Jump to content

Penina Kasule

Bisangiddwa ku Wikipedia


 

Peninnah Tibagwa Kasule, Munnayuganda, munnamateeka era mukulu w'akkampuni, aweereza nga omuwandiisi wa Kampuni era omukulu w'akakiiko k'abannamateeka mu Centenary Rural Development Bank. Mu buvunanyizibwa obwo, yli memba ku tiimu y'abakugu abakwasaganya Bbanka.[1]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Buggwanjuba bwa Uganda. Yasomera ku Gayaza High School, essomero lya siniya nga ly'abawala bokka elisangibwa mu Disitulikit y'e Wakiso, gye yafunira High School Diploma.[2]

Alina Diguli mu mateeka eya Bachelor of Laws ne Diguli ey'enyongereza mu kukola amateeka eya Postgraduate Diploma in Legal Practice. Mmemba mu kibiina ky'abannamateeka ba Uganda.[3] Era mmemba mu Institute of Chartered Secretaries and Administrators (ICSA).[4]

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Emirimu gye ku Centenary Bank mulimu okukulira ensonga ezigobererwa ku banka. Mu 2018, omulimu gwe gwe yongerayo emyaka 20. Nga tannaba kutuuka mu kifo ky'alimu kati, yaweereza nga omuwandiisi wa Kkampuni ya United Assurance Company Limited, nga y'emu ku Kkampuni za Uganda eza UAP Old Mutual Holdings.

Ebirala ebikulu

[kyusa | edit source]

Ye Sentebe w'akakiiko ak'esigika ak'abantu abataano aba Send a Cow Uganda, akafugibwa aba African Development Charity, Send a Cow.[5]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2019-05-28. Retrieved 2024-04-30.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1034026/gayaza-girls-light-candle
  3. http://iiiet.org/get.php?site=static&staticID=13
  4. https://www.icsa.org.uk/about-us/regional-branches-groups/uganda
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2019-05-28. Retrieved 2024-04-30.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]