Peter James Nkambo Mugerwa
Peter James Nkambo Mugerwa (10 Ogwoluberyeberye 1933 – 10 Ogwekkuminogumu 2020) yali Munnayuganda era munnamateeka omututumufu. Yaliko Minisita wa Uganda ow'ebyamateeka ne Ssemateeka ku mulembe gwa Pulezidenti Idi Amin okuva mu 1971 okutuuka mu 1973.[1]
Obuto bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Peter James Nkambo Mugerwa yazaalibwa mu Kampala, Uganda nga 10 Ogwoluberyeberye 1933. Ava mu Lubu lwa Buganda.[2]
Okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Nkambo Mugerwa yasomera mu King's College Budo mu misomo gye egya siniya, oluvannyuma n'agenda mu yunivasite y'e Makerere, gye yafunira diguli ye esooka.[3]
Yagenda mu Trinity College mu University of Cambridge, era n'ayitibwa okwegatta ku bannamateeka abakugu mu 1955 mu Gray's Inn.[4]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Peter James Nkambo Mugerwa emirimu gye yagitandikira mu London, Bungereza, ng’akolera mu kkampuni y'amafuta eya Standard Vacuum Oil Company okuva mu 1956 okutuuka mu 1957. Mu 1962 yafuuka omusomesa mu University College, Dar es Salaam, mu Tanzania, gye yali omusomesa wa mateeka.[5]
Yavaayo mu 1964 n'afuuka omumyuka wa Ssaabawolereza wa Uganda, mu bbanga ttono n'afuuka Ssaabawolereza wa Uganda, omulimu gwe yakolera okuva mu 1964 okutuuka mu 1971.[6]
Mu 1971 yalondebwa okufuuka Minisita w'ebyamateeka ne Ssemateeka wa Uganda nga yalondebwa Pulezidenti omuggya Idi Amin, omulimu ogw'amaanyi ogwa muweebwa ku kabineti newankubadde teyali munnabyabufuzi- Nkambo Mugerwa yali mukozi wa gavumenti nga si mmemba wa kibiina kyonna eky'ebyobufuzi nga kino kyamuviirako okulondebwa ng'omu ku baminisita abatono okuva mu kabineti ya Apolo Milton Obote okugenda mu maaso nga Minisita oba okukuzibwa Idi Amin bwe yawamba gavumenti.[7][8]
Mu 1973, Idi Amin yagoba Minisita w'ebyamateeka ne Ssemateeka wa Uganda, Peter James Nkambo Mugerwa, ng'ensonga eyayogerwako eri nti yali tasobola kukwatagana na supiidi ekolerwako emirimu oba "supersonic speed" Pulezidenti Idi Amin gye yali avuga eby'enfuna, ekyamuviirako okulonda Godfrey Serunkuma Lule okubeera omusika we.
Oluvannyuma lw’okugobwa Idi Amin, Nkambo Mugerwa yayingira ekitongole ky’obwannannyini n’akolagana n’eyali Ssaabawolereza wa Buganda Fredrick Mpanga ne bakola ekibiina ky'abannamateeka ekya Mpanga and Mugerwa Advocates. Oluvannyuma lw'okufa kwa Fredrick Mpanga yeegatta ne MB Matovu ne bakola ekibiina ky'abannamateeka ekirala ekya Mugerwa & Matovu Advocates.
Mugerwa & Matovu Advocates oluvannyuma yakyusibwa n'efuulibwa Mugerwa ne Masembe Advocates bwe yatandikawo enkolagana ne Timothy Masembe Kanyerezi, Mathias Ssekatawa ne Phillip Karugaba.
Omukago guno gwassaawo omusingi okutondawo kkampuni ya bannamateeka eya MMAKS Advocates ey’omutindo ogw’oku ntikko mu Uganda.
Yawummula emirimu gy’amateeka era ng’okusinga obudde bwe yali abumalira wakati wa faamu ye n’ebibanja bye ku lubalama lw’ennyanja mu Disitulikiti y’e Mukono ne ku faamu ye ey'ebisolo mu Disitulikiti y’e Kyankwazi.[9]
Era yaddamu okuyingira mu bulamu bw'olukale Kabaka Ronald Mutebi bwe yalonda Nkambo Mugerwa okubeera ssentebe w'olukiiko oluvunaanyizibwa ku ttaka olwa Buganda Land Board, n'atwala ekifo kya James Mulwana eyalina okulekulira oluvannyuma lwa "ekikwekweto okumunafuya".[10] Yali kalabaalaba w'olukiiko olufuzi olw’abantu 13, okuli Omulangira David Kintu Wassajja, muganda wa Kabaka Mutebi omuto, ssentebe wa Disitulikiti y’e Luweero, Hajji Nadduli Kibaale ne Martin Kasekende, maneja wa kkampuni y'amayumba n'okuzimba eya National Housing and Construction Company.[10] Yaweereza mu kifo kino okutuusa mu 2007, Martin Kasekende lwe yamuddira mu bigere.
Ebimukwatako eby'omunda
[kyusa | kolera mu edit source]Peter James Nkambo Mugerwa yali mmemba omujjumbize mu kibiina kya Uganda Mountain Club, era nga anyumirwa nnyo okuwalampa ensozi, omuzannyo gw'okuvuga obwato ku mazzi, okuwalampa enjazi, okutambulako mu butonde, okwettika ensawo, n’okuvuga obugaali. Alina abaana babiri ab’obuwala abali mu mirimu gy’amateeka egy’amaanyi, Fiona Nalwanga Magona nga akolera wamu ne MMAKS Advocates ne Alice Namuli Blazevic ng'ono akola ne Katende, Ssempebwa Advocates. Mutabani we Jan Mugerwa abeera London mu kkampuni ya Olephant Solicitors.
Alina omutabani, Michael Nkambo Mugerwa, nga ye maneja omukulu mu kkampuni y'amafuta eya Uganda Refinery Holding Company, ng'ekolera wansi wa kkampuni ya Uganda National Oil Company, okuva nga 29 May 2019.[11]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]
- ↑ Oloka-Onyango, J. (2017-06-23). When Courts Do Politics: Public Interest Law and Litigation in East Africa (in Lungereza). Cambridge Scholars Publishing. p. 281. ISBN 9781443864091.
- ↑ Africa South of the Sahara: 1974 (Fourth ed.). London: Europa Publications. 1974.
- ↑ Uwechue, Raph. Africa Who's Who 1991 (Second ed.). London: Africa Books Ltd. p. 4808.
- ↑ Europa Publications (1982). Africa South of the Sahara 1981-1982. London: Europa Publications.
- ↑ Europa Publications (1977). Africa South of the Sahara: 1977. London: Europa Publications.
- ↑ Wilson, E. G. (1966). Who's Who in East Africa 1965-1966. London: Marco Publishers (Africa) Limited.
- ↑ Oloka-Onyango, J. (2017-06-23). When Courts Do Politics: Public Interest Law and Litigation in East Africa (in Lungereza). Cambridge Scholars Publishing. ISBN 9781443864091.
- ↑ Ndawula, Godfrey (24 February 2007). "Uganda: Our Politicians - Godfrey Serunkuma Lule". All Africa. New Vision. Retrieved 17 May 2009.
- ↑ "Peter James Nkambo Mugerwa". Martindale.
- 1 2 Vision Reporter (13 November 2002). "Kabaka Appoints New Land Board". New Vision. Retrieved 13 June 2019.
- ↑ Marco Publishers (Africa) Ltd (1968). Who's Who in East Africa 1967-1968. London: Marco Publishers (Africa) Ltd.