Peter Mugyenyi
Peter Ndimbirwe Mugyenyi Munnayuganda omusawo, munoonyereza wa siriimu, addukanya eby’obujjanjabi era muwandiisi. Ye dayirekita omukulu era omu ku baatandikawo ekitongole kya Joint Clinical Research Center, era nga ky'ekitongole ekikulembedde mu kujjanjaba siriimu mu Africa. [1]
Obuto n’okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Mugyenyi yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Rukungiri mu Ttundutundu ly'obugwanjuba bwa Uganda, okuliraana 1949. Yasomerako mu Kings College Budo, essomero lya siniya ery'abawala n'abalenzi essomero ly'ekisulo, bwe yali tannaweebwa kifo mu Ssettendekero wa Makerere okusoma obusawo bw’abantu. Yatikkirwa diguli esooka eya Bachelor of Medicine ne Bachelor of Surgery . Oluvannyuma lw’okusoma e Makerere, yalina okuva mu ggwanga ku ntandikwa y’emyaka gya 1970, ng’adduka poliisi ya Idi Amin ey’ekyama. Yasenguka n’agenda mu Bungereza, gye yafunira Dipulooma mu by’obulamu bw’abaana, ekitiibwa kya Fellow of the Royal College of Physicians of Ireland n’ekya Fellow of the Royal College of Physicians of Edinburgh. Mu 2003, yaweebwa diguli ya Doctor of Science, okuva mu yunivasite ya Mbarara mu Uganda. [2]
Omulimu gwe mu Bungereza
[kyusa | kolera mu edit source]Bwe yali mu Bungereza, yafuuka omusawo w’abaana omukugu ey'ebuuzibwako. Wabula ku ntandikwa y’emyaka gya 1990, yaddayo ky'eyagalire mu Uganda gy’azaalibwa okuyambako eggwanga lye okulwanyisa ekirwadde kya mukenenya, ekyali kikyeyongera mu kiseera ekyo. Embeera y’emirimu yali mbi nnyo ate ng’omusaala, katundu katono ku nsimbi ze yali yafuna mu Bungereza. Yalina okutendekebwa okupya mu by’obulwadde bwa siriimu. [3]
Obukulembeze mu lutalo lw'okujjanjaba akawuka ka siriimu mu Africa
[kyusa | kolera mu edit source]Y’omu ku bantu abamanyiddwa abaasooka mu basawo mu nsi yonna okugamba nti Abafirika basobola, era bajja, okugoberera obulungi enkola z’obujjanjabi obulwanyisa akawuka . Mu kiseera ekyo abantu batono abaali bakkiriza nti ekyo kyandibaddewo. Ebyafaayo bimukakasizza nti mutuufu. Mu 1992, Mugyenyi yali omu ku baatandikawo era n’afuuka Medical Director wa Joint Clinical Research Centre, ekifo ekisinga obunene mu Afrika ekijjanjaba n’okunoonyereza ku mukenenya. Amanyiddwa ng’omu ku bakulembedde mu kunoonyereza ku siriimu mu nsi yonna. [3]
Mu 2002, yalagira okusindikibwa kw'eddagala lya siriimu ku ssente entono okuva e Buyindi, ng’amenya obutereevu amateeka ga Uganda agakwata ku nsonga z'abakkirizibwa okulitumya, n’asomooza ab’obuyinza okumukwata n’agaana okuva ku kisaawe okutuusa ng’eddagala lino likkiriziddwa okuyingira mu ggwanga n’okuweebwa n’obukakafu nti n’eryali ligenda okuyingizibwa mu biseera eby’omu maaso nalyo lyali ly'akukkirizibwa. [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (October 2024)">okujuliza kwetaagisa</span> ]
Ekikolwa kino kyaviirako kumpi mu kiro kimu omuwendo gw’abantu abakozesa eddagala lya ARVs mu Uganda okweyongera emirundi kkumi, era ne kisobola okukomya okuziyiza eddagala lya mukenenya erya bulijjo ery’ebbeeyi entono okuyingira mu Afrika. Leero kumpi Abafirika bonna abali ku ddagala lya ARV bamira eddagala lya generics, ng’erisinga obungi ku lyo likyava Buyindi. Mugyenyi era yakola kinene eky’okwebuuza ku bantu mu kuteekawo enteekateeka ya PEPFAR (‘President’s Emergency Plan for AIDS Relief’), eyalangirirwa mu kwogera kwa Pulezidenti George W. Bush okwa 2003 okwa State of the Union. Mugyenyi yali atudde ku mabbali ga Laura Bush ng’okulangirira kuno kukolebwa, era Pulezidenti Bush n’amujuliza mu kwogera kwe. Okuva olwo PEPFAR etadde obukadde n’obukadde bw’Abafirika ku bujjanjabi obuziyiza siriimu era n'okutaasa obulamu, era abantu bangi bagitunuulira ng’omukululo ogumu ogusinga obulungi mu bisanja ebibiri George W. Bush bye yamala mu White House . [3]
Mu Gwomwenda 2003, Mugyenyi yasiimibwa ekibiina ekigatta abasawo mu nsi yonna mu kujjanjaba mukenenya era n’aweebwa awaadi ya Hero in Medicine Award. [4] Mu Gwokubiri 2014, yalondebwa nga Dayirekita eyeetongodde, ku Board ya Cipla, kkampuni y’eddagala ey’e Buyindi ng’erina ekkolero erikola eddagala lya Siriimu mu Uganda . [5] Yakola nga Chancellor wa Mbarara University of Science and Technology, [6] emu ku yunivasite za gavumenti munaana eza Uganda okuva nga 22 Ogwomunaana 2008 okutuuka nga 28 Ogwekkumi 2017. [2] [7]
Obuwandiisi bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Ekitabo kya Mugyenyi eky’naanyi ekyafulumizibwa mu 2008 ekya Genocide by Denial: How Profiteering from HIV/AIDS Killed Millions [8] kiraga engeri gavumenti z’amawanga g’obugwanjuba ne kkampuni z’eddagala gye zaalondoola mu ngeri ey’obusaasizi okufa kw’obukadde n’obukadde bw’Abafirika abaali batayinza kugula ddagala lyabwe eribalagirwa. Ekitabo ekyaddiirira ekitabo ekyasooka, ekya A Cure Too Far: The Struggle to End HIV/AIDS, kyafulumizibwa ku ntandikwa ya 2013. [9]
Omulimu gwa Mugyenyi mu lutalo lw’okulwanirira eddagala eriweweeza ku siriimu mu bungi mu Afrika gulagibwa mu firimu eyafulumizibwa mu 2013 eyitibwa Fire in the Blood, [10] era yayitibwa ba pulodyusa okubeera omugenyi ow’ekitiibwa firimu eno bwe yasooka okulabika mu kivvulu kya Sundance Film Festival ekya 2013 mu Park City, Utah, mu Amerika. Okulabika kwe kwaleetawo abantu abawerako okumumanya mu Sundance. [3]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://web.archive.org/web/20131228154552/http://www.who.int/world-health-day/previous/2006/doctors/uga/en/
- 1 2 "Archive copy". Archived from the original on 2015-07-28. Retrieved 2025-10-17.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - 1 2 3 4 https://web.archive.org/web/20181017001756/https://fireintheblood.com/the-contributors
- ↑ http://www.msh.org/news-events/stories/dr-peter-mugyenyi-receives-the-coveted-hero-in-medicine-award
- ↑ "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2015-09-23. Retrieved 2025-10-17.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://allafrica.com/stories/200808220102.html
- ↑ https://www.independent.co.ug/prof-olweny-new-mbarara-university-chancellor/
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Special:BookSources/978-9970027538
- ↑ http://www.newvision.co.ug/mobile/Detail.aspx?NewsID=640136&CatID=435
- ↑ https://www.imdb.com/name/nm2438287/?ref_=ttfc_fc_cl_t2