People's Progressive Party
People's Progressive Party (PPP) [1] kibiina kya byabufuzi mu Uganda ekyatandikibwaawo Jaberi Bidandi Ssali mu 2004. Mu kusooka kyalina erinya lya National Progressive Movement (NPM) nga tekinafuuka PPP mu Gwekumineebiri 2005. Omubala gwayo guli "Together in progress", ky'oyinza okugamba nti Nga tuli bumu wetugya okugenda mu maaso, nga akabonero kaabwe ye taala eyaka mu makkati ga maapu ya Uganda ng'eriko ekiwandiiko PPP munda mu maapu. Langi zaayo za myuufu, kacungwa, bbulu n’ebyeeru.
Pulezidenti w’ekibiina kya People’s Progressive mu kiseera kino ye Mwami George William Magera, eyalondebwa mu kifo kino ku Lwokutaano mu Gwomwenda 22, 2017. [2] Abakulembeze abalala kuliko Mwami Sadam Gayira nga Ssentebe w’Ekibiina, n'Omwami. David Alira Poii nga Omuwandiisi Omukulu.
Obukulembeze obuliwo kati
[kyusa | kolera mu edit source]- Mwami. George William Magera [Pulezidenti w’ekibiina].
- Mwami. Sadam Gayira [Ssentebe w'ekibiina].
- Mwami. David Alira [Omuwandiisi w’ekibiina].
Endowooza
[kyusa | kolera mu edit source]AOkutandikibwaawo kwa PPP kwali kwesigamiziddwa ku kutegeera ebifo eby’ebibiina era ebitasobola kunywerera ku bibiina by’ebyobufuzi mu ggwanga kwe byali bitondeddwaawo era nga biddukanyizibwa, ekyavaako obutali butebenkevu mu by'obufuzi, okutematema ebitundi ebyeetwaala byokk nga birika enjawukana mu b'obufuzi, okweyawulamu n’okutwaali nga abatalina mugaso. Abatandika ekibiina kya PPP baali bakirizi nti ekibiina okusobola okuteekebwaamu obwesige mu kudukanya eggwanga, kiteekeddwa okubeera nga kitegekeddwa bulungi munda mu ggwanga era nga kirina n'omusingi. Kino kirina okukolebwa ng'oyita mu kuzimba omusingi gw’endowooza ey'amaanyi, ensengeka/ebitongole n’okuwaayo enkola endala ey’enkola ey’okufuga eggwanga. Abaakitandikawo baayongera okukiriza nti ekibiina ekiyinza okukwasibwa obulamu bw’eggwanga kirina okusa ekitiibwa n’okunyweeza emisingi gya demokulasiya nga obwerufu, nga kikola embalirira. n'okuteeka ekitiibwa mu matendekero amateeka, eddembe ly’obuntu n’ensonga endala. Ekibiina ng’ekyo era kirina okubaliriza ebiseera bya Uganda eby'eobutabanguko ebyayita nga bw'ekityo kirina okukola obumu okutabagana n’okuleetawo obuwangwa bw’okugonjoola obutakaanya mu by'obufuzi mu mirembe.
N’olwekyo, abaatandikawo PPP baalaba mu birowoozo okutandikawo Uganda etakoma ku kubeera y'amaanyi na bumu wabula efugibwa obulungi, eya demokulasiya, ey’emirembe, ey’obwenkanya era ekulaakulana. Bino byonna biyingiziddwa mu bimu ku birubirirwa byabwe, eneeyisa ebigendererwa wamu n'ebigobererwa by'ekibiina. Kirina okujukirwa nti ekibiina bwe kyakyusa erinnya lyakyo okuva ku NPM okudda ku PPP, era kyakyusa mu nnyingo ez’enjawulo eza semateeka waakyi. Semateeka omupya yateekebwa munkola ng’ekiwandiiko ekirungamya ekibiina kino mu lukungaana lw’ababaka mu 2008.
Mu kugoberera omulimu gwakyo n’okutuukiriza okwolesebwa kwakyo, ekibiina kya People’s Progressive Party kikulemberwa emisingi ena emikulu ne/oba ebirubirirwa:
- Emirembe
- Obutakozesa butabanguko mu kugonjoola obuzibu mu byobufuzi
- Enkola etali ya ffujjo mu nkulaakulana y’ebyobufuzi
- Okubangula abavubuka mu bukulembeze bw’eby'obufuzi
Enyiingo ey'omu 7 eya semateeka wa PPP eraga eneeyisa y'ekibiina nga:
- Obukulembezze by'abantu
- Teyawula yawula mu madiini
- Okwenyigira mu by'embeera z'abantu
- Okugenda mu maaso
Engeri gyekikulamu
[kyusa | kolera mu edit source]Emyaka egizze giyitawo, ekibiina kino kikoze okukunga abantu mu Uganda yonna, ne kiyingiza bamemba abawera 100,000 n’okutandikawo ebizimbe by'ebibiina mu bitundu by’eggwanga bingi. Ekibiina kino kyatuuza olukung’aana lwakyo olwasooka olw’ababaka mu Gwomukaaga 2008. Olukungaana luno lwetabwaamu ababaka nga 1500 okuva mu disitulikiti 40. Ekigendererwa ky’olukuŋŋaana luno kyali kya kulonda bakulembeze bakibiina. Mazima ddala abakulembeze b’ekibiina baalondebwa era nga muno mwalimu n’okulonda abakulembeze ba b'ebisinde by'abakyala n’abavubuka wamu n’abakulembeze b’abantu abaliko obulemu n’abakadde. Okulonda ne semateeka w'obukulembeze n'omusingi gw'okuvuganya mu kulonda kwa bonna okwaliwo mu Gwokubiri mu 2011 . Ekibiina kyasimbyewo omuntu eyavuganya ku bwapulezidenti, 32 abaayimirirawo ku bifo bya paalamenti, omu kuba LCV n’abakungu kumpi 200 ku bifo ebya wansi mu gavumenti z’ebitundu. Ku beesimbyewo bano, ekibiina kyasobola okufuna sentebbe wa LCIII omu, bakansala b'amagombolola n'emiruka abaalondebwa. Obuwanguzi obulala ekibiina bwe kyatukako mu kampeyini eyo kwe kuleeta PPP mu ggwanga lyonna n’okusaawo enkolagana ey’okugenda mu maaso n’okukunga abantu okwetoloola eggwanga.
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "People's Progressive Party- Uganda". www.facebook.com. Retrieved 2023-12-19.
- ↑ Kimbowa, Joseph (2017-09-25). "New PPP president to champion peaceful transfer of power". The Observer - Uganda (in British English). Retrieved 2024-07-19.