibinja ekyo eky'abantu abana. Yunivasite bwe yaggulawo mu 2002, yafuuka omumyuka w'omukulembeze w'ettendekero eryo; yunivasite y'eggwanga ey'okusatu okutandikibwawo mu ggwanga.[1]
Obuvunaanyizibwa bwe obulala
[kyusa | kolera mu edit source]Pen-Mogi Nyeko abadde akola mu bifo bino wammanga: [3]
- Ssentebe w'ekitongole kya Uganda National Environment Management Authority okuva mu 2013.[4]
- Ssentebe w'akakiiko k'eggwanga ak'ebyenjigiriza eby'awaggulu ak'abantu 18 okuva mu 2012.[5]
- Mmemba w'Ekitongole Ekitegeka Ebigezo ekya Uganda National Examinations Board okuva mu 2002.
Obulamu bwe obw'obuntu
[kyusa | kolera mu edit source]Nyeko mufumbo era alina abaana abakulu bataano.[3] Y'omu ku e ba mmemba mu kitongole kya Uganda National Academy of Sciences.[6]
Background and education
[kyusa | kolera mu edit source]Peni-Mogi Nyeko yazaalibwa mu kitundu kyomumambuka ga Uganda ennaku z'omwezi nga kkuminabbiri omwezi ogwokuttano mu mwaka gwa 1948. Yatikkirwa mu yunivasite y’e Makerere mu mwaka gwa 1975 n’afuna diguli ya Bachelor of Veterinary Medicine . Mu 1981, yatikkirwa diguli eyookubiri mu ssaayansi mu yunivasite y’e Nairobi . Dokita ye mu by’obufirosoofo yafuna okuva mu yunivasite y’e Makerere mu 1988. Omulimu gwe akuguse ye molecular . [3]
Background and education
[kyusa | kolera mu edit source]Peni-Mogi Nyeko yazaalibwa mu kitundu kyomumambuka ga Uganda ennaku z'omwezi nga kkuminabbiri omwezi ogwokuttano mu mwaka gwa 1948. Yatikkirwa mu yunivasite y’e Makerere mu mwaka gwa 1975 n’afuna diguli yobusaawo bw'ebisolo . Mu mwaka gwa1981, yatikkirwa diguli eyookubiri mu ssaayansi mu yunivasite y’e Nairobi . Dokita ye mu by’obufirosoofo yafuna okuva mu yunivasite y’e Makerere mu mwaka gwa 1988. Omulimu gwakugusemu guyitibwa molecular . [3]
Career
[kyusa | kolera mu edit source]Omulimu guno yagutandika mu mwaka gwa 1987, nga Principal Research Entomologist, mu kitongole kya Uganda Tsetse Control Department, n’akolerayo okutuusa mu mwaka gwa 1991. Okuva mu mwaka gwa 1993 okutuuka mu mwaka gwa 1996, yakola nga omusomesa omukulu mu Faculty of Veterinary Medicine, Department of Veterinary Parasitology, mu Makerere yunivasity . Mu mwaka gwa 1994, yalondebwa Pulezidenti wa Uganda nafuuka omubaka w’olukiiko olufuzi olwa Ssemateeka, olwawandiika n’okukakasa Ssemateeka wa Uganda eya 1995. Okuva mu mwaka gwa 1996 okutuuka mu mwaka gwa 2001, yali mubaka wa paliyamenti ng’akiikirira Kilak County, Gulu District . [3]
Mu 2001 akakiiko akakola ku by’ekikugu kaalondebwa okutandikawo Yunivasite y’e Gulu. Professor Nyeko yalondebwa okuba ssentebe w’ekibiina ekyo eky’abantu bana. Yunivasite eno bwe yaggulwawo mu 2002, yafuuka omumyuka wa chancellor eyatandikawo ekitongole kino; yunivasite ya gavumenti eyokusatu okutandikibwawo mu ggwanga. [1]
Omulimu
[kyusa | kolera mu edit source]Omulimu guno yagutandika mu mwaka gwa 1987, nga Principal Research Entomologist, mu kitongole kya Uganda Tsetse Control Department, n’akolerayo okutuusa mu mwaka gwa 1991. Okuva mu mwaka gwa 1993 okutuuka mu mwaka gwa 1996, yakola nga omusomesa omukulu mu Faculty of Veterinary Medicine, Department of Veterinary Parasitology, mu Makerere yunivasity . Mu mwaka gwa 1994, yalondebwa Pulezidenti wa Uganda nafuuka omubaka w’olukiiko olufuzi olwa Ssemateeka, olwawandiika n’okukakasa Ssemateeka wa Uganda eya 1995. Okuva mu mwaka gwa 1996 okutuuka mu mwaka gwa 2001, yali mubaka wa paliyamenti ng’akiikirira Kilak County, Gulu District . [3]
Mu mwaka gwa 2001 akakiiko akakola ku by’ekikugu kaalondebwa okutandikawo Yunivasite y’e Gulu. Pulofeesa Nyeko yalondebwa okuba ssentebe w’ekibiina ekyo eky’abantu abana. Yunivasite eno bwe yaggulwawo mu mwaka gwa 2002, yafuuka omumyuka wa Kansala eyatandikawo ekitongole kino; yunivasite ya gavumenti eyokusatu okutandikibwawo mu ggwanga. [1]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Olukalala lw'abamyuka b'omukulembeze w'ettendekero lya Gulu University
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijulizidwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ebujiluziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Omukutu gwa Gulu University
- Abakulembeze b'e Gulu boogera mu Palamenti ku Yunivasite y'e Gulu - 25 Ogwekkumi, 2012
- 1 2 3 4 https://en.wikipedia.org/wiki/Gulu_University Cite error: Invalid
<ref>tag; name "Background" defined multiple times with different content - ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Gulu_University
- 1 2 3 4 5 6 7 8 https://web.archive.org/web/20250123211914/http://www.africa-brazil.org/app/public/upload/resume/Brief%20CV%20Nyeko_20141122081825.docx Cite error: Invalid
<ref>tag; name "Profile" defined multiple times with different content - ↑ https://web.archive.org/web/20150209225158/http://www.nema-ug.org/NEMA_board.php
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Uganda_National_Council_for_Higher_Education
- ↑ https://web.archive.org/web/20150302002902/http://ugandanationalacademy.org/fellow_profile.php